ESSOMO 15
Mikwano gya Katonda Bakola Ebirungi
Bw’oba ne mukwano gwo gw’otenda era gw’owa ekitiibwa, ogezaako okumufaanana. “Mukama [mulungi] era wa mazima,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. (Zabbuli 25:8) Okubeera mikwano gya Katonda, tuteekwa okubeera abalungi era ab’amazima. Baibuli egamba: “Mukoppenga Katonda, ng’abaana abaagalwa, era mutambulirenga mu kwagala.” (Abeefeso 5:1, 2, NW) Zino ze zimu ku ngeri gye tuyinza okukolamu ekyo:
Yamba abalala. “Tubakolenga obulungi bonna.”—Abaggalatiya 6:10.
Kola n’amaanyi. “Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng’akola ebirungi n’emikono gye.”—Abeefeso 4:28.
Ba muyonjo mu mubiri ne mu mpisa. “Ka twenaazeeko buli ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.”—2 Abakkolinso 7:1, NW.
Laga abalala okwagala. “Twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda.”—1 Yokaana 4:7.
Gondera amateeka g’eggwanga. “Buli muntu awulirenga [gavumenti] . . . Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab’omusolo musolo.”—Abaruumi 13:1, 7.