ESSOMO 6
Olusuku lwa Katonda Luli Kumpi!
Ebintu ebibi ebiriwo mu nsi kati biraga nti Olusuku lwa Katonda luli kumpi. Baibuli yagamba nti twandirabye ebintu ebibi ng’Olusuku lwa Katonda lunaatera okutuuka. Kati tuli mu biseera ebyo! Bino bye bimu ku bintu Baibuli bye yagamba nti byandibaddewo:
Entalo ez’amaanyi. “Eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka.” (Matayo 24:7) Obunnabbi buno butuukiridde. Okuva mu mwaka 1914, wabaddewo ssematalo bbiri era n’entalo entonotono nnyingi. Obukadde n’obukadde bw’abantu bazifiiriddemu.
Endwadde ezisaasaanye ennyo. Wandibaddewo ‘kawumpuli mu bifo ebitali bimu.’ (Lukka 21:11) Kino kituukiridde? Yee. Kookolo, endwadde z’omutima, akafuba, omusujja gw’ensiri, AIDS, n’endwadde endala zisse obukadde n’obukadde bw’abantu.
Ebbula ly’emmere. Okwetooloola ensi yonna waliwo abantu abatafuna bya kulya bimala. Obukadde n’obukadde bw’abantu bafa enjala buli mwaka. Kano kabonero akalala akalaga nti Olusuku lwa Katonda lunaatera okutuuka. Baibuli egamba: “Walibaawo enjala.”—Makko 13:8.
Musisi. “Walibaawo . . . ebikankano mu bifo ebitali bimu.” (Matayo 24:7) Kino nakyo kituu kiridde mu biseera byaffe. Abantu abasukka mu kakadde bafiiridde mu musisi okuva mu 1914.
Abantu ababi. Abantu bandibadde ‘baagala ssente’ era ‘nga beeyagala bokka.’ Bandibadde ‘baagala amasanyu okusinga Katonda.’ Abaana bandibadde ‘tebagondera bazadde baabwe.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Tokkiriza nti leero waliwo abantu bwe batyo bangi nnyo? Tebassa kitiibwa mu Katonda, era batawaanya abo abagezaako okuyiga ebikwata ku Katonda.
Obumenyi bw’amateeka. Era wandibaddewo ‘okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka.’ (Matayo 24: 12, NW) Oboolyawo okikkiriza nti obumenyi bw’amateeka bweyongedde nnyo okusinga bwe bwali emyaka egiyise. Buli wamu abantu bali mu kabi ak’okunyagibwa, okukumpanyizibwa, oba okukolebwako eby’akabi.
Ebintu bino byonna biraga nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. Baibuli egamba: “Bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.” (Lukka 21:31) Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Ye gavumenti ya Katonda ey’omu ggulu ejja okuleeta Olusuku lwa Katonda ku nsi eno. Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okudda mu kifo kya gavumenti z’abantu.—Danyeri 2:44.