Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 10

Okukyusakyusa mu Ddoboozi

Okukyusakyusa mu Ddoboozi

Engero 8:4, 7

MU BUFUNZE: Fuba okuggyayo ensonga n’okwoleka enneewulira etuukirawo ng’okyusakyusa mu ddoboozi lyo ne sipiidi gy’oyogererako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Kyusakyusa mu ddoboozi. Yongeza oba kendeeza ku ddoboozi lyo ng’oggumiza ensonga enkulu era ng’okubiriza abakuwuliriza okubaako kye bakolawo. Yongeza eddoboozi ng’osoma ekyawandiikibwa ekirimu obubaka obw’omusango. Kendeeza ku ddoboozi okuleetera abakuwuliriza okwesunga ky’ogenda okuzzaako, oba okwoleka okutya oba okweraliikirira.

  • Kyusakyusa mu ngeri eddoboozi lyo gye liwulikikamu. Ng’osinziira ku mateeka agafuga olulimi lwo, yongeza eddoboozi lyo okwoleka ebbugumu oba okulaga obunene bw’ekintu oba okulaga nti kiri wala. Kkakkanya ku ddoboozi lyo okwoleka ennaku oba okweraliikirira.

  • Kyusakyusa mu sipiidi gy’oyogererako. Yongeza ku sipiidi gy’oyogererako okusobola okwoleka essanyu. Kendeeza ku sipiidi gy’oyogererako ng’otuuse ku nsonga enkulu.