ESSOMO 6
Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa
Yokaana 10:33-36
MU BUFUNZE: Tosoma busomi kyawandiikibwa n’ogenda ku nsonga eddako. Kakasa nti abakuwuliriza balaba engeri ekyawandiikibwa ky’osomye gye kikwataganamu n’ensonga gy’oyogerako.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Nokolayo ebigambo ebikulu. Ng’omaze okusoma ekyawandiikibwa, nokolayo ebigambo ebikwatagana obutereevu n’ensonga gy’oyogerako. Kino osobola okukikola ng’oddamu okusoma ebigambo ebyo oba ng’obuuza ekibuuzo ekinaayamba abakuwuliriza okulaba ebigambo ebikulu ebiri mu kyawandiikibwa ekyo.
-
Ggumiza ensonga gy’oyagala bajjukire. Bw’oyanjula ekyawandiikibwa era n’olaga ensonga lwaki ogenda kukisoma, nnyonnyola engeri ebigambo ebikulu ebiri mu kyawandiikibwa ekyo gye bikwataganamu n’ensonga eyo.
-
Nnyonnyola mu engeri ennyangu. Weewale okunnyonnyola kalonda yenna atakwatagana na nsonga nkulu. Ng’osinziira ku ekyo abakuwuliriza kye bamanyi ku nsonga gy’oyogerako, salawo bintu bimeka by’onooyogerako okusobola okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu.