ESSUULA 16
“Jjangu e Masedoniya”
Emikisa egiva mu kukkiriza obuvaananyizibwa n’okugumiikiriza n’essanyu okuyigganyizibwa
Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 16:6-40
1-3. (a) Bulagirizi ki omwoyo omutukuvu bwe gwawa Pawulo ne banne? (b) Biki bye tugenda okulaba?
ABAKAZI abali mu kibinja bava mu kibuga Firipi eky’e Masedoniya, era oluvannyuma lw’akaseera katono batuuka ku Mugga Gangites. Ng’enkola yaabwe bulijjo bw’eri, batuula ku lubalama lw’omugga ne basaba Yakuwa Katonda wa Isirayiri. Yakuwa abalaba.—2 Byom. 16:9; Zab. 65:2.
2 Mu kiseera kye kimu, waliwo abasajja abatambula okuva mu kibuga Lusitula ekiri mu bukiikaddyo bw’essaza lya Ggalatiya, era nga kyesudde mayiro ezisukka mu 500 okuva mu Firipi. Nga wayiseewo ennaku, batuuka ku luguudo olunene oludda ebugwanjuba mu kitundu kya Asiya ekisinga okubaamu abantu abangi. Abasajja abo, kwe kugamba, Pawulo, Siira, ne Timoseewo, baagala okuyitira ku luguudo olwo bagende mu Efeso ne mu bibuga ebirala awali enkumi n’enkumi z’abantu abeetaaga okuwulira ebikwata ku Kristo. Kyokka baba tebannatandika lugendo olwo, mu ngeri etalagibwa mu Bayibuli, omwoyo omutukuvu gubagaana okugendayo. Bagaanibwa okubuulira mu Asiya. Lwaki? Yesu, ng’akozesa omwoyo omutukuvu, ayagala Pawulo ne banne bayite mu ssaza lya Asiya Omutono, basomoke Ennyanja Aegean, beeyongereyo batuuke ku lubalama lw’Omugga Gangites.
3 Waliwo ebintu ebikulu bye tuyigira ku ngeri Yesu gye yawaamu Pawulo ne banne obulagirizi okugenda e Masedoniya. Ka tulabe ebimu ku bintu ebyaliwo ku lugendo lwa Pawulo olwo olw’obuminsani olw’okubiri, olwatandika awo nga mu mwaka gwa 49 E.E.
“Katonda Yali Atutumye” (Bik. 16:6-15)
4, 5. (a) Kiki ekyaliwo nga Pawulo ne banne banaatera okutuuka e Bisuniya? (b) Kiki abayigirizwa abo kye baasalawo, era biki ebyavaamu?
4 Pawulo ne banne bwe baagaanibwa okubuulira mu Asiya, baagenda mu bukiikakkono okubuulira mu bibuga by’e Bisuniya. Okusobola okutuukayo, bayinza okuba nga baatambula okumala ennaku nga bayita mu bitundu by’e Fulugiya ne Ggalatiya ebyalimu abantu abatono. Kyokka bwe baali banaatera okutuuka mu Bisuniya, Yesu yaddamu okukozesa omwoyo omutukuvu okubaziyiza okubuulira mu kitundu ekyo. (Bik. 16:6, 7) Mu kiseera ekyo abasajja abo bayinza okuba nga baali bawulira nga basobeddwa. Baali bamanyi obubaka obw’okubuulira n’engeri ey’okubuuliramu, naye baali tebamanyi wa wa kubuulira. Tuyinza okugamba nti baali bakonkonye ku luggi olwali luyingira mu Asiya, naye ne lutaggulwawo. Baali bakonkonye ne ku luggi olwali lugenda mu Bisuniya, naye nalwo ne lutaggulwawo. Wadde kyali kityo, Pawulo yali mumalirivu okweyongera okukonkona okutuusa lwe yandizudde oluggi olwandigguddwawo. Abasajja abo oluvannyuma baasalawo ekintu ekyalabika ng’ekitaali kya magezi. Badda ebugwanjuba ne batambula mayiro 350, nga bagenda bayita ku bibuga ebitali bimu okutuusa lwe baatuuka ku mwalo gw’e Tulowa we baali basobola okuviira ne basaabala okugenda e Masedoniya. (Bik. 16:8) Nga bali eyo, Pawulo yakonkona ku luggi omulundi ogw’okusatu, era ku mulundi guno lwaggulwawo.
5 Lukka omuwandiisi w’Enjiri, eyeegatta ku Pawulo ne banne e Tulowa, atubuulira ekyaliwo. Agamba nti: “Ekiro Pawulo n’afuna okwolesebwa, n’alaba omusajja ow’e Masedoniya ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti: ‘Jjangu e Masedoniya otuyambe.’ Amangu ddala nga yaakafuna okwolesebwa, twagenda e Masedoniya, nga tukitegedde nti Katonda yali atutumye okubabuulira amawulire amalungi.” a (Bik. 16:9, 10) Kyaddaaki Pawulo yamanya aw’okubuulira. Ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okuba nti yali taleseeyo kukonkona. Mangu ddala, abasajja abo abana baasaabala okugenda e Masedoniya.
6, 7. (a) Kiki kye tuyigira ku ekyo ekyaliwo ku lugendo lwa Pawulo? (b) Ekyo kiyinza kutuyamba kuba bakakafu ku ki?
6 Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo? Weetegereze nti Pawulo yamala kusitula agende mu Asiya, omwoyo omutukuvu ne gulyoka gubaako kye gukolawo; yamala kutuuka kumpi ne Bisuniya, Yesu n’alyoka abaako ky’akolawo; era yamala kutuuka Tulowa, Yesu n’alyoka amuwa obulagirizi okugenda e Masedoniya. Naffe, Yesu Omutwe gw’ekibiina, ayinza okutuwa obulagirizi mu ngeri y’emu leero. (Bak. 1:18) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tumaze ekiseera nga tulowooza ku ky’okuweereza nga bapayoniya oba okugenda mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingawo. Kyokka kiyinza okutwetaagisa okusooka okubaako kye tukolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe, Yesu n’alyoka atuwa obulagirizi okuyitira mu mwoyo omutukuvu. Lwaki? Lowooza ku kyokulabirako kino: Omuvuzi w’emmotoka ayinza okuba ng’ayagala okuweta okudda ku ddyo oba ku kkono. Naye ekyo okusobola okukikola, emmotoka erina okuba ng’etambula. Mu ngeri y’emu, bwe tuba twagala okugaziya ku buweereza bwaffe, tulina okufuba okubaako kye tukolawo Yesu n’alyoka atuwa obulagirizi.
7 Naye watya singa okufuba kwaffe tekuvaamu mangu bibala? Ekyo kyanditumazeemu amaanyi nga tulowooza nti omwoyo omutukuvu tegutuwa bulagirizi? Nedda. Kijjukire nti Pawulo naye yasanga emiziziko. Wadde kyali kityo, yeeyongera okunoonya okutuusa lwe yazuula oluggi olwaggulwawo. Naffe tuyinza okuba abakafu nti bwe tutaggwaamu maanyi ne tweyongera okunoonya “oluggi olunene olw’emirimu,” tujja kufuna emikisa.—1 Kol. 16:9.
8. (a) Ekibuga Firipi kyali kya ngeri ki? (b) Pawulo bwe yabuulira mu ‘kifo eky’okusabiramu,’ birungi ki ebyavaamu?
8 Oluvannyuma lw’okutuuka mu ssaza ly’e Masedoniya, Pawulo ne banne baagenda mu kibuga Firipi ekyalimu abantu abaali beenyumiririza mu kuba n’obutuuze bwa Rooma. Ebintu bingi mu Firipi byali bifaanana n’eby’omu Rooma. N’olwekyo, omusirikale eyali abeera mu Firipi eyabanga awummudde emirimu gye egy’obusirikale, yalinga awulira ng’eyali abeera mu Rooma. Abaminsani bwe baafuluma wabweru w’ekibuga, baagenda ku lubalama lw’omugga gye baalowooza nti waaliyo “ekifo eky’okusabiramu.” b Ku Ssabbiiti, baagenda mu kifo ekyo ne basangayo abakazi abawerako abaali bakuŋŋaanye okusinza Katonda. Abayigirizwa baatuula wansi ne boogera n’abakazi abo. Omukazi eyali ayitibwa Liidiya “yali awuliriza era Yakuwa yaggula omutima gwe.” Ebyo abaminsani bye baali bayigiriza byakwata nnyo ku Liidiya, era ye n’ab’omu nnyumba ye baabatizibwa. Oluvannyuma yasaba Pawulo ne banne bagende babeere ewuwe. c—Bik. 16:13-15.
9. Abaweereza ba Yakuwa bangi bakoppye batya ekyokulabirako kya Pawulo, era mikisa ki egivuddemu?
9 Lowooza ku ssanyu eryaliwo Liidiya lwe yabatizibwa! Pawulo ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okuba nti yali akkirizza ‘okugenda e Masedoniya,’ era nti Yakuwa yali amukozesezza awamu ne banne okuddamu essaala z’abakazi abo abaali batya Katonda! Ne leero, baganda baffe ne bannyinaffe bangi, abato n’abakulu, abafumbo n’abatali bafumbo, bagenda mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingawo. Kyo kituufu nti boolekagana n’ebizibu ebitali bimu, naye ebizibu ebyo biba bitono nnyo bw’obigeraageranya n’essanyu eringi lye bafuna bwe bazuula abantu abalinga Liidiya, abasiima amazima agali mu Bayibuli era abakolera ku ebyo bye bayiga. Osobola okubaako enkyukakyuka z’okola osobole okugenda mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna emikisa mingi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku w’oluganda Aaron alina emyaka 24, eyagenda okuweereza mu nsi emu mu Amerika ow’omu masekkati. Okufaananako bangi abaweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako, agamba nti: “Okuweereza mu nsi endala kinnyambye okukula mu by’omwoyo n’okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Okubuulira kuleeta essanyu lingi, era nnina abayizi ba Bayibuli munaana.”
“Abantu Bonna ne Babakambuwalira” (Bik. 16:16-24)
10. Kiki dayimooni emu kye yakola okugezaako okuziyiza omulimu gw’okubuulira Pawulo ne banne gwe baali bakola?
10 Kya lwatu nti kyanyiiza nnyo Sitaani okuba nti amawulire amalungi gaali gatandise okubuulirwa mu kitundu abantu okutwalira awamu gye baali wansi w’obuyinza bwe n’obwa badayimooni. N’olwekyo tekyewuunyisa nti badayimooni baakola ebintu ebyaviirako Pawulo ne banne okuyigganyizibwa! Pawulo ne banne bwe beeyongera okugendanga mu kifo eky’okusabiramu, omuwala omuweereza eyaliko dayimooni era eyafuniranga bakama be ssente nnyingi olw’okulagula, yabagobereranga nga bw’aleekaana nti: “Abasajja bano baddu ba Katonda Asingayo Okuba Waggulu era bababuulira ekkubo ery’obulokozi.” Dayimooni eyinza okuba nga yaleeteranga omuwala oyo okwogera bw’atyo abantu balowooze nti ebyo omuwala oyo bye yali alagula n’ebyo Pawulo ne banne bye baali babuulira byalina ensibuko y’emu. Mu ngeri eyo, abantu bandibadde bawugulwa ne batassaayo mwoyo ku ebyo abagoberezi ba Kristo ab’amazima bye baali bayigiriza. Naye omuwala oyo yasirika Pawulo bwe yamugobako dayimooni.—Bik. 16:16-18.
11. Oluvannyuma lw’omuwala okugobwako dayimooni, kiki ekyatuuka ku Pawulo ne Siira?
11 Bannannyini muwala bwe baakiraba nti baali tebakyasobola kufuna ssente kuyitira mu muwala oyo, baasunguwala nnyo. Baawalaawala Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza abaali bakola ng’abalamuzi, nga bakolera wansi wa Rooma. Olw’okuba bannannyini muwala oyo baali bakimanyi nti abalamuzi abo baali basosola mu mawanga era nga balimu nnyo mwoyo gwa ggwanga, baagamba nti: ‘Abayudaaya bano bakyankalanya ekibuga kyaffe nga bayigiriza empisa ffe Abaruumi ze tutakkirizibwa kugoberera.’ Olw’ebigambo ebyo bye baayogera, ‘abantu bonna mu katale baakambuwalira Pawulo ne Siira,’ era abalamuzi “ne balagira bakubibwe emiggo.” Oluvannyuma Pawulo ne Siira baatwalibwa mu kkomera. Omukuumi w’ekkomera yassa abasajja abo abaali bajjudde ebisago mu kkomera ery’omunda, era ebigere byabwe n’abissa mu nvuba. (Bik. 16:19-24) Omukuumi w’ekkomera bwe yaggalawo oluggi, ekizikiza kyali kya maanyi nnyo munda nga kyenkana Pawulo ne Siira buli omu tasobola kulaba munne. Kyokka Yakuwa yali alaba.—Zab. 139:12.
12. (a) Abayigirizwa ba Kristo baatwala batya okuyigganyizibwa, era lwaki? (b) Nkola ki ez’okuyigganyizibwa Sitaani n’abo b’akozesa ze bakyakozesa n’okutuusa leero?
12 Yesu yali yagamba nti abagoberezi be “bajja kubayigganya.” (Yok. 15:20) N’olwekyo, Pawulo ne banne bwe baagenda e Masedoniya, baali basuubira okuyigganyizibwa. Bwe baatandika okuyigganyizibwa, ekyo tebaakitwala ng’akabonero akaali kalaga nti Yakuwa yali tasiima bye baali bakola, wabula baakitwala ng’akabonero akaali kalaga nti Sitaani yali musunguwavu. Leero abo Sitaani b’akozesa nabo beeyambisa enkola ze zimu ezaakozesebwa mu Firipi. Abantu abatatwagala batwogerako ebintu eby’obulimba ku masomero ne ku mirimu gye tukolera, ne kituviirako okuyigganyizibwa. Mu nsi ezimu, abakulembeze b’amadiini abatuyigganya batulumiriza mu kkooti nga bagamba nti: ‘Abajulirwa ba Yakuwa batabangula emirembe nga bayigiriza ebintu ebitakkirizibwa mu madiini gaffe gannansangwa.’ Mu bitundu ebimu bakkiriza bannaffe bakubibwa era basibibwa mu makomera. Kyokka Yakuwa alaba.—1 Peet. 3:12.
“Ne Babatizibwa Awatali Kulwa” (Bik. 16:25-34)
13. Kiki ekyaleetera omukuumi w’ekkomera okubuuza Pawulo ne Siira nti: “Kiki kye nteekwa okukola okusobola okulokolebwa?”
13 Pawulo ne Siira baali beetaaga ekiseera okuyitawo okusobola okutereera n’okuggwaamu ekyekango olw’ebyo ebyali bibatuuseeko ku olwo. Kyokka obudde we bwatuukira mu ttumbi, baali tebakyabirowoozaako. “Baali basaba era nga bayimba ennyimba ezitendereza Katonda.” Mu kiseera ekyo musisi yakankanya ekkomera! Omukuumi w’ekkomera bwe yazuukuka n’alaba ng’enzigi nzigule, yalowooza nti abasibe baali badduse. Olw’okuba yali akimanyi nti yali agenda kubonerezebwa olw’abasibe okumutolokako, ‘yasowolayo ekitala kye okwetta.’ Naye Pawulo yamugamba nti: “Teweekolako kabi, ffenna weetuli!” Omukuumi w’ekkomera oyo, nga yenna akankana, yabuuza nti: “Bassebo, kiki kye nteekwa okukola okusobola okulokolebwa?” Pawulo ne Siira baali tebasobola kumulokola. Yesu yekka ye yali asobola okumulokola. N’olwekyo baamugamba nti: “Kkiriza Mukama waffe Yesu, ojja kulokolebwa.”—Bik. 16:25-31.
14. (a) Pawulo ne Siira baayamba batya omukuumi w’ekkomera? (b) Mikisa ki Pawulo ne Siira gye baafuna olw’okugumiikiriza n’essanyu nga bayigganyizibwa?
14 Omukuumi w’ekkomera oyo ekibuuzo ekyo yakibuuza mu bwesimbu? Pawulo teyabuusabuusa nti yakibuuza mu bwesimbu. Omusajja oyo yali munnaggwanga era yali tamanyi Byawandiikibwa. Okusobola okufuuka Omukristaayo, yalina okusooka okuyiga n’okukkiriza enjigiriza z’Ebyawandiikibwa ezisookerwako. N’olwekyo Pawulo ne Siira baamala ekiseera nga “bamubuulira ekigambo kya Yakuwa.” Olw’okuba Pawulo ne Siira baali beemalidde ku kuyigiriza omusajja oyo Ebyawandiikibwa, bayinza okuba nga baali tebakyawulira bulumi bwe baalina olw’okukubibwa. Kyokka ye omukuumi w’ekkomera yalaba ebiwundu eby’amaanyi ebyali ku migongo gyabwe era n’abanyiga ebiwundu ebyo. Oluvannyuma “ye n’ab’omu nnyumba ye bonna [baabatizibwa] awatali kulwa.” Nga Pawulo ne Siira baafuna emikisa olw’okugumiikiriza n’essanyu nga bayigganyizibwa!—Bik. 16:32-34.
15. (a) Abajulirwa ba Yakuwa bangi leero bakoppye batya ekyokulabirako kya Pawulo ne Siira? (b) Lwaki tusaanidde okuddayo enfunda n’enfunda mu maka g’abantu abali mu kitundu kyaffe okubabuulira?
15 Okufaananako Pawulo ne Siira, Abajulirwa ba Yakuwa bangi babuulidde amawulire amalungi nga bali mu kkomera, era waliwo ebirungi bingi ebivuddemu. Ng’ekyokulabirako, mu nsi emu omulimu gwaffe gye gwawerebwa, waliwo ekiseera lwe kyatuuka ng’Abajulirwa ba Yakuwa 40 ku buli 100 abaali mu nsi eyo amazima baagayiga bali mu kkomera! (Is. 54:17) Ate era weetegereze nti omukuumi w’ekkomera yasaba obuyambi nga musisi amaze kuyita. Mu ngeri y’emu leero, abantu abamu abaagaana obubaka bw’Obwakabaka, bayinza okubukkiriza oluvannyuma lw’okufuna ebizibu ebitali bimu. Bwe tuddayo enfunda n’enfunda okubuulira abantu ababeera mu kitundu kyaffe, tuba tukiraga nti tuli beetegefu okubayigiriza amazima mu kiseera we babeerera abeetegefu okuwuliriza.
Bik. 16:35-40)
“Kati Baagala Kututa mu Kyama?” (16. Ebintu byakyuka bitya ku lunaku olwaddako nga Pawulo ne Siira bamaze okukubibwa?
16 Enkeera ku makya, abakungu b’ekibuga baalagira nti Pawulo ne Siira bateebwe. Naye Pawulo yagamba nti: “Baatukubidde mu lujjudde nga tewali musango gwe batuvunaana, era ne batuteeka mu kkomera so nga tuli basajja Baruumi. Kati baagala kututa mu kyama? Nedda! Bo bennyini bajje batuggyeyo.” Abakungu b’ekibuga bwe baakitegeera nti Pawulo ne Siira baalina obutuuze bwa Rooma, ‘baatya nnyo,’ kubanga baali balinnyiridde eddembe lyabwe. d Kati ebintu byali bikyuse. Abayigirizwa baali bakubiddwa mu lujjudde; n’olwekyo abakungu b’ekibuga nabo baali balina okubeetondera mu lujjudde. Beegayirira Pawulo ne Siira okuva mu Firipi. Abayigirizwa abo ababiri ekyo baakikkiriza, naye baasooka kumala kuzzaamu maanyi abayigirizwa abapya abaali mu kibuga ekyo, oluvannyuma ne balyoka bagenda.
17. Kintu ki ekikulu abayigirizwa abapya kye bayinza okuba nga baayiga bwe baalaba nga Pawulo ne Siira bagumidde okuyigganyizibwa?
17 Singa eddembe lya Pawulo ne Siira lyali teririnnyiriddwa, oboolyawo bandibadde tebakubibwa. (Bik. 22:25, 26) Kyokka ekyo kyandireetedde abayigirizwa mu Firipi okulowooza nti Pawulo ne Siira baali bakozesezza eddembe lye baalina ng’abatuuze ba Rooma obutabonyaabonyezebwa ku lwa Kristo. Ekyo kyandikutte kitya ku kukkiriza kw’abayigirizwa abataalina butuuze bwa Rooma? Okusinziira ku mateeka, bo bandibadde balina okukubibwa. N’olwekyo, Pawulo ne munne bwe baagumira okukubibwa, kyayamba abayigirizwa abapya okukiraba nti abagoberezi ba Kristo basobola okusigala nga banywevu wadde nga bayigganyizibwa. Ku luuyi olulala, Pawulo ne Siira bwe baasaba nti eddembe lyabwe lissibwemu ekitiibwa, kyamanyika mu lujjudde nti ekyo abakungu b’ekibuga kye baakola kyali kimenya mateeka. Ekyo kyandibaviiriddeko obutayisa bubi bagoberezi ba Kristo abaali mu kibuga ekyo n’okubawa obukuumi ng’embeera efaananako n’eyo eyaviirako Pawulo ne Siira okukwatibwa n’okukubibwa ezzeewo mu biseera eby’omu maaso.
18. (a) Abalabirizi Abakristaayo leero bakoppa batya Pawulo? (b) Leero tulwanirira tutya amawulire amalungi n’okuganyweza okuyitira mu mateeka?
18 Leero abalabirizi mu kibiina Ekikristaayo bawa abalala obulagirizi nga babateerawo ekyokulabirako. Kyonna kye basuubira bakkiriza bannaabwe okukola nabo baba beetegefu okukikola. Era okufaananako Pawulo, tumanyi ddi era mu ngeri ki lwe kiba kyetaagisa okukozesa amateeka okufuna obukuumi. Bwe kiba kyetaagisa tujulira mu kkooti ez’omu bitundu gye tubeera, ez’eggwanga mwe tuba, oba ezikola ku nsonga z’amawanga ag’enjawulo okusobola okufuna obukuumi tusobole okusinza kyere. Ekigendererwa kyaffe tekiba kya kuleetawo nkyukakyuka mu mbeera z’abantu, wabula ‘okulwanirira amawulire amalungi era n’okuganyweza mu mateeka,’ nga Pawulo bwe yagamba Abakristaayo b’omu kibiina ky’e Firipi nga wayise emyaka kkumi bukya asibibwa mu kkomera mu kibuga ekyo. (Baf. 1:7) Kyokka kkooti ka zibe nga zisazeewo zitya, okufaananako Pawulo ne banne, tuli bamalirivu okweyongera ‘okubuulira amawulire amalungi’ yonna omwoyo gwa Katonda gye gutuwa obulagirizi okubuulira.—Bik. 16:10.
a Laba akasanduuko “ Lukka—Omuwandiisi w’Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.”
b Kiyinzika okuba ng’Abayudaaya baagaanibwa okussa ekkuŋŋaaniro mu kibuga Firipi, okuva bwe kiri nti mu Firipi mwabeerangamu abasirikale abaabanga bawummudde emirimu gy’obusirikale, era abaali babeera okumpi n’enkambi mwe baalinga baweerereza edda. Oba kiyinzika okuba nga mu kibuga ekyo temwalimu Bayudaaya basajja bawera kkumi, nga gwe muwendo ogusembayo okuba omutono ogwalinga gwetaagisa okusobola okussaawo ekkuŋŋaaniro.
c Laba akasanduuko “ Liidiya—Yatundanga Engoye eza Kakobe.”
d Amateeka g’Abaruumi gaali gagamba nti omuntu eyabanga n’obutuuze bwa Rooma yalinanga okuwozesebwa mu bwenkanya, era teyalinanga kubonerezebwa mu lujjudde okuggyako ng’asoose kuwozesebwa, omusango ne gumusinga.