Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 9

Ensi Erifuulibwa Ddi Olusuku lwa Katonda?

Ensi Erifuulibwa Ddi Olusuku lwa Katonda?

Ebizibu ebiriwo mu nsi biraga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okubaako kye bukolawo. Lukka 21:10, 11; 2 Timoseewo 3:1-5

Ebintu bingi ebiriwo kati Bayibuli yali yabyogerako dda. Yagamba nti abantu bandibadde baagala nnyo ssente, nga tebagondera bazadde baabwe, nga bakambwe, era nga baagala nnyo eby’amasanyu.

Wandibaddewo musisi ow’amaanyi, entalo, ebbula ly’emmere, n’endwadde nnyingi. Ebintu bino weebiri kati.

Ate era Yesu yagamba nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gandibuuliddwa mu nsi yonna.​—Matayo 24:14.

Obwakabaka bujja kuggyawo ebintu byonna ebibi. 2 Peetero 3:13

Yakuwa anaatera okuzikiriza abantu ababi bonna.

Sitaani ne badayimooni bajja kubonerezebwa.

Abo abawuliriza Katonda bajja kusigalawo babeere mu nsi empya ey’obutuukirivu, omutaabeere kutya kwonna, era omunaabeera abantu abeesigaŋŋana era abaagalana.