Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 28

Biki Ebiri ku Mukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti?

Biki Ebiri ku Mukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti?

France

Poland

Russia

Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu, basobole okulaba ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.” (Matayo 5:16) Mu kukola ekyo tweyambisizza ne tekinologiya ali ku mulembe, gamba nga Intaneeti. Omukutu gwaffe www.dan124.com, gwe mukutu omutongole ogunnyonnyola ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Biki ebiri ku mukutu ogwo?

Ebibuuzo abantu bye batera okwebuuza n’eby’okuddamu ebiva mu Bayibuli. Ku mukutu ogwo osangako eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo abantu bye batera okwebuuza. Ng’ekyokulabirako, kuliko tulakiti erina omutwe, Okubonaabona Kuliggwaawo? ne Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu? mu nnimi ezisukka mu 600.Kuliko ne Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya mu nnimi ezisukka mu 130 awamu n’ebitabo ebirala by’osobola okukozesa okweyongera okutegeera Bayibuli, gamba ng’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? Kubaako ne magazini zaffe Omunaala gw’Omukuumi ne Zuukuka! eziba zaakafuluma. Ebimu ku bitabo ebyo osobola okubyesomera oba okubiwuliriza nga bisomebwa, era osobola n’okubiwanula. Bwe wabaawo ayagala okumanya ebisingawo, osobola okumufunira kopi ku mukutu ogwo mu lulimi lw’ayagala n’omuwa. Vidiyo eziri mu lulimi lwa bakiggala nazo kweziri. Osobola n’okufunako emizannyo gya Bayibuli n’ennyimba ennungi z’osobola okuwuliriza.

Ebiba bituuse ku Bajulirwa ba Yakuwa n’ebirala ebibafaako. Ku mukutu ogwo osangako amawulire amapya agakwata ku mulimu gwaffe mu nsi yonna, ebyo ebiba bituuse ku Bajulirwa ba Yakuwa, ne bye tukola okudduukirira abo ababa bakoseddwa nga waguddewo akatyabaga, era n’olaba ne ku bifaananyi. Osobola n’okumanya enkuŋŋaana zaffe ennene gye zinaabeera era n’okufuna endagiriro za ofiisi zaffe ez’amatabi.

Omukutu ogwo gutuyamba okubunyisa ekitangaala ky’amazima ne mu bitundu by’ensi eby’ewala ennyo. Amawulire amalungi gatuuse ku bantu abali ku ssemazinga zonna ez’ensi, omuli n’eyo eyitibwa Antarctica. Tusaba Yakuwa atuwe omukisa ‘ekigambo kye kyeyongere okubuna mu bwangu’ mu nsi yonna.​—2 Abassessalonika 3:1.

  • Omukutu www.dan124.com guyambye gutya bangi okutegeera amazima agali mu Bayibuli?

  • Biki ebiri ku mukutu gwaffe bye wandyagadde okweyongera okwetegereza?