ESSOMO 12
Omulimu Gwaffe ogw’Okubuulira Gukolebwa Gutya?
Ng’anaatera okuttibwa, Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Naye omulimu ogw’okubuulira mu nsi yonna gwandikoleddwa gutya? Nga tugoberera ekyokulabirako Yesu kye yatuteerawo ng’ali ku nsi.—Lukka 8:1.
Tufuba okubuulira abantu mu maka gaabwe. Yesu yatendeka abayigirizwa be okubuulira amawulire amalungi nnyumba ku nnyumba. (Matayo 10:11-13; Ebikolwa 5:42; 20:20) Ababuulizi abo ab’omu kyasa ekyasooka baaweebwa ebitundu eby’okubuuliramu. (Matayo 10:5, 6; 2 Abakkolinso 10:13) Ne leero omulimu gwaffe gukolebwa mu ngeri y’emu, era buli kibiina kiweebwa ekitundu eky’okubuuliramu. Kino kituyamba okukola nga Yesu bwe yatulagira, “okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu.”—Ebikolwa 10:42.
Tufuba okubuulira abantu wonna we tubasanga. Yesu yabuuliranga abantu mu bifo ebya lukale, gamba nga ku lubalama lw’ennyanja oba ku luzzi. (Makko 4:1; Yokaana 4:5-15) Naffe tubuulira abantu wonna we tubasanga, gamba nga ku nguudo oba mu bifo awakolerwa emirimu, era oluusi tukozesa n’essimu. Buli lwe tufuna akakisa, tubuulira baliraanwa baffe, abantu be tukola nabo, be tusoma nabo, n’ab’eŋŋanda zaffe. Kino kisobozesezza obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi yonna okuwulira “amawulire amalungi ag’obulokozi.”—Zabbuli 96:2.
Ani gwe wandyagadde okubuulirako amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, era olowooza ekyo kinaamuganyula kitya? Tolonzalonza kumubuulira!
-
‘Mawulire ki amalungi’ agalina okubuulirwa?
-
Abajulirwa ba Yakuwa bakoppye batya engeri Yesu gye yabuuliramu?