Onookola Yakuwa by’Ayagala?
Tukwebaza nnyo olw’okufuba n’osoma akatabo kano osobole okumanya Abajulirwa ba Yakuwa, bye tukola, era n’engeri ekibiina kyaffe gye kiddukanyizibwamu. Tusuubira nti akatabo kano kakuyambye okukitegeera nti leero ffe abakola Yakuwa by’ayagala. Tukukubiriza okweyongera okumanya ebikwata ku Katonda n’okubibuulirako ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo, era n’okukuŋŋaananga awamu naffe.—Abebbulaniya 10:23-25.
Ojja kukiraba nti gy’onookoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gy’ojja okukoma okukiraba nti ddala akwagala nnyo. Muli ojja kuwulira ng’oyagala okukola kyonna ekisoboka okukyoleka nti naawe omwagala. (1 Yokaana 4:8-10, 19) Naye onookyoleka otya mu bulamu bwo nti oyagala Yakuwa? Lwaki kya muganyulo okutambuliza obulamu bwo ku mitindo gye egy’empisa? Kiki ekinaakuyamba okwagala okukolera awamu naffe ebyo Katonda by’ayagala? Oyo akusomesa Bayibuli ajja kukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, kikusobozese ggwe n’ab’omu maka go ‘okwekuumira mu kwagala kwa Katonda, musobole okufuna obulamu obutaggwaawo.’—Yuda 21.
Tukukubiriza okusoma akatabo ako wammanga osobole okweyongera okutambulira mu kkubo ery’amazima.