Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Mu kitabo kino, soma ku bintu byonna ebyawandiikibwa mu Bayibuli ebikwata ku bulamu bwa Yesu.
ENNYANJULA
Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Ebyo Yesu bye yayigiriza ne bye yakola, ebisangibwa mu bitabo by’Enjiri, bisobola okukyusa obulamu bwo.
EKITUNDU 1
Yesu nga Tannatandika Buweereza Bwe
ESSUULA 1
Obubaka obw’Emirundi Ebiri Obuva eri Katonda
Malayika Gabulyeri aleeta obubaka obutali bwangu kukkiriza.
ESSUULA 2
Yesu Aweebwa Ekitiibwa nga Tannazaalibwa
Erizabeesi n’omwana we ali mu lubuto bawa batya Yesu ekitiibwa?
ESSUULA 3
Oyo Agenda Okuteekateeka Ekkubo Azaalibwa
Amangu ddala nga Zekkaliya azzeemu okwogera, ayogera obunnabbi obukulu.
ESSUULA 4
Maliyamu—Ali Lubuto Naye Si Mufumbo
Maliyamu bw’agamba Yusufu nti olubuto lw’alina si lwa musajja mulala naye nti yalufuna ku bw’omwoyo omutukuvu, ekyo Yusufu akikkiriza?
ESSUULA 6
Omwana Eyasuubizibwa
Yusufu ne Maliyamu bwe batwala Yesu ku yeekaalu ng’akyali muwere, bannamukadde babiri Abayisirayiri boogera obunnabbi obukwata ku Yesu.
ESSUULA 7
Abalaguzisa Emmunyeenye Bagenda Okulaba Yesu
Lwaki emmunyeenye gye baalaba nga bali Ebuvanjuba teyabalagirira butereevu awali Yesu, naye yasooka kubalagirira awali Kabaka Kerode eyali omutemu?
ESSUULA 8
Badduka Omufuzi Omubi
Waliwo obunnabbi bwa Bayibuli bwa mirundi esatu obutuukirira nga Yesu akyali muto.
ESSUULA 9
Akulira mu Nazaaleesi
Yesu yalina baganda be ne bannyina bameka? Mulimu ki Yusufu gw’amuyigiriza?
ESSUULA 10
Yesu ne Bazadde Be Bagenda e Yerusaalemi
Yusufu ne Maliyamu bamala ennaku ssatu nga banoonya Yesu. Bwe bamuzuula, Yesu yeewuunya okuba nti babadde tebamanyi wa kumunoonyeza.
ESSUULA 11
Yokaana Omubatiza Ateekateeka Ekkubo
Abamu ku Bafalisaayo n’Abasaddukaayo bwe bajja gy’ali, Yokaana abanenya. Lwaki?
EKITUNDU 2
Yesu Atandika Obuweereza Bwe
ESSUULA 13
Yigira ku Ngeri Yesu Gye Yaziyizaamu Ebikemo
Okukemebwa kwa Yesu kutuyigiriza ebintu bibiri ebikulu ebikwata ku Sitaani.
ESSUULA 14
Yesu Atandika Okufuna Abayigirizwa
Abayigirizwa ba Yesu abasooka bakakasiza ku ki nti bazudde Masiya?
ESSUULA 15
Akola Ekyamagero Ekisooka
Yesu alaga maama we nti kati takyagoberera bulagirizi bwe wabula agoberera bwa Kitaawe ow’omu ggulu.
ESSUULA 16
Yesu Akiraga nti Ayagala Nnyo Okusinza okw’Amazima
Amateeka ga Katonda gakkiriza abantu okugula ebisolo mu Yerusaalemi eby’okuwaayo nga ssaddaaka, kati olwo lwaki Yesu yasunguwalira abaali batundira ebisolo mu yeekaalu?
ESSUULA 18
Emirimu gya Yesu Gyeyongera ate Egya Yokaana Gikendeera
Abayigirizwa ba Yokaana balina obuggya kyokka nga ye Yokaana tabulina.
ESSUULA 19
Ayigiriza Omukazi Omusamaliya
Yesu amubuulira ekintu oboolyawo kyatannabuulirako muntu mulala yenna.
EKITUNDU 3
Yesu Abuulira n’Obunyiikivu e Ggaliraaya
ESSUULA 20
Akola Ekyamagero eky’Okubiri e Kaana
Yesu awonya omwana w’omukungu, ng’omwana ali wala mayiro nga 16.
ESSUULA 21
Yesu mu Kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi
Kiki Yesu kye yayogera ekyaleetera abantu b’omu kitundu ky’ewaabwe okwagala okumutta?
ESSUULA 22
Abayigirizwa Bana Ba Kufuuka Bavubi b’Abantu
Abagamba baleke omulimu gw’okuvuba eby’ennyanja batandike okuvuba abantu.
ESSUULA 23
Yesu Akola Ebyamagero Bingi e Kaperunawumu
Yesu bw’agoba dayimooni, azigaana okugamba abantu nti Mwana wa Katonda. Lwaki?
ESSUULA 24
Yeeyongera Okubuulira mu Ggaliraaya
Abantu bajja eri Yesu bawonyezebwe, naye Yesu abannyonnyola nti okukola ebyamagero si ye nsonga enkulu eyamuleeta ku nsi.
ESSUULA 25
Asaasira Omugenge era Amuwonya
Yesu akozesa ebigambo ebiraga nti afaayo nnyo ku abo b’awonya.
ESSUULA 28
Lwaki Abayigirizwa ba Yesu Tebasiiba?
Yesu abaddamu ng’akozesa ekyokulabirako ky’ensawo z’amaliba ezaateekebwangamu omwenge.
ESSUULA 29
Omuntu Asobola Okukola Ebirungi ku Ssabbiiti?
Lwaki Abayudaaya bayigganya Yesu olw’okuwonya omusajja eyali amaze emyaka 38 nga mulwadde?
ESSUULA 30
Enkolagana Yesu gy’Alina ne Kitaawe
Abayudaaya balowooza nti Yesu yeetwala okuba nti yenkanankana ne Katonda, naye Yesu abategeeza nti teyenkanankana ne Katonda.
ESSUULA 32
Kiki Ekikkirizibwa Okukolebwa ku Ssabbiiti?
Wadde ng’Abasaddukaayo n’Abafalisaayo tebakolagana, ku luno bassa kimu nga nkuyege.
ESSUULA 33
Atuukiriza Obunnabbi bwa Isaaya
Lwaki Yesu alagira abo b’awonyezza obutabuulirako balala ebimukwatako ne by’akoze?
ESSUULA 35
Okuyigiriza okw’Oku Lusozi Okumanyiddwa Ennyo
Laba ebintu ebikulu Yesu bye yayogerako ng’ayigiriza.
ESSUULA 36
Omukulu w’Ekibinja ky’Abasirikale Ayoleka Okukkiriza okw’Amaanyi
Kiki omukulu w’abasirikale ky’akola ekyewuunyisa Yesu?
ESSUULA 37
Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu
Abo abalaba ekyamagero ekyo bategeera amakulu gaakyo.
ESSUULA 38
Yokaana Ayagala Yesu Amukakase Obanga Ye Masiya
Lwaki Yokaana Omubatiza abuuza obanga Yesu ye Masiya? Yokaana alimu okubuusabuusa?
ESSUULA 39
Zisanze Omulembe Omukakanyavu
Yesu agamba nti ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango ekibonerezo kya Kaperunawumu, ekibuga gy’abadde okumala ekiseera, kijja kuba kinene nnyo okusinga ekya Sodomu.
ESSUULA 40
Ayigiriza Ebikwata ku Kusonyiwa
Yesu bw’agamba omukazi, oboolyawo eyali malaaya, nti ebibi bye bisonyiyiddwa, aba alaga nti si kikyamu kumenya mateeka ga Katonda?
ESSUULA 43
Engero Ezikwata ku Bwakabaka
Yesu agera engero munaana okunnyonnyola ebintu ebitali bimu ebikwata ku Bwakabaka obw’omu ggulu.
ESSUULA 44
Yesu Akkakkanya Omuyaga ku Nnyanja
Yesu bwe yakkakkanya omuyaga, yalaga engeri obulamu gye bunaaba mu Bwakabaka bwe.
ESSUULA 46
Akwata ku Kyambalo kya Yesu n’Awona
Yesu kye ky’akola kiraga nti alina amaanyi era nti wa kisa nnyo.
ESSUULA 47
Omuwala Addamu Okuba Omulamu!
Yesu bw’agamba nti omuwala afudde yeebase, abantu bamusekerera. Kiki ky’amanyi abantu abo kye batamanyi?
ESSUULA 48
Akola Ebyamagero, Naye ne mu Nazaaleesi Bagaana Okumukkiriza
Abantu b’omu Nazaaleesi bagaana okukkiriza Yesu, si lwa byamagero by’akola oba olw’ebintu by’ayigiriza, naye lwa nsonga ndala.
ESSUULA 49
Abuulira mu Ggaliraaya era Atendeka Abatume
Ebigambo ‘Obwakabaaka obw’omu ggulu busembedde’ birina makulu ki?
ESSUULA 50
Beetegefu Okubuulira ne Bwe Bandibadde Bayigganyizibwa
Bwe kiba nti tebalina kutya kufa, lwaki ate abagamba okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala nga bayigganyizibwa?
ESSUULA 51
Yokaana Omubatiza Attibwa ku Mukolo gw’Amazaalibwa
Saalome azina n’asanyusa nnyo Kerode era Kerode amugamba asabe kyonna ky’ayagala. Kiki ky’asaba?
ESSUULA 52
Aliisa Nkumi na Nkumi ng’Akozesa Emigaati n’Ebyennyanja Bitono
Ekyamagero Yesu kye yakola ekyogerwako mu Njiri zonna ennya.
ESSUULA 53
Omufuzi Alina Obuyinza ku Maanyi g’Obutonde
Yesu okutambulira ku mazzi n’okukkakkanya omuyaga kiyigiriza ki abatume?
ESSUULA 55
Ebigambo bya Yesu Byewuunyisa Bangi
Yesu ayigiriza ekintu ekiviirako n’abamu ku bayigirizwa be okumwabulira.
ESSUULA 57
Yesu Awonya Omuwala n’Omusajja Kiggala
Lwaki omukazi tanyiiga Yesu bw’ageraageranya abantu b’eggwanga lye ku bubwa obuto?
ESSUULA 58
Addamu Okuliisa Abantu Emigaati era Alabula ku Kizimbulukusa
Kya ddaaki abayigirizwa ba Yesu bategeera ekyo ky’ategeeza.
ESSUULA 59
Omwana w’Omuntu y’Ani?
Ebisumuluzo by’Obwakabaka kye ki? Ani abikozesa, era abikozesa atya?
ESSUULA 61
Yesu Awonya Omulenzi Aliko Dayimooni
Yesu agamba nti omwana teyawonyezeddwa kubanga tebaabadde na kukkiriza, naye ani ataalina kukkiriza? Omulenzi, taata w’omulenzi, oba abayigirizwa ba Yesu?
ESSUULA 63
Yesu Ayogera ku Kwesittala ne ku Kwonoona
Alaga emitendera esatu egisobola okugobererwa okugonjoola obutategeeragana obw’amaanyi wakati w’ab’oluganda.
ESSUULA 64
Kikulu Okusonyiwa Abalala
Ng’akozesa olugero olukwata ku muddu ataasonyiwa, Yesu akiraga nti Katonda ayagala tusonyiwe abalala.
ESSUULA 65
Ayigiriza ng’Agenda e Yerusaalemi
Yesu ayogera n’abantu basatu, n’alaga ebintu ebisobola okulemesa omuntu okuba omugoberezi we.
EKITUNDU 4
Yesu ng’Azzeeyo e Buyudaaya
ESSUULA 66
Mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensiisira
Lwaki abamu abawuliriza Yesu balowooza nti aliko dayimooni?
ESSUULA 67
“Tewali Muntu Eyali Ayogedde bw’Atyo”
Okutwalira awamu abo bonna abali ku Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya baziyiza Yesu, naye omu ku bo amuwolereza.
ESSUULA 68
Omwana wa Katonda Kye “Kitangaala ky’Ensi”
Yesu yagamba nti “amazima gajja kubafuula ba ddembe.” Mu ngeri ki?
ESSUULA 69
Kitaabwe y’Ani—Ibulayimu oba Omulyolyomi?
Yesu alaga engeri y’okutegeeramu bazzukulu ba Ibulayimu, era alaga Kitaawe y’ani.
ESSUULA 70
Yesu Azibula Amaaso g’Omusajja Eyazaalibwa nga Muzibe
Abayigirizwa babuuza Yesu lwaki omusajja oyo muzibe wa maaso. Ye yayonoona oba bazadde be be baayonoona? Yesu bw’awonya omusajja oyo abantu baba n’endowooza za njawulo.
ESSUULA 71
Abafalisaayo Batiisatiisa Omusajja Eyali Omuzibe w’Amaaso
Ebyo omusajja eyazibulwa amaaso by’ayogera binyiiza nnyo Abafalisaayo. Abafalisaayo bamugoba mu kkuŋŋaaniro.
ESSUULA 72
Yesu Atuma Abayigirizwa 70 Okugenda Okubuulira
Mu Buyudaaya, Yesu atuma abayigirizwa 70 n’abagamba okubuulira ku Bwakabaka. Abayigirizwa babuulira wa—mu makuŋŋaaniro oba mu maka g’abantu?
ESSUULA 73
Omusamaliya Akiraga nti Muliraanwa owa Nnamaddala
Yesu akozesa atya olugero ‘lw’Omusamaliya omulungi’ okuyigiriza ekintu ekikulu ennyo?
ESSUULA 74
Ayigiriza Ebikwata ku Kusembeza Abagenyi n’Okusaba
Yesu akyalirako Maliyamu ne Maliza ewaabwe. Kiki ky’abayigiriza ku kusembeza abagenyi? Era oluvannyuma ayigiriza atya abayigirizwa be engeri y’okusabamu?
ESSUULA 75
Yesu Alaga Ekyo Ekireeta Essanyu Erya Nnamaddala
Yesu addamu abamuwakanya ng’ababuulira ku “ngalo ya Katonda” ne ku ngeri Obwakabaka bwa Katonda gye bubasubyemu. Era alaga engeri abantu gye basobola okufuna essanyu erya nnamaddala.
ESSUULA 76
Yesu Alya n’Omufalisaayo
Yesu ayanika obunnanfuusi bw’Abafalisaayo n’abawandiisi. Migugu ki emizito abantu gye bakakibwa okwetikka?
ESSUULA 77
Yesu Alabula ku by’Obugagga
Yesu agera olugero olukwata ku musajja eyazimba amawanika amanene. Kulabula ki kw’addamu okuwa okukwata ku kunoonya eby’obugagga?
ESSUULA 78
Beera Mwetegefu, Omuwanika Omwesigwa
Yesu akiraga nti afaayo ku mbeera y’abayigirizwa be ey’eby’omwoyo. Omuwanika yandibayambye atya mu by’omwoyo? Lwaki kikulu nnyo okuba abeetegefu?
ESSUULA 79
Ensonga Lwaki Boolekedde Okuzikirizibwa
Yesu agamba nti singa abo abamuwuliriza tebeenenya boolekedde okuzikirizibwa. Banaaganyulwa mu kulabula Yesu kw’awa kibayambe okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda?
ESSUULA 80
Omusumba Omulungi n’Ebisibo
Enkolagana eba wakati w’omusumba n’endiga eraga engeri Yesu gy’atwalamu abayigirizwa be. Banaawulira eddoboozi lye ne bamugoberera?
ESSUULA 81
Yesu ne Kitaawe Bali Omu, Naye Yesu Si Katonda
Abamu ku abo abawakanya Yesu bagamba nti Yesu yeefuula okuba eyenkanankana ne Katonda. Yesu akiraga nti ebyo bye boogera bikyamu?
EKITUNDU 5
Yesu ng’Azzeeyo Ebuvanjuba wa Yoludaani
ESSUULA 82
Obuweereza bwa Yesu mu Pereya
Yesu ategeeza abamuwuliriza ekyo abantu kye balina okukola okusobola okulokolebwa era n’ensonga lwaki bangi tebajja kulokolebwa. Ebyo bye yayogera bikulu nnyo ne leero?
ESSUULA 83
Bayitibwa ku Kijjulo—Baani Katonda b’Ayita?
Bw’aba ali ku kijjulo ew’Omufalisaayo, Yesu agera olugero olukwata ku kijjulo ekinene. Alina ensonga enkulu gy’ayagala abantu ba Katonda bonna bayige. Nsonga ki eyo?
ESSUULA 84
Okuba Omuyigirizwa—Kikulu Kwenkana Wa?
Okuba omuyigirizwa wa Kristo buvunaanyizibwa bwa maanyi. Yesu alaga ebizingirwamu. Ebyo Yesu by’ayogera byewuunyisa abamu abandifuuse abayigirizwa be.
ESSUULA 85
Wabaawo Essanyu Lingi ng’Omwonoonyi Yeenenyezza
Abafalisaayo n’abawandiisi banenya Yesu olw’okukolagana n’abantu aba bulijjo. Yesu abaanukula ng’agera engero eziraga engeri Katonda gy’atwalamu aboonoonyi.
ESSUULA 86
Omwana Eyali Azaaye Akomawo Eka
Biki bye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya?
ESSUULA 87
Weteekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso—Kozesa Amagezi
Yesu akozesa olugero lw’omuwanika omubi okuyigiriza amazima.
ESSUULA 88
Embeera y’Omusajja Omugagga n’Eya Laazaalo Zikyuka
Okusobola okutegeera olugero lwa Yesu kikulu okumanya abo aboogerwako mu lugero olwo kye bakiikirira.
ESSUULA 89
Ayigiriza mu Pereya ng’Agenda e Buyudaaya
Ayogera ku kintu ekisobola okutuyamba okusonyiwa abantu nga mw’otwalidde n’abo abatusobezza emirundi mingi.
ESSUULA 90
‘Okuzuukira n’Obulamu’
Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti buli amukkiririzaamu “talifa”?
ESSUULA 91
Laazaalo Azuukizibwa
Obujulizi bwa mirundi ebiri buleetera abo abawakanya Yesu okukkiriza ekyamagero ky’akoze.
ESSUULA 92
Abagenge Kkumi Bawonyenzebwa—Omu Ye Yeebaza
Omusajja awonyezeddwa ebigenge takoma ku kwebaza Yesu naye yeebaza n’omulala.
ESSUULA 93
Omwana w’Omuntu Alirabisibwa
Okubeerawo kwa Kristo kulifaanana kutya ekimyanso eky’oku ggulu?
ESSUULA 94
Ebintu Bibiri Ebikulu—Okusaba n’Obwetoowaze
Mu lugero lw’omulamuzi omubi ne nnamwandu, waliwo ekintu ekikulu ennyo Yesu ky’ayogerako.
ESSUULA 95
Ebikwata ku Kugoba Abakazi ne ku Kwagala Abaana
Endowooza Yesu gy’alina ku baana eyawukana ku y’abayigirizwa be. Lwaki?
ESSUULA 96
Yesu Addamu Omufuzi Omugagga
Lwaki Yesu agamba nti kyangu eŋŋamira okuyita mu katuli k’empiso okusinga omugagga okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda?
ESSUULA 97
Olugero Olukwata ku Bakozi mu Nnimiro y’Emizabbibu
Ab’oluvannyuma bafuuka batya ab’olubereberye ate ab’olubereberye bafuuka batya ab’oluvannyuma?
ESSUULA 98
Abatume Baddamu Okwenoonyeza Obukulu
Yakobo ne Yokaana basaba ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka, naye si be bokka ababyagala.
ESSUULA 99
Yesu Awonya Abazibe b’Amaaso era Ayamba Zaakayo
Ebyawandiikibwa ebyogera ku Yesu ng’awonya omuzibe w’amaaso okumpi ne Yeriko ddala bikontana?
ESSUULA 100
Olugero Olukwata ku Mina Ekkumi
Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Buli alina alyongerwako; naye oyo atalina, ne ky’alina kirimuggibwako”?
EKITUNDU 6
Yesu Amaliriza Obuweereza Bwe
ESSUULA 101
Ekijjulo mu Nnyumba ya Simooni e Bessaniya
Maliyamu, mwannyina Laazaalo akola ekintu ekireetera abaliwo okwemulugunya, naye Yesu amuwolereza.
ESSUULA 102
Kabaka Ayingira Yerusaalemi ng’Ali ku Mwana gw’Endogoyi
Atuukiriza obunnabbi obwawandiikibwa emyaka ebikumi bitaano emabega.
ESSUULA 103
Addamu Okulongoosa Yeekaalu
Abasuubuzi mu Yerusaalemi abalabika ng’abakola bizineesi mu bwesimbu, lwaki Yesu abayita abanyazi?
ESSUULA 104
Abayudaaya Bawulira Eddoboozi lya Katonda—Banaayoleka Okukkiriza?
Waliwo enjawulo wakati w’okukkiririza mu Yesu n’okwoleka okukkiriza okwo?
ESSUULA 105
Akozesa Omuti gw’Omutiini Okuyigiriza Ebikwata ku Kukkiriza
Yesu ayamba abayigirizwa be okulaba nti kikulu nnyo okuba n’okukkiriza, era alaga ensonga lwaki Katonda alekera awo okukolagana n’eggwanga lya Isirayiri.
ESSUULA 106
Engero Bbiri Ezikwata ku Nnimiro y’Emizabbibu
Manya amakulu g’olugero olw’omusajja eyatuma abaana be okugenda okukola mu nnimiro y’emizabbibu n’olw’omusajja eyapangisa ennimiro ye ey’emizabbibu abalimi ababi.
ESSUULA 107
Kabaka Ayita Abo Abayitiddwa ku Kijjulo ky’Embaga ey’Obugole
Olugero lwa Yesu era bunnabbi.
ESSUULA 108
Yesu Ategeera Obutego Bwe Bamutega
Yesu asirisa Abafalisaayo, Abasaddukaayo, n’oluvannyuma abalabe be abeegasse awamu.
ESSUULA 109
Ayanika Bannaddiini Abamuziyiza
Lwaki Yesu ayanika obunnanfuusi bw’abakulembeze b’eddiini?
ESSUULA 110
Olunaku Yesu lw’Asembayo Okuba ku Yeekaalu
Akozesa ekyokulabirako kya nnamwandu omwavu okuyigiriza ekintu ekikulu ennyo.
ESSUULA 111
Abatume Bamusaba Ababuulire Akabonero
Obunnabbi bwa Yesu bwasooka kutuukirira mu kyasa ekyasooka. Kyandiba nti bwali bwa kutuukirira ne ku kigero ekisingawo?
ESSUULA 112
Ayigiriza ku Kuba Obulindaala—Abawala Embeerera
Yesu yali ategeeza nti kimu kya kubiri ku bayigirizwa be bandibadde basirusiru ate nga kimu kya kubiri ba magezi?
ESSUULA 113
Ayigiriza ku Bunyiikivu—Ttalanta
Olugero lwa Yesu lutuyamba okutegeera ebigambo bye bino: “Buli alina alyongerwako era aliba na bingi.”
ESSUULA 114
Kristo mu Buyinza Bwe Alamula Endiga n’Embuzi
Yesu akozesa olugero okunnyonnyola ekinaasinziirwako okulamula abantu.
ESSUULA 115
Yesu Anaatera Okukwata Okuyitako Okusembayo
Lwaki tekyewuunyisa nti abakulembeze b’eddiini basalawo okuwa Yuda ebitundu bya ffeeza 30 byennyini okulyamu Yesu olukwe?
ESSUULA 116
Ayigiriza ku Bwetoowaze ku Mbaga ey’Okuyitako Esembayo
Yeewuunyisa nnyo abatume bw’akola omulimu ogutera okukolebwa abaddu.
ESSUULA 117
Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
Yesu atandikawo omukolo gw’Ekijjukizo, abagoberezi be bonna gwe balina okukwata buli mwaka nga Nisaani 14.
ESSUULA 118
Bakaayana ku Ani ku Bo Asinga Obukulu
Abatume beerabidde ekintu Yesu ky’abayigirizza akawungeezi ako.
ESSUULA 120
Okubala Ebibala ng’Amatabi n’Okubeera Mikwano gya Yesu
Abayigirizwa ba Yesu bayinza batya ‘okubala ebibala’?
ESSUULA 122
Essaala ya Yesu Esembayo ng’Ali mu Kisenge Ekya Waggulu
Akyoleka kaati nti yatuukiriza ekintu ekisinga ku kuyamba abantu okufuna obulokozi.
ESSUULA 123
Asaba nga Munakuwavu Nnyo
Lwaki Yesu asaba nti: “Nzigyaako ekikopo kino”? Atidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’Omununuzi?
ESSUULA 124
Kristo Aliibwamu Olukwe era Akwatibwa
Yuda anoonya Yesu n’amufuna wadde nga matumbi budde.
CHAPTER 125
Yesu Atwalibwa eri Anaasi n’Oluvannyuma eri Kayaafa
Yesu awozesebwa mu ngeri etali ya bwenkanya.
ESSUULA 126
Bamwegaanira mu Luggya lw’Ennyumba ya Kayaafa
Peetero eyalina okukkiriza okw’amaanyi yatuuka atya okwegaana Yesu?
ESSUULA 127
Awozesebwa ab’Olukiiko Olukulu, era Atwalibwa eri Piraato
Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya booleka ebiruubirirwa byabwe ebikyamu.
ESSUULA 128
Piraato ne Kerode Tebalaba Musango gw’Azizza
Lwaki Piraato aweereza Yesu eri Kerode okumulamula? Piraato tasobola kulamula Yesu?
ESSUULA 129
Piraato Agamba nti: “Laba! Ono Ye Musajja!
Ne Piraato akiraba nti Yesu alina engeri ennungi.
ESSUULA 130
Yesu Aweebwayo era Atwalibwa Okuttibwa
Lwaki Yesu agamba abakazi okwekaabira n’okukaabira abaana baabwe mu kifo ky’okumukaabira?
ESSUULA 131
Kabaka Atalina Musango Akomererwa ku Muti
Yesu awa omu ku bamenyi b’amateeka abakomereddwa okumpi naye ekisuubizo eky’omuwendo ennyo.
ESSUULA 132
“Mazima Ddala Omuntu Ono Abadde Mwana wa Katonda”
Ekizikiza okukwata emisana, musisi ow’amaanyi, n’olutimbe lw’omu yeekaalu okuyulika byonna bisonga ku kintu kimu.
ESSUULA 133
Omulambo gwa Yesu Guteekebwateekebwa era Gussibwa mu Ntaana
Lwaki Yesu bamuziika mu bwangu ng’enjuba tennagwa?
ESSUULA 134
Entaana Nkalu—Yesu Mulamu!
Yesu bw’azuukizibwa, asooka kwemanyisa eri omuyigirizwa omukazi so si abatume.
ESSUULA 135
Yesu Alabikira Bangi ng’Amaze Okuzuukizibwa
Yesu akakasa atya abayigirizwa be nti azuukiziddwa?
ESSUULA 136
Ku Lubalama lw’Ennyanja y’e Ggaliraaya
Emirundi esatu, Peetero ajjukizibwa engeri gy’ayinza okukyolekamu nti ayagala nnyo Yesu.
ESSUULA 137
Bikumi na Bikumi Bamulaba nga Pentekooti Tennatuuka
Ng’amaze okuzuukira naye nga tannagenda mu ggulu, Yesu ayogera ku ekyo abayigirizwa kye bajja okufuna n’engeri gye basaanidde okukikozesaamu.
ESSUULA 138
Kristo ku Mukono gwa Katonda Ogwa Ddyo
Kiki Yesu kye yandibadde akola ng’alindirira ekiseera lwe yanditandise okuwangula wakati mu balabe be?
ESSUULA 139
Yesu Afuula Ensi Olusuku era Amaliriza Omulimu Gwe
Akyalina eby’okukola bingi nga tannazzaayo Bwakabaka eri Katonda era Kitaawe.
Osobola Okukoppa Yesu . . .
Kulaakulanya engeri munaana mu bulamu bwo.
Olukalala lw’Ebyawandiikibwa
Kozesa olukalala luno okuzuula ebintu ebyogerwako mu bitabo by’Enjiri.
Olukalala lw’Ebyokulabirako (Engero)
Zuula essuula mu kitabo kino ekyokulabirako ekyo mwe kiri.
Obumu ku Bunnabbi Obukwata ku Masiya
Weetegereza obunnabbi obutali bumu okukwata ku Yesu obwatuukirira obwogerwako mu kitabo kino.
Ebifo Yesu Bye Yabeeramu era Bye Yabuuliramu
Mmaapu eno eraga ebitundu Yesu gye yabuulira.