ESSUULA 29
Omuntu Asobola Okukola Ebirungi ku Ssabbiiti?
-
YESU AYIGIRIZA MU BUYUDAAYA
-
AWONYA OMUSAJJA OMULWADDE OKUMPI N’EKIDIBA
Yesu alina bingi nnyo by’akoze mu buweereza bwe e Ggaliraaya. Kyokka, bwe yagamba nti, “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala,” yali alaga nti talina kubuulira mu Ggaliraaya mwokka. Bwe kityo, agenda “okubuulira mu makuŋŋaaniro g’omu Buyudaaya.” (Lukka 4:43, 44) Akola bw’atyo kubanga ekiseera kinaatera okutuuka abantu bagende ku mbaga e Yerusaalemi.
Obutafaananako buweereza bwe obw’omu Ggaliraaya, obuweereza bwe obw’omu Buyudaaya bwogerwako kitono nnyo mu bitabo by’Enjiri. Wadde nga mu Buyudaaya abantu bangi tebamuwuliriza, ekyo tekimugaana kubuulira n’obunyiikivu n’okukola ebyamagero yonna gy’agenda.
Yesu anaatera okugenda e Yerusaalemi, ekibuga ekikulu ekya Buyudaaya, ku mbaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 31 E.E. Mu kifo awabeera abantu abangi okumpi n’Omulyango gw’Endiga ogwa yeekaalu, waliwo ekidiba ekinene ekiyitibwa Besuzasa. Abalwadde bangi, bamuzibe, n’abalema bajja ku kidiba kino. Lwaki? Kubanga bakkiriza nti basobola okuwona bwe bakka mu kidiba ekyo ng’amazzi gasiikuuddwa.
Ku Ssabbiiti, Yesu alaba omusajja azze ku kidiba kino era omusajja oyo amaze emyaka 38 nga mulwadde. Yesu amubuuza nti: “Oyagala okuwona?” Omusajja amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu ayinza kunteeka mu kidiba ng’amazzi gasiikuuddwa; bwe mba ŋŋenda okukkayo, ng’omulala ansookayo.”—Yokaana 5:6, 7.
Ebigambo Yesu by’addako okwogera biteekwa okuba nga byewuunyisa nnyo omusajja oyo n’omuntu omulala yenna eyandibiwulidde. Yesu amugamba nti: “Yimuka ositule ekiwempe kyo otambule.” (Yokaana 5:8) Amangu ago, omusajja oyo awona era asitula ekiwempe kye n’atandika okutambula!
Mu kifo ky’okusanyuka olw’ekyo ekibaddewo, Abayudaaya bagamba omusajja oyo nti: “Leero Ssabbiiti, tokkirizibwa kusitula kiwempe.” Omusajja abaddamu nti: “Oyo amponyezza y’aŋŋambye nti: ‘Situla ekiwempe kyo otambule.’” (Yokaana 5:10, 11) Abayudaaya abo banyiiga nnyo era baagala okumanya oyo awonyezza omuntu ku Ssabbiiti.
Babuuza omusajja oyo nti: “Muntu ki oyo akugambye nti, ‘Kisitule otambule’?” Naye omusajja oyo tategedde linnya ly’oyo amuwonyezza kubanga Yesu ‘abulidde mu bantu abangi abali mu kifo ekyo.’ (Yokaana 5:12, 13) Naye oluvannyuma omusajja oyo asisinkana Yesu mu yeekaalu, era ategeera nti ye yamuwonyezza obulwadde.
Omusajja oyo addamu okusisinkana Abayudaaya abaamubuuza eyamuwonya era abagamba nti ye Yesu. Bwe bakimanya nti ye Yesu, Abayudaaya abo basalawo okugenda gy’ali. Bagendayo kumanya Yesu gye yaggya amaanyi agamusobozesa okukola ebyamagero ebyo? Nedda. Bagenda kunenya Yesu olw’okukola ebintu ebirungi ku Ssabbiiti. Era batandika n’okumuyigganya!