Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 24

Tofuukanga Mubbi!

Tofuukanga Mubbi!

WALIWO omuntu yenna eyali akubbyeko ekintu?— Ekyo kyakuyisa kitya?— Oyo eyakibba yali mubbi, era tewali n’omu ayagala mubbi. Olowooza omuntu afuuka atya omubbi? Azaalibwa mubbi?—

Twayiga nti abantu baazaalibwa n’ekibi. N’olwekyo ffenna tetutuukiridde. Naye tewali n’omu azaalibwa nga mubbi. Omubbi ayinza okuba ng’ava mu maka malungi. Bazadde be, baganda be, ne bannyina bayinza okuba nga beesigwa. Naye okwegomba ssente n’ebintu kiyinza okuleetera omuntu okufuuka omubbi.

Olowooza ani yasooka okuba omubbi?— Ka tulabe. Omuyigiriza Omukulu bwe yali mu ggulu yali amanyi omubbi oyo. Omubbi oyo yali malayika. Naye okuva bwe kiri nti Katonda yatonda bamalayika bonna nga batuukiridde, malayika oyo yafuuka atya omubbi?— Nga bwe twayiga mu Ssuula 8 ey’ekitabo kino, yeegomba ekintu ekitaali kikye. Okijjukira?—

Katonda bwe yatonda omusajja n’omukazi abaasooka, Adamu ne Kaawa, malayika oyo yayagala basinze ye mu kifo ky’okusinza Katonda. Abantu abo baali tebalina kumusinza. Baali balina kusinza Katonda yekka. Naye yabaleetera okumusinza mu kifo ky’okusinza Katonda! Era mu kukola ekyo, malayika oyo yafuuka mubbi. Yafuuka Sitaani Omulyolyomi.

Kiki ekireetera omuntu okufuuka omubbi?— Okwegomba ennyo ekintu ekitali kikye. Okwegomba okwo kusobola okuba okw’amaanyi ennyo ne kuleetera n’abantu abalungi okukola ebintu ebibi ennyo. Oluusi, abantu abo ababa bafuuse ababbi tebeenenya ne balekayo okukola ebintu ebibi. Omu ku bantu abo yali mutume wa Yesu. Yali ayitibwa Yuda Isukalyoti.

Yuda yali akimanyi nti okubba si kirungi kubanga yali ayigiriziddwa Amateeka ga Katonda okuviira ddala mu buto bwe. Yali akimanyi nti lumu Katonda yasinziira mu ggulu n’agamba abantu be nti: ‘Temubbanga.’ (Okuva 20:15) Yuda bwe yakula, yasisinkana Omuyigiriza Omukulu era n’afuuka omu ku bayigirizwa be. Oluvannyuma, Yesu yalonda Yuda okuba omu ku batume be 12.

Yesu n’abatume be baatambuliranga wamu. Baaliranga wamu. Era ssente zaabwe zonna zaateerekebwanga mu kasanduuko. Akasanduuko ako Yesu yakakwasa Yuda okukakuuma. Kya lwatu, ssente ezo tezaali za Yuda. Naye omanyi Yuda kye yakola oluvannyuma?—

Lwaki Yuda yabba?

Yuda yatandika okuggya ssente mu kasanduuko ako nga takkiriziddwa kukikola. Yaggyangamu ssente ezo ng’abalala tebamulaba, era yagezangako okunoonya engeri y’okufunamu ssente endala. Yatandika okulowooza ku ssente buli kiseera. Ka tulabe okwegomba kuno okubi kye kwamuleetera okukola ng’ebulayo ennaku ntono Omuyigiriza Omukulu attibwe.

Lumu, Maliyamu mwannyina wa Lazaalo mukwano gwa Yesu, yaddira agamu ku mafuta amalungi ennyo n’agafuka ku bigere bya Yesu. Kyokka Yuda yeemulugunya. Omanyi lwaki?— Yagamba nti amafuta ago gandibadde gatundibwa ssente ne ziweebwa abaavu. Naye ekituufu kiri nti yali ayagala ssente ezo ziteekebwe mu kasanduuko asobole okuzibba.​—Yokaana 12:1-6.

Yesu yagamba Yuda aleme okunenya Maliyamu, eyali amulaze ekisa. Ekyo tekyasanyusa Yuda, n’olwekyo yagenda eri bakabona abakulu, abaali abalabe ba Yesu. Era baali baagala okukwata Yesu ekiro ng’abantu tebabalaba.

Yuda yagamba bakabona nti: ‘Nja kubabuulira engeri gye muyinza okukwatamu Yesu singa mumpa ssente. Munaampa ssente mmeka?’

Bakabona baamuddamu nti, ‘tujja kukuwa ebitundu bya ffeeza asatu.’​—Matayo 26:14-16.

Yuda yatwala ssente ezo n’aba ng’atunze Omuyigiriza Omukulu eri abasajja abo! Olowooza kyandibadde kirungi omuntu yenna okukola ekintu ekibi bwe kityo?— Ekyo kye kiyinza okubaawo singa omuntu afuuka mubbi ng’abba ne ssente. Aba ayagala nnyo ssente okusinga abantu abalala oba Katonda.

Oboolyawo oyinza okugamba nti, ‘Njagala Yakuwa Katonda okusinga ekintu kyonna.’ Kirungi okuba n’endowooza ng’eyo. Yesu we yalondera Yuda okuba omutume, oboolyawo ne Yuda yalina endowooza ng’eyo. N’abalala abaafuuka ababbi bayinza okuba nga nabo baalina endowooza y’emu. Ka tuboogereko.

Bintu ki ebibi Akani ne Dawudi bye balowoozaako?

Omu yali muweereza wa Katonda eyali ayitibwa Akani, eyaliwo edda ennyo ng’Omuyigiriza Omukulu tannazaalibwa. Akani yalaba olugoye olulabika obulungi, ne zzaabu, n’ebitundu ebya ffeeza. Tebyali bibye. Bayibuli egamba nti byali bya Yakuwa kubanga byali biggiddwa ku balabe b’abantu ba Katonda. Naye Akani yabyagala nnyo n’abibba.​—Yoswa 6:19; 7:11, 20-22.

Omulala eyabba yali Dawudi. Edda ennyo, Yakuwa yalonda Dawudi okuba kabaka w’Abaisiraeri. Lumu, Dawudi yatunuulira omukazi alabika obulungi eyali ayitibwa Basuseba. Yamutunuulira nnyo era n’alowooza ku ngeri gy’ayinza okumutwala afuuke mukazi we. Naye yali mukazi wa Uliya. Kiki Dawudi kye yandikoze?—

Dawudi yandirekedde awo okwegwanyiza mukazi wa Uliya. Naye ekyo si kye yakola. Wabula Dawudi yatwala mukazi wa Uliya ewuwe. Era yakola olukwe Uliya n’attibwa. Lwaki Dawudi yakola ebintu bino ebibi?— Kubanga yeegomba omukazi ataali wuwe.​—2 Samwiri 11:2-27.

Mu ngeri ki Abusaalomu gye yali omubbi?

Yakuwa teyatta Dawudi kubanga yeenenya. Naye okuva olwo, Dawudi yafuna ebizibu bingi. Mutabani we Abusaalomu yayagala okutwala obufuzi bwa Dawudi. N’olwekyo, abantu bwe bajjanga okulaba Dawudi, Abusaalomu yabawambaatiranga era n’abanywegera. Bayibuli egamba nti: ‘Bw’atyo Abusaalomu n’abba emitima gy’abasajja ba Isiraeri.’ Yaleetera abantu abo okwagala abafuge mu kifo ky’okufugibwa Dawudi.​—2 Samwiri 15:1-12.

Wali weegombyeko ekintu nga Akani, Dawudi, ne Abusaalomu?— Singa ekintu ekyo tekiba kikyo n’okitwala nga tebakikuwadde oba obbye. Ojjukira ekyo Sitaani, omubbi eyasooka kye yali ayagala?— Yali ayagala abantu bamusinze mu kifo ky’okusinza Katonda. N’olwekyo, Sitaani yabba bwe yaleetera Adamu ne Kaawa okumugondera.

Omuntu bw’aba nga ye nnannyini kintu, aba n’obuyinza okukkiriza omuntu okukikozesa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okugenda okuzannya n’abaana abalala mu nnyumba yaabwe. Kyandibadde kirungi okuggyayo ekintu n’okitwala mu nnyumba yammwe?— Nedda, okuggyako ng’omu ku bazadde b’abaana abo akukkiriza okukitwala. Singa otwala ekintu kyonna ewammwe nga tokibasabye, oba okibbye.

Kiki ekiyinza okukuletera okubba?— Okwagala ennyo ekintu ekitali kikyo. Ne bwe kiba nti tewali muntu akulaba ng’okitwala, olowooza ani aba akulaba?— Yakuwa Katonda. Era tusaanidde okukijjukira nti Katonda tayagala bubbi. N’olwekyo okwagala Katonda n’abantu banno kijja kukuyamba obutafuuka mubbi.

Bayibuli ekiraga bulungi nti kibi okubba. Osabibwa okusoma Makko 10:17-19; Abaruumi 13:9; ne Abeefeso 4:28.