Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 14

Obwakabaka Obugenda Okufuga Ensi Yonna

Obwakabaka Obugenda Okufuga Ensi Yonna

Olowooza Bwakabaka ki bwe twogerako?— Twogera ku Bwakabaka bwa Katonda, obujja okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Wandyagadde okumanya ebisingawo ku Bwakabaka obwo?—

Obwakabaka buba ne kabaka. Kabaka y’aba afuga abantu ababeera mu nsi ye. Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda omumanyi?— Ye Yesu Kristo. Abeera mu ggulu. Mu kiseera ekitali kya wala ajja kufuga abantu bonna ku nsi! Olowooza tunaabeera basanyufu nga Yesu y’afuga ensi yonna nga kabaka?—

Kiki kye weesunga mu Lusuku lwa Katonda?

Tujja kuba basanyufu nnyo! Mu Lusuku lwa Katonda, abantu tebajja kulwanagana era tejja kubaayo ntalo. Abantu bonna bajja kuba baagalana. Tejja kubaayo bulwadde wadde okufa. Abazibe b’amaaso bajja kulaba, abaggavu b’amatu bajja kuwulira, n’abalema bajja kuba basobola okudduka n’okubuukabuuka. Buli omu ajja kuba n’emmere emala. N’ebisolo bijja kuba tebituusa kabi ku binnaabyo, era naffe nga tebitutuusaako kabi. Abantu abaafa bajja kuddamu okuba abalamu. Abasajja n’abakazi bangi b’osomyeko mu katabo kano, gamba nga Lebbeeka, Lakabu, Dawudi, ne Eriya, nabo bajja kuddamu okuba abalamu! Wandyagadde okubalabako nga bazzeemu okuba abalamu?—

Yakuwa akwagala nnyo era ayagala obeere musanyufu. Bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa era n’omugondera, ojja kubeerawo emirembe gyonna mu lusuku lwe olulabika obulungi! Wandyagadde okubeerayo?—