Febwali 20-26
ISAAYA 58-62
Oluyimba 142 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Langirira Omwaka ogw’Okulagirwamu Ekisa kya Yakuwa”: (Ddak. 10)
Is 61:1, 2
—Yesu yafukibwako amafuta “okulangirira omwaka ogw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa” (ip-2-E 322 ¶4) Is 61:3, 4
—Yakuwa assaawo “emiti eminene egy’obutuukirivu” okuwagira omulimu gwe (ip-2-E 326-327 ¶13-15) Is 61:5, 6
—“Abagwira” bakolera wamu ne “bakabona ba Yakuwa” mu kaweefube ow’okubuulira akyasinzeeyo mu byafaayo (w12 12/15 25 ¶5-6)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Is 60:17
—Yakuwa atuukiriza atya ekisuubizo kino mu nnaku zino ez’enkomerero? (w15 7/15 9-10 ¶14-17) Is 61:8, 9
—“Endagaano ey’olubeerera” y’eruwa, era “ezzadde” be baani? (w07 4/1 7 ¶5) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Is 62:1-12
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) g17.1 omutwe oguli kungulu
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) g17.1 omutwe oguli kungulu
Ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bh 16 ¶19—Bwe kiba kisoboka, maama ayigirize muwala we omuto.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 47
Kozesa Vidiyo mu Buweereza: (Ddak. 6) Kwogera. Mulabe vidiyo erina omutwe, Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki? Kubiriza bonna okukozesa vidiyo eyo awamu n’eby’okugaba mu Maaki ne mu Apuli, ku mulundi ogusooka oba mu kuddiŋŋana.
“Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe”: (Ddak. 9) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Okutuusa Ebitabo mu Bitundu Ebitali Bimu mu Congo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv ebyongerezeddwako ku lup. 215-218
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 65 n’Okusaba