Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okwewala Emikwano Emibi

Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okwewala Emikwano Emibi

Okusobola okuba mikwano gya Yakuwa, abayizi ba Bayibuli balina okulonda emikwano emirungi. (Zb 15:1, 4) Emikwano emirungi gijja kubayamba okukola ebirungi.​—Nge 13:20; lff essomo 48.

Bw’oba oyamba abayizi bo okwewala emikwano emibi, gezaako okwessa mu bigere byabwe. Kiyinza obutaba kyangu gye bali okuleka emikwano gye balina mu nsi. N’olwekyo, kirage nti obafaako. Oyinza okubaweerezaayo mesegi, okubakubira ku ssimu, oba okubakyalirako mu budde obulala. Omuyizi wo bw’agenda akulaakulana mu by’omwoyo, osobola okumuyita okubaako awamu n’abantu ba Yakuwa. Ekyo kiyinza okumuyamba okukiraba nti emikwano gy’afuna mu bantu ba Yakuwa, gisingira wala egyo gy’abadde nagyo mu nsi. (Mak 10:29, 30) Naawe ojja kufuna essanyu okulaba ng’amaka ga Yakuwa geeyongera okugaziwa.

MULABE VIDIYO, YAMBA ABAYIZI BO ABA BAYIBULI OKWEWALA EMIKWANO EMIBI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Emikwano emibi be baani?​—1Ko 15:33

  • Kafaananyi ki Shanita ke yali akuba ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye beesanyusaamu?

  • Anita yayamba atya Shanita okufuna emikwano emirungi?