OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebitonde Bituyamba Okweyongera Okwesiga Amagezi ga Yakuwa
Bulijjo Yakuwa amanyi ekisinga okutuganyula? Yee! Ekyo bwe tuba nga tukikkiriza, tujja kugoberera obulagirizi bw’atuwa. (Nge 16:3, 9) Kyokka kiyinza obutatwanguyira kugoberera bulagirizi bw’atuwa bwe buba nga bwawukana ku ekyo kye tulowooza nti kye kituufu. Tusobola okweyongera okwesiga amagezi ga Yakuwa bwe tufumiitiriza ku bintu bye yatonda.—Nge 30:24, 25; Bar 1:20.
MULABE VIDIYO, KYAJJAWO KYOKKA? EBIWUKA BYEWALA BITYA OKUBA N’AKALIPPAGANO? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Biki ebiwuka ebisinga obungi bye bikola buli lunaku?
-
Ebiwuka byewala bitya okuba n’akalippagano?
-
Biki ebibiyamba obutaba na kalippagano abantu bye basobola okukoppa?
MULABE VIDIYO, KYAJJAWO KYOKKA? ENGERI ENJUKI EYITIBWA “BUMBLEBEE” GY’EBUUKAMU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Buzibu ki abagoba b’ennyonyi bwe bafuna nga bavuga obunyonyi obutono?
-
Enjuki eyitibwa bumblebee esobola etya okubuuka obulungi wadde ng’empewo eba ekunta nnyo?
-
Kiki abantu kye basobola okukoppa ku ngeri enjuki eyo gy’ebuukamu?
Ebitonde by’olaba mu kitundu kyo byoleka bitya amagezi ga Yakuwa?