Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa Atulaga Okwagala Okutajjulukuka

Yakuwa Atulaga Okwagala Okutajjulukuka

Yakuwa akutwala ng’oli wa muwendo. (Is 43:4) Yakuleeta gy’ali n’eri ekibiina kye. Olw’okuba weewaayo era n’obatizibwa, kati oli wa Yakuwa. Akufaako era akutwala nti oli wa muwendo nnyo gy’ali ne mu biseera ebizibu. Ajja kukulaga okwagala okutajjulukuka okuyitira mu kibiina kye.​—Zb 25:10.

Tusobola okweyongera okusiima engeri Yakuwa gy’atulagamu okwagala okutajjulukuka nga twetegereza engeri ekibiina kye gye kidduukiriramu abo ababa bakoseddwa obutyabaga.

MULABE VIDIYO, LIPOOTA Y’AKAKIIKO K’ABO ABAKWANAGANYA EYA 2019, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Akakiiko k’Abo Abakwanaganya kateeseteese katya ofiisi z’amatabi okwetooloola ensi okusobola okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga?

  • Ekibiina kya Yakuwa kyawa kitya obulagirizi era kyadduukirira kitya abo abaakosebwa obutyabaga mu Indonesia ne mu Nigeria?

  • Okwatibwako otya bw’olowooza ku ngeri ekibiina kya Yakuwa gye kikuttemu ekirwadde kya COVID-19?