Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ekibuuzo: Ebigambo bino wali obiwuliddeko?
Ekyawandiikibwa: Yok 3:16
By’oyinza okwogera: Akatabo kano kannyonnyola engeri gye tuyinza okuganyulwa mu kubonaabona kwa Yesu ne mu kufa kwe.
OMUNAALA GW’OMUKUUMI (olupapula olusembayo)
Ekibuuzo: Weetegere ekibuuzo kino n’engeri abantu gye batera okukiddamu. [Soma ekibuuzo ekisooka n’eby’okuddamu ebiweereddwa.] Ggwe ekibuuzo kino wandikizeemu otya?
Ekyawandiikibwa: Mat 4:1-4
By’oyinza okwogera: Okuva bwe kiri nti Sitaani yayogera ne Yesu era n’amukema, kitegeeza nti Sitaani kitonde kya ddala wabula si kirowoozo bulowoozo ekibi. Akatabo kano kalimu ebintu ebirala Bayibuli by’eyogera ku Sitaani.
AKAPAPULA AKAYITA ABANTU KU KIJJUKIZO
By’oyinza okwogera: Tuwa buli omu akapapula kano akabayita ku mukolo omukulu ennyo. [Muwe akapapula.] Nga Maaki 23, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna bajja kukuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu Kristo, n’okuwuliriza okwogera okukwata ku ngeri okufa kwe gye kutuganyulamu. Akapapula kano kalaga ekiseera n’ekifo omukolo ogwo we gugenda okubeera. Okuyingira kwa bwereere, era buli omu ayanirizibwa.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ekyokulabirako waggulu okutegeka ennyanjula yo