Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ekibuuzo: Olowooza kirabo ki ekisinga okuba eky’omuwendo Katonda kye yatuwa?
Ekyawandiikibwa: Yok 3:16
Eky’okugaba: Akatabo kano kalaga ensonga lwaki Katonda yatuma Yesu ku nsi okutufiirira, era n’engeri gye tuyinza okulaga nti tusiima ekyo Katonda kye yatukolera.
OBWAKABAKA BWA KATONDA KYE KI?
Ekibuuzo: [Laga omuntu ekibuuzo ekiri ku tulakiti.] Ekibuuzo kino wandikizzeemu otya? Obwakabaka bwa Katonda mbeera eri mu mutima? lugero bugero? oba gavumenti eri mu ggulu?
Ekyawandiikibwa: Dan 2:44; Is 9:6, obugambo obuli wansi.
Eky’okugaba: Akapapula kano kalaga ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakolera abantu.
AKAPAPULA AKAYITA ABANTU KU KIJJUKIZO
By’oyinza okwogera: Tuyita abantu ku mukolo omukulu ennyo. [Muwe akapapula.] Nga Apuli 11, abantu bukadde na bukadde mu nsi yonna bajja kukuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu n’okuwuliriza okwogera okukwata ku ngeri okufa kwe gye kutuganyulamu. Akapapula kano kalaga ekiseera n’ekifo omukolo ogwo we gugenda okubeera mu kitundu kyaffe. Tujja kusanyuka nnyo bw’onojja.
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.