Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Kozesa Ebyokulabirako

Kozesa Ebyokulabirako

Bwe tuba tukola okuddiŋŋana oba nga tuyigiriza abantu Bayibuli, twetaaga okuyamba abo be tuyigiriza okutegeera ensonga enkulu. Bwe tukozesa ebyokulabirako okunnyonnyola ensonga enkulu, tusobola okukwata ku mitima gyabwe era n’okubayamba okujjukira ensonga enkulu.

Bw’oba weeteekateeka okukola okuddiŋŋana oba okuyigiriza omuyizi, londa ensonga enkulu z’oyagala okunnyonnyola ng’okozesa ebyokulabirako, so si buli nsonga eri mu katundu. Oluvannyuma londa ebyokulabirako ebyangu okutegeera ebikwata ku bintu ebya bulijjo. (Mat 5:14-16; Mak 2:21; Luk 14:7-11) Kakasa nti olowooza ku mbeera omuntu gw’ogenda okuyigiriza gye yakuliramu era n’ebyo by’akola. (Luk 5:2-11; Yok 4:7-15) Bw’onoolaba essanyu ly’afunye olw’okutegeera ensonga emu, naawe ojja kufuna essanyu.

MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OLONGOOSA MU NGERI GY’OYIGIRIZAAMU​—KOZESA EBYOKULABIRAKO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Lwaki abayizi ba Bayibuli beetaaga obuyambi okusobola okutegeera Ebyawandiikibwa?

  • Anita akozesezza atya ekyokulabirako okunnyonnyola amazima agali mu Abaruumi 5:12?

  • Ebyokulabirako ebirungi bikwata ku mutima

    Ebyokulabirako ebirungi biyinza bitya okukwata ku bantu be tubuulira?

  • Bwe tuba tuli mu buweereza, lwaki tusaanidde okukozesa vidiyo n’ebintu ebirala ekibiina kya Yakuwa bye kituwa?