Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Fuga Okwegomba Kwo

Fuga Okwegomba Kwo

Olw’okuba tetutuukiridde, kitwetaagisa okufuba ennyo okufuga okwegomba kwaffe. Singa tulemererwa okufuga okwegomba kwaffe, tuyinza okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ng’ekyokulabiriko, abamu balemererwa okwefuga bwe kituuka ku by’okulya, ennyambala, aw’okubeera, ne kiba nti baagala nnyo ebintu ebyo okusinga Katonda. Abalala bamenya emitindo gya Katonda olw’okwagala okukkusa okwegomba kwabwe okw’okwegatta. (Bar 1:26, 27) Ate abalala bakkiriza abalala okubaleetera okumenya amateeka ga Katonda olw’okuba baagala okwagalibwa.​—Kuv 23:2.

Tuyinza tutya okufuga okwegomba kwaffe? Tulina okufuba okussa ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo. (Mat 4:4) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okufuga ebirowoozo byaffe. Lwaki? Kubanga y’amanyi ekyo ekisingayo okutuganyula, n’engeri entuufu ey’okukkusaamu okwegomba kwaffe.​—Zb 145:16.

MULABE VIDIYO TOKKIRIZA BULAMU BWO KUSAANAWO, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Lwaki abantu abamu banywa sigala?

  • Kiki ssigala ky’ayinza okukola ku bulamu bwo?

  • Lwaki okunywa ssigala n’okunywa ebintu nga Shisha kikyamu?​—2Ko 7:1

  • Osobola okwewala okunywa ssigala!

    Oyinza otya okwewala okutandika okunywa sigala oba okulekayo omuze gw’okunywa sigala?