OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okwagala . . . Tekwegulumiza”
Okwagala kutuyamba okuba abeetoowaze. (1Ko 13:4) Bwe tuba nga twagala bakkiriza bannaffe, tetwetwala nti tuli ba waggulu. Tubanoonyamu ebirungi era tukozesa obusobozi bwaffe okubayamba. (Baf 2:3, 4) Gye tukoma okwoleka okwagala ng’okwo, Yakuwa gy’ajja okukoma okutukozesa.
MULABE VIDIYO JJUKIRA ENGERI OKWAGALA GYE KWEYISAAMU—TEKWEGULUMIZA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Bitone ki Abusaalomu bye yalina?
-
Yakozesa atya obubi ebitone ebyo?
-
Tuyinza tutya okwewala okwegulumiza?—Bag 5:26