OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Bye Nsobola Okukola Okukuuma Erinnya Lyaffe Eddungi
Abantu beetegereza nnyo engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye beeyisaamu. (1Ko 4:9) Weebuuze, ‘Enjogera yange n’enneeyisa yange biweesa Yakuwa ekitiibwa?’ (1Pe 2:12) Tetusaanidde kukola kintu kyonna ekisobola okuleeta ekivume ku kibiina kya Yakuwa.—Mub 10:1.
Wandiika ekyo Omukristaayo kye yandikoze mu mbeera zino wammanga, n’omusingi gwa Bayibuli ogusobola okumuyamba:
-
Omuntu atali mukkiriza bw’ayogera naawe mu ngeri ey’obukambwe
-
Amaka go, olugoye lwo, oba emmotoka, nga tebiri mu mbeera nnungi
-
Singa etteeka eriteereddwawo mu kitundu lirabika ng’eritali lya bwenkanya oba nga zzibu okugondera
Ab’oluganda abanoonyereza, abali mu Kitongole Ekiwandiisi, baleetedde batya abantu okwongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa?
MULABE VIDIYO, OKUYAMBA ABANTU OKWAGALA AMAZIMA N’OKUGATWALA NGA GA MUWENDO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:
Owulira otya bw’olowooza ku kufuba ekibiina kya Yakuwa kwe kiteekamu okufulumya ebintu ebituufu era ebyesigika?