EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Tekitwetaagisa Kuba Bagagga Okusobola Okuba Abatuukirivu
Zofali yagamba nti abantu ababi Katonda abaggyako eby’obugagga, era nti Yobu ateekwa okuba ng’alina ebibi bye yakola (Yob 20:5, 10, 15)
Yobu yeebuuza, ‘Lwaki ababi ebintu bibagendera bulungi?’ (Yob 21:7-9)
Embeera Yesu gye yalimu bwe yali ku nsi, eraga nti n’abo abakola Yakuwa by’ayagala basobola okuba abaavu (Luk 9:58)
EKY’OKULOWOOZAAKO: Kiki omuweereza wa Yakuwa ky’asaanidde okukulembeza mu bulamu, k’abe mugagga oba mwavu?—Luk 12:21; w07 8/1 lup. 31 ¶12.