OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abavubuka—Yakuwa Mumutwala nga Mukwano Gwammwe Asingayo?
Ngeri ki z’onoonya mu muntu gw’oyagala okufuula mukwano gwo? Oyinza okuba ng’oyagala omuntu omwesigwa, ow’ekisa, era omugabi. Yakuwa alina engeri ezo zonna. (Kuv 34:6; Bik 14:17) Bw’omusaba, awuliriza essaala zo. Akuyamba nga weetaaga obuyambi. (Zb 18:19, 35) Ate era, bwe weenenya ebibi byo akusonyiwa. (1Yo 1:9) Yakuwa ye mukwano gwaffe asingayo!
Oyinza otya okufuuka mukwano gwa Yakuwa? Soma Ekigambo kye osobole okuyiga ebimukwatako. Mubuulire ebikuli ku mutima. (Zb 62:8; 142:2) Kirage nti osiima ebyo Yakuwa by’atwala nga bikulu, gamba ng’Omwana we, Obwakabaka bwe, n’ebisuubizo bye ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Buulira abalala ebimukwatako. (Ma 32:3) Bw’onoofuba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, ajja kuba mukwano gwo emirembe gyonna.—Zb 73:25, 26, 28.
MULABE VIDIYO, ABAVUBUKA—“MULEGEEKO MULABE NTI YAKUWA MULUNGI,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Biki by’osaanidde okukola okusobola okutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa?
-
Abalala mu kibiina bayinza batya okukuyamba okuweereza Yakuwa?
-
Okubuulira kuyinza kutya okukuyamba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa?
-
Buweereza ki obw’enjawulo bw’osobola okwenyigiramu?
-
Ku ngeri za Yakuwa, ziruwa ezisinga okukusikiriza?