BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA
Kkiriza Obuyambi bwa Bakkiriza Banno
Yakuwa atuyamba ng’ayitira mu baganda baffe ne bannyinaffe. (1Pe 5:9) Basobola okutuyamba okwaŋŋanga okusoomooza kwe twolekagana nakwo mu mulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yaganyulwa nnyo mu buyambi obwamuweebwa Akula ne Pulisikira, Siira, Timoseewo, n’abalala.—Bik 18:1-5.
Bakkiriza banno bayinza batya okukuyamba ng’okola omulimu gw’okubuulira? Bayinza okukuwa amagezi ku ngeri y’okukwatamu abantu ababa bataagala kuwuliriza, engeri y’okuddiŋŋanamu, n’engeri y’okuyigirizaamu abantu Bayibuli. Lowooza ku muntu mu kibiina kyo asobola okukuwa obuyambi bwe weetaaga era omusabe akuyambe. Tewali kubuusabuusa nti mmwembi mujja kuganyulwa, era mujja kweyongera okufuna essanyu.—Baf 1:25.
MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OKKIRIZA OBUYAMBI YAKUWA BW’ATUWA—BAGANDA BAFFE NE BANNYINAFFE, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Anita yagezaako atya okukubiriza Shanita okubaawo mu nkuŋŋaana?
-
Lwaki tusaanidde okusaba ababuulizi abalala okutuyambako nga tuyigiriza omuyizi waffe owa Bayibuli?
-
Kiki Shanita ne Abigail kye baali bafaanaganya?
-
Ababuulizi abalala basobola kukuyamba batya mu buweereza?