Okitobba 10-16
1 BASSEKABAKA 19-20
Oluyimba 33 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Weeyune Yakuwa Akubudeebude”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1Sk 19:19-21—Ebiri mu nnyiriri zino bituyigiriza ki ku kukkiriza obuweereza obulala obuba butuweereddwa mu kibiina kya Yakuwa? (w97-E 11/1 lup. 31 ¶2)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1Sk 19:1-14 (th essomo 12)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe Vidiyo Okuddiŋŋana: Bayibuli—Yob 26:7. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 18)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 07 akatundu 7 ne Abamu Bagamba Nti (th essomo 7)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Sigala ng’Olina Endowooza Ennuŋŋamu: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obabuuze ebibuuzo bino: Misingi ki egya Bayibuli egisobola okutuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu? Yakuwa yabudaabuda atya Eriya? Yakuwa atubudaabuda atya era atulabirira atya?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 22
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 57 n’Okusaba