OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abafu Lwe Balizuukira
Bwe tufiirwa omuntu waffe, essuubi ery’okuzuukira lituyamba okuguma. Wadde kiri kityo, ekibi n’okufa biringa looti etubisse ffenna n’etubuutikira. (Is 25:7, 8) Eyo y’emu ku nsonga lwaki “ebitonde byonna bisindira wamu era birumwa.” (Bar 8:22) Tuyinza tutya okugumira obulumi obw’okufiirwa abantu baffe nga bwe tulindirira ekiseera lwe balizuukira? Ekigambo kya Katonda kirimu emisingi egisobola okutuyamba.
MULABE VIDIYO OMUNTU WO BW’AFA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Bulumi ki Danielle, Masahiro, ne Yoshimi bwe baafuna?
-
Ebintu ebitaano ebyogeddwako mu vidiyo byabayamba bitya?
-
Ani nsibuko y’okubudaabuda?—2Ko 1:3, 4