EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Salawo mu Ngeri ey’Amagezi ng’Olonda ow’Okufumbiriganwa Naye
Sulemaani yasalawo mu ngeri etaali ya magezi bwe yawasa abakazi baali basinza bakatonda ab’obulimba (1Sk 11:1, 2; w18.07 lup. 18 ¶7)
Mpolampola bakazi ba Sulemaani baamuggya ku Yakuwa (1Sk 11:3-6; w19.01 lup. 15 ¶6)
Yakuwa yasunguwalira Sulemaani (1Sk 11:9, 10; w18.07 lup. 19 ¶9)
Ekigambo kya Katonda kikubiriza Abakristaayo abali obwannamunigina, okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” (1Ko 7:39) Kyokka okubatizibwa ku bwakyo tekifuula muntu kuba mwami oba mukyala mulungi. Omuntu gw’oyagala okuwasa oba okufumbirwa anaakuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna? Akiraze nti ayagala nnyo Yakuwa? Nga tonnasalawo kuwasa oba kufumbirwa muntu, sooka oweeyo ekiseera okumumanya obulungi.