EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Tendereza Yakuwa olw’Amagezi Ge
Yakuwa yawa Sulemaani amagezi mangi nnyo (1Sk 10:1-3; w99-E 7/1 lup. 30 ¶6)
Kabaka omukazi ow’e Seba yawuniikirira olw’amagezi Yakuwa ge yawa Sulemaani (1Sk 10:4, 5; w99-E 11/1 lup. 20 ¶6)
Kabaka omukazi ow’e Seba yatendereza Yakuwa olw’okulonda Sulemaani okuba kabaka (1Sk 10:6-9; w99-E 7/1 lup. 30-31)
Okufaananako kabaka omukazi ow’e Seba, naffe tuyinza okukiraga nti tusiima amagezi Katonda g’atuwa. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu, kwe kukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza era ne tufuba okumukoppa. (Mat 12:42; 1Pe 2:21) Engeri endala kwe kuyamba abantu be tubuulira okufuna amagezi agava eri Katonda.