OMUTWE OGULI KUNGULU | ENGERI GY’OYINZA OKWEMANYIIZA OKUKOLA EBINTU EBIKUGANYULA
1 Tosuubira Bitasoboka
Oyinza okulowooza nti enkyukakyuka zonna ze weetaaga okukola osobola okuzikola omulundi gumu. Oyinza okugamba nti, ‘Wiiki eno ŋŋenda kulekera awo okunywa ssigala, okuvuma, okwebaka nga buyise, era ŋŋenda kutandika okukola dduyiro obutayosa, okulyanga emmere ey’omugaso eri omubiri gwange, n’okukubiranga ab’eŋŋanda zange essimu.’ Naye bw’ogezaako okutuuka ku biruubirirwa byo byonna omulundi gumu, tobaako na kimu ky’otuukako!
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Abeetoowaze baba ba magezi.”
Omuntu omwetoowaze tasuubira bitasoboka. Amanya by’asobola okukola ne by’atasobola kukola. Mu kifo ky’okugezaako okukola enkyukakyuka zonna omulundi gumu, agenda azikola mpolampola.
Bw’ogezaako okutuuka ku biruubirirwa byo byonna omulundi gumu, tobaako na kimu ky’otuukako!
KY’OYINZA OKUKOLA
Sooka okole ku nkyukakyuka emu oba bbiri, oluvannyuma olyoke okole ku ndala. Osobola okugoberera emitendera gino wammanga:
-
Kola enkalala bbiri, ng’olumu luliko ebintu ebirungi by’oyagala okwemanyiiza ate ng’olulala luliko emize emibi gy’oyagala okweggyamu. Wandiika ebintu bingi nga bwe kisobola ku nkalala ezo.
-
Sengeka ebyo by’owandiise ku nkalala ezo, ng’okulembeza ebisinga obukulu.
-
Ku buli lumu ku nkalala ezo londako ekintu kimu kimu oba bibiri bibiri, ofube okubikolako. Oluvannyuma londayo ekintu ekirala kimu oba bibiri ku buli lukalala obikoleko.
Osobola okubaako ky’okolawo okutuuka ku biruubirirwa byo mu bwangu, ng’obudde bw’obadde omala nga weenyigira mu muze omubi obukolamu ekintu ekikuganyula. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti oyagala kweggyamu omuze ogw’okumalira ebiseera ebingi ku ttivi ate ng’oyagala okwemanyiiza okuwuliziganya n’abantu bo, oyinza okusalawo okukola kino: ‘Mu kifo ky’okuteekangako ttivi nga waakatuuka awaka, ekiseera ekyo kikozesenga okukubira omu ku mikwano gyo essimu oba ab’eŋŋanda zo omubuuzeeko.’