Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BW’OFIIRWA OMUNTU WO

Ebiyinza Okukuyamba Okuguma

Ebiyinza Okukuyamba Okuguma

Waliwo abantu bangi abawa amagezi ku nsonga eno. Kyokka, si buli magezi agaweebwa nti gayamba. Ng’ekyokulabirako, omuntu omu ayinza okukugamba obutakaaba oba obutanakuwala mu ngeri yonna. Ate abalala bayinza okukubiriza okukaaba oba okunakuwala ennyo. Naye amagezi Bayibuli g’ewa malungi nnyo era gakwatagana n’ebyo abanoonyereza ku nsonga eno bye bazudde.

Mu mawanga agamu, kitwalibwa nti omusajja talina kukaaba. Naye ddala kikyamu okukaaba ne bwe wabaawo abantu abalala? Abanoonyereza ku by’obulamu bakizudde nti kya bulijjo omuntu okukaaba ng’anakuwadde. Ate era okukaaba kuyinza okuyamba omuntu okuguma okumala akaseera wadde nga munakuwavu nnyo. Kyokka omuntu bwe yeegumyagumya ng’ate alina ennyiike ku mutima kiba kya kabi gy’ali. Bayibuli tewagira ndowooza egamba nti kikyamu okunakuwala oba nti abasajja tebalina kukaaba. Lowooza ku Yesu. Mukwano gwe Laazaalo bwe yafa, yakaabira mu lujjudde lw’abantu wadde nga yali akimanyi nti agenda kumuzuukiza!​—Yokaana 11:33-35.

Omuntu asobola okuwulira obusungu naddala bw’afiirwa omuntu we ng’abadde takisuubira. Waliwo ensonga nnyingi eziyinza okuviirako omuntu afiiriddwa okuwulira obusungu; gamba singa omuntu gw’assaamu ekitiibwa ayogera ebigambo ebimalamu amaanyi. Mike abeera mu South Africa agamba nti: “Taata yafa nga ndi wa myaka 14 gyokka. Munnaddiini eyajja ku mukolo gw’okuziika yagamba nti Katonda atwala abantu abalungi mu ggulu abeere nabo eyo. * Kino kyannyiiza nnyo kubanga taata ye yali atulabirira. Kati wayiseewo emyaka 63, naye ebigambo ebyo bikyannuma.”

Naye ate singa omuntu alowooza nti y’aviiriddeko omuntu we okufa? Singa omuntu afa mu ngeri ey’ekibwatukira, oli ayinza okugamba nti ‘omuntu wange teyandifudde singa nnabaddeko ne kye nkolawo.’ Oba oyinza okuba nga lwe wasembyeyo okusisinkana n’omugenzi mwabadde n’obutakkaanya. Ekyo kiyinza okukwongera ennaku.

Bw’oba owulira bw’otyo, tosirika busirisi. Tegeezaako mukwano gwo anaakuwuliriza obulungi era anaakukakasa nti kya bulijjo abantu abali mu mbeera gy’olimu okuwulira bwe batyo. Bayibuli egamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”​—Engero 17:17.

Ow’omukwano asingayo obulungi mu biro eby’okulaba ennaku ye Mutonzi waffe, Yakuwa Katonda. Mutegeeze byonna ebikuli ku mutima kubanga ‘akufaako.’ (1 Peetero 5:7) Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” (Abafiripi 4:6, 7) Ate era kkiriza Katonda akubudeebude ng’osoma Ekigambo kye Bayibuli. Kola olukalala lw’ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi, gamba ng’ebyo ebiragiddwa mu  kasanduuko. Ebimu ku byo oyinza n’okubikwata mu mutwe. Okulowooza ku byawandiikibwa ng’ebyo kijja kukuyamba nnyo naddala ekiro ng’oli wekka era ng’otulo tukubuze.​—Isaaya 57:15.

Gye buvuddeko, omwami gwe tujja okuyita Jack ow’emyaka 40, yafiirwa mukyala we. Jack agamba nti oluusi awulira ekiwuubaalo kya maanyi nnyo, naye okusaba kumuyambye nnyo. Agamba nti: “Bwe nsaba Yakuwa siwulira kiwuubaalo. Oluusi otulo tumbula ekiro ne ntuula. Naye oluvannyuma lw’okusoma ebyawandiikibwa ebibudaabuda era n’okusaba, nfuna emirembe mu mutima ne nziramu ne nneebaka bulungi.”

Omuwala ayitibwa Vanessa yafiirwa maama we. Naye okusaba kwamuyamba nnyo. Agamba nti: “Mu kiseera we nnawuliriranga ennaku ey’amaanyi, nnakaabanga bukaabi. Yakuwa yawulirizanga okusaba kwange era n’ampa amaanyi ge nnabanga nneetaaga.”

Abawi b’amagezi abamu bakubiriza abo ababa abanakuwavu, okuyamba abalala oba okukola emirimu gya bulungi bwa nsi. Ekyo kireeta essanyu era kikendeeza ku nnaku omuntu gy’aba nayo. (Ebikolwa 20:35) Abaweereza ba Katonda bangi nabo bakizudde nti okuyamba abalala kibudaabuda nnyo.​—2 Abakkolinso 1:3, 4.

^ lup. 5 Bayibuli teyigiriza nti Katonda atta abantu n’abatwala mu ggulu. Eyogera ku bintu bisatu ebiviirako abantu okufa.​—Omubuulizi 9:11; Yokaana 8:44; Abaruumi 5:12.