OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 1 2018 | Bayibuli Ekyali ya Mugaso Leero?
BAYIBULI EKYALI YA MUGASO LEERO?
Bwe tulowooza ku by’okusoma ebingi ennyo ebiriwo ku mulembe guno ogukulaakulanye mu bya tekinologiya, ddala Bayibuli ekyali ya mugaso? Bayibuli egamba nti:
“Buli kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa.”—2 Timoseewo 3:16.
Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’esobola okutuyamba mu mbeera zonna ez’obulamu.
Amagezi Agali mu Bayibuli Gakyakola?
Ku by’okusoma ebingi ennyo ebiriwo leero, lwaki omuntu yandisomye Bayibuli, eyawandiikibwa emyaka nga 2,000 egiyise?
Bayibuli by’Eyigiriza Bikola Ekiseera Kyonna
Bayibuli by’eyigiriza bikola mu mbeera zonna, era tebiva ku mulembe.
Yava ku Mulembe
Bayibuli si kitabo kya ssaayansi, naye erimu ebintu ebikwata ku ssaayansi ebiyinza okukwewuunyisa.
1 Etuyamba Okwewala Ebizibu
Ka tulabe engeri amagezi agali mu Bayibuli gye gayambye abantu okwewala ebizibu eby’amaanyi.
2 Etuyamba Okuvvuunuka Ebizibu
Bayibuli esobola okutuyamba okuvvuunuka ebizibu eby’amaanyi bye tuludde nabyo, gamba ng’okweraliikirira ekisukkiridde, obugayaavu, n’ekiwuubaalo.
3 Etuyamba Okugumira Ebizibu
Ate ebizibu bye tutasobola kwewala wadde okuggyawo, gamba ng’obulwadde obutawona oba okufiirwa?
Bayibuli ky’Eyogera ku Biseera eby’Omu Maaso
Bayibuli esobola okutuyamba mu bizibu bye tufuna kati. Naye Bayibuli ekola ekisingawo. Esobola n’okutuyamba okumanya ebikwata ku biseera eby’omu maaso.
Olowooza Otya?
Weetegereze abantu abamu kye bagamba ne Bayibuli ky’egamba ku kibuuzo ekyo.