Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

2 Etuyamba Okuvvuunuka Ebizibu

2 Etuyamba Okuvvuunuka Ebizibu

Ebizibu ebimu bye tulina biyinza okulwawo okuvaawo; oluusi tuyinza n’okumala emyaka nga tubirina. Ate ebimu tuyinza okuba nabyo naye nga tetukimanyi. Ddala Bayibuli esobola okutuyamba okuvvuunuka ebizibu eby’amaanyi bye tuludde nabyo? Lowooza ku byokulabirako bino.

OKWERALIIKIRIRA EKISUKKIRIDDE

Rosie agamba nti, “Nnalowoozanga nnyo ku bizibu bye nnalina ne ntuuka n’okweraliikirira n’ebyo ebitannabaawo.” Byawandiikibwa ki ebyamuyamba? Ekimu ku byo ye Matayo 6:34, awagamba nti: “Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo. Buli lunaku luba n’emitawaana egirumala.” Rosie agamba nti ebigambo bya Yesu ebyo byamuyamba okulekera awo okweraliikirira ebintu ebiyinza okubaawo enkya. Agattako nti, “Nnalina ebizibu ebimmala, nga totaddeeko ebyo bye nnali nneeraliikirira nti biyinza okuntuukako.”

Yasmine naye yakiraba nti yali yeeraliikirira nnyo. Agamba nti: “Nnakaabanga okumala ennaku eziwera, ate ng’ennaku ezimu seebaka. Ebirowoozo byali bijula okunzita.” Kyawandiikibwa ki ekyamuyamba? Agamba nti 1 Peetero 5:7, kye kyamuyamba. Wagamba nti: ‘Mukwase Katonda byonna ebibeeraliikiriza, kubanga abafaako.’ Yasmine agamba nti: “Nnasabanga Yakuwa, era yaddamu okusaba kwange. Ekiseera bwe kyayitawo nnawulira nga gwe batikkudde ekintu ekizito ennyo. Oluusi n’oluusi nfuna ebinneeraliikiriza, naye kati mmanyi eky’okukola.”

OBUGAYAAVU

Omuwala ayitibwa Isabella agamba nti: “Nze ndowooza obugayaavu ozaalibwa nabwo, kubanga ne taata naye bw’ali. Ndeka okukola ebintu ebikulu ne mbeera awo nga sirina kye nkola oba nga ndaba bulabi ttivi. Obugayaavu kintu kibi kubanga buleetera omuntu obutakola bulungi mirimu.” Ekyawandiikibwa ekyamuyamba ye 2 Timoseewo 2:15, awagamba nti: “Fubanga nnyo okulaba nti osiimibwa mu maaso ga Katonda, omukozi ataliiko kimukwasa nsonyi.” Isabella agamba nti, “Saayagala mirimu gyange giswaze Katonda olw’okuba ndi mugayaavu.” Kati Isabella takyali mugayaavu.

Ne Kelsey agamba nti: “Nnalinanga omulimu ogulina okukolebwa mu bwangu naye ne nninda paka ku ssaawa esembayo. Nnakaabanga n’otulo ne tumbula, era nneeraliikiriranga. Tekyampisanga bulungi n’akamu.” Kelsey agamba nti ebigambo ebiri mu Engero 13:16 byamuyamba. Wagamba nti: “Omuntu omutegeevu yeeyisa mu ngeri ey’amagezi, naye omusirusiru ayolesa obusirusiru bwe.” Atubuulira engeri okufumiitiriza ku kyawandiikibwa ekyo gye kyamuyambamu. Agamba nti: “Kya magezi okuba n’enteekateeka ennungi. Kati nnina ekitabo mwe mpandiika bye nnina okukola, era kino kinnyamba okukola enteekateeka ennungi ne sikola bintu ku ddakiika esembayo.”

EKIWUUBAALO

Kirsten agamba nti: “Omwami wange yandekawo, n’andekera abaana bana.” Kyawandiikibwa ki ekyamuyamba mu mbeera eyo? Engero 17:17 awagamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.” Kirsten yakola emikwano mu bantu abalala abaweereza Yakuwa nga ye. Ekyo kyamuyamba kitya? Agamba nti: “Mikwano gyange bannyamba mu ngeri nnyingi! Abamu bandekeranga ebintu eby’okukozesa n’ebimuli ku mulyango gwange. Emirundi esatu mikwano gyange baatuyamba, nze n’abaana bange nga tusenguka okuva mu nnyumba emu okudda mu ndala. Ate omu yannyamba okufuna omulimu. Mikwano gyange bannyambanga buli kiseera.”

Ne Delphine gwe twayogeddeko, yawuliranga ekiwuubaalo. Oluvannyuma lw’okufuna ebizibu bingi agamba nti: “Bwe nnalabanga abali mu maka gaabwe nga basanyufu ate nga nze nsigadde bw’omu, kyandeeteranga okuwulira ekiwuubaalo.” Ekyawandiikibwa ekyamuyamba ye Zabbuli 68:6 awagamba nti: “Katonda awa abo abali obwannamunigina aw’okubeera.” Agamba nti: “Nnali nkimanyi nti ekyawandiikibwa ekyo tekitegeeza nti Katonda atuwa amaka gennyini ag’okubeeramu mu kiseera kino. Wabula atuwa amaka ag’eby’omwoyo, awali obukuumi era w’osobola okufuna emikwano egya nnamaddala mu bantu abaagala Yakuwa. Naye nnali nkimanyi nti sisobola kufuna mikwano ng’egyo nga sisoose kubeera mukwano gwa Yakuwa. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:4 byannyamba nnyo. Wagamba nti: ‘Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo, era ajja kukuwa omutima gwo bye gwagala.’”

Awunzika agamba nti: “Nnakiraba nti nnali nneetaaga okweyongera okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa. Y’asinga bonna. Oluvannyuma nnawandiika olukalala lw’ebintu bye nsobola okunyumirwa okukolera awamu n’abalala, nsobole okufuna emikwano egyagala Yakuwa. Nnayiga okulaba ebirungi mu balala n’obutatunuulira nsobi zaabwe.”

Kyo kituufu nti mikwano gyange abaweereza Katonda tebatuukiridde. Abajulirwa ba Yakuwa nabo bafuna ebizibu ng’abantu abalala. Naye bye bayiga mu Bayibuli bibakubiriza okukola kyonna kye basobola okuyamba abalala. Kirungi okuba n’emikwano ng’egyo. Naye, olowooza Bayibuli esobola okutuyamba ne mu bizibu ebitasobola kuvaawo mu kiseera kino, gamba ng’obulwadde obutawona n’ennaku ey’amaanyi gye tuwulira nga tufiiriddwa?

Bw’okolera ku magezi agali mu Bayibuli osobola okufuna emikwano emirungi