Biki Katonda by’Akoze?
Bw’omanya omuntu by’akoze ne byayiseemu kisobola okukuyamba okumumanya obulungi. Mu ngeri y’emu, bw’oba oyagala okumanya Katonda obulungi, weetaaga okumanya by’akoze. Bw’onookola bw’otyo, kijja kukwewuunyisa okulaba engeri ebintu bye yakola edda gye bituganyulamu kati, era n’engeri gye bikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso.
KATONDA YATONDA EBINTU BYONNA KU LW’OBULUNGI BWAFFE
Yakuwa Katonda ye yatonda ebintu byonna era ‘engeri ze ezitalabika, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa.’ (Abaruumi 1:20) “Ye yakola ensi ng’akozesa amaanyi ge, ye yanyweza ensi ng’akozesa amagezi ge, era ye yabamba eggulu ng’akozesa okutegeera kwe.” (Yeremiya 10:12) Ate era, ebintu Katonda bye yatonda biraga nti atufaako.
Lowooza ku ngeri ey’enjawulo Yakuwa gye yatutondamu. Bayibuli egamba nti yatutonda mu ‘kifaananyi kye.’ (Olubereberye 1:27) Ekyo kitegeeza nti yatutonda nga tusobola okwoleka engeri ze ku kigero ekitono. Ate era yatuwa obusobozi obw’okutegeera by’alowooza ne by’ayagala. Bwe tufuba okukola by’ayagala, tufuna essanyu erya nnamaddala era obulamu bwaffe buba bwa makulu. Okugatta ku ekyo, yatutonda nga tusobola okuba n’enkolagana ennungi naye.
Bwe twetegereza ebintu Katonda bye yatonda ku nsi, kituyamba okumanya engeri gy’atutwalamu. Omutume Pawulo yagamba nti Katonda ‘yeewaako obujulirwa ng’akola ebintu ebirungi, ng’atuwa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo, ng’atuwa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyaffe essanyu.’ (Ebikolwa 14:17) Katonda teyakoma ku kutuwa bintu bye twetaaga okusobola okuba abalamu. Wabula yatuwa n’ebintu eby’enjawulo mu bungi tusobole okunyumirwa obulamu. Naye ebyo bitono nnyo ku bintu Katonda bye yali atwagaliza.
Yakuwa yatonda ensi abantu basobole okugibeerako emirembe gyonna. Bayibuli egamba nti: “Ensi yagiwa abaana b’abantu,” era “teyagitondera bwereere, wabula yagitonda okubeeramu abantu.” (Zabbuli 115:16; Isaaya 45:18) Bantu ba ngeri ki Katonda b’ayagala babeere ku nsi era ayagala bagibeereko kumala bbanga ki? Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
Bwe kityo Yakuwa yatonda abantu abasooka, Adamu ne Kaawa, n’abateeka mu lusuku Edeni basobole “okululimanga n’okululabiriranga.” (Olubereberye 2:8, 15) Katonda yabagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo.” (Olubereberye 1:28) N’olwekyo, Adamu ne Kaawa baalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Eky’ennaku, baasalawo okujeemera Katonda ne bafiirwa enkizo ey’okubeera mu ‘batuukirivu abalisikira ensi.’ Naye nga bwe tugenda okulaba, obujeemu bwabwe tebwakyusa kigendererwa kya Katonda eri abantu n’ensi. Naye ka tusooke tulabe ekintu ekirala Katonda ky’akoze.
KATONDA ATUWADDE EKIGAMBO KYE
Bayibuli Kigambo kya Katonda. Yakuwa yatuwa Bayibuli tusobole okuyiga ebimukwatako. (Engero 2:1-5) Kyo kituufu nti Bayibuli tesobola kuddamu buli kibuuzo ekikwata ku Katonda kye tuyinza okwebuuza—era tewali kitabo kirala kiyinza kubiddamu. (Omubuulizi 3:11) Wadde kiri kityo, ebiri mu Bayibuli bisobola okutuyamba okumanya Katonda. Bwe tulaba engeri gy’akolaganamu n’abantu, tusobola okumanya ky’ali. Tusobola okumanya bantu ba ngeri ki b’ayagala ne b’atayagala. (Zabbuli 15:1-5) Era tusobola okumanya endowooza gy’alina ku kusinza, ku mpisa, ne ku by’obugagga. Ate era Bayibuli etuyamba okutegeera obulungi Katonda okuyitira mu bintu omwana we Yesu Kristo bye yakola ne bye yayigiriza.—Yokaana 14:9.
Ensonga endala lwaki Yakuwa yatuwa Bayibuli eri nti, ayagala tumanye engeri gye tusobola okufunamu essanyu mu bulamu. Okuyitira mu Bayibuli Yakuwa atubuulira engeri gye tusobola okufuna essanyu mu maka, okuba abamativu, n’okugumira ebizibu. Era nga bwe twalabye mu katabo kano, Bayibuli etuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu, gamba nga bino: Lwaki waliwo okubonaabona kungi? Ebiseera eby’omu maaso biriba bitya? Ate era, ennyonnyola Katonda by’akoze okukakasa nti ekigendererwa kye yalina ng’atonda abantu kituukirira.
Waliwo n’ebirala bingi ebiraga nti Bayibuli Kigambo kya Katonda. Wadde nga yawandiikibwa abasajja 40 mu bbanga erisukka mu myaka 1,600, ebirimu bikwatagana bulungi, ekiraga nti Katonda ye yakozesa abo abaagiwandiika. (2 Timoseewo 3:16) Obutafaananako bitabo birala eby’edda, obubaka obuli mu Bayibuli bukuumiddwa bulungi ng’ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda bwe biraga. Ate era Bayibuli esobodde okusigalawo wadde nga waliwo abantu abaze bagezaako okugiremesa okuvvuunulwa mu nnimi endala, okubunyisibwa, n’okusomebwa. Era kye kitabo ekikyasinze okuvvuunulwa mu nnimi ennyingi n’okubunyisibwa. Eky’okuba nti Bayibuli ekyaliwo kiraga nti “ekigambo kya Katonda waffe kibeerawo emirembe gyonna.”—Isaaya 40:8.
KATONDA YAKOLA EKIKAKASA NTI AJJA KUTUUKIRIZA EBISUUBIZO BYE
Ekintu ekirala Katonda ky’akoze kwe kutuwa obukakafu obulaga nti ajja kutuukiriza ekigendererwa kye. Nga bwe tulabye, Katonda yayagala abantu babeere ku nsi emirembe gyonna. Kyokka Adamu bwe yasalawo okujeemera Katonda, yafiirwa obulamu obutaggwaawo era n’abufiiriza n’abaana be. “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Olw’obujeemu obwo, ekigendererwa kya Katonda kyalabika ng’ekitajja kutuukirira. Kiki Yakuwa kye yakolawo?
Yakuwa kye yakola kyatuukagana n’engeri ze. Yayoleka obwenkanya n’abonereza Adamu ne Kaawa olw’obujeemu bwabwe, naye olw’okwagala kw’alina, yakola enteekateeka ey’okununula bazzukulu ba Adamu. Yakozesa amagezi ge n’asalawo engeri gye yali agenda okugonjoolamu ensonga eyo, era amangu ddala n’alaga engeri gye yali agenda okukikolamu. (Olubereberye 3:15) Yasalawo okuggya abantu mu kibi n’okufa ng’ayitira mu Mwana we Yesu Kristo. Ekyo kyali kizingiramu ki?
Okusobola okununula abantu okuva mu kibi * (Matayo 20:28; Yokaana 14:6) Yesu yali asobola okuwaayo ekinunulo olw’okuba naye yali atuukiridde nga Adamu. Kyokka obutafaananako Adamu, Yesu yali muwulize eri Katonda okutuukira ddala okufa. Olw’okuba Yesu yali tagwanidde kufa, Yakuwa yamuzuukiza n’addayo mu ggulu. Kati Yesu yali asobola okukola ekyo Adamu kye yalemererwa okukola. Yali asobola okuyamba abantu abawulize okufuna obulamu obutaggwaawo. Bayibuli egamba nti: “Ng’obujeemu bw’omuntu omu bwe bwaviirako bangi okufuuka aboonoonyi, n’obuwulize bw’omuntu omu bujja kuviirako bangi okufuuka abatuukirivu.” (Abaruumi 5:19) Okuyitira mu kinunulo kya Yesu, Katonda ajja kuwa abantu obulamu obutaggwaawo ku nsi, ng’ekigendererwa kye bwe kyali.
n’okufa, Yakuwa yatuma Yesu ku nsi okuyigiriza abantu ekkubo ery’obulamu “n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”Waliwo bingi bye tuyiga ku Yakuwa bwe tulowooza ku ngeri gye yakwatamu ensonga nga Adamu ne Kaawa bamujeemedde. Tuyiga nti tewali kiyinza kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye. (Isaaya 55:11) Ate era tuyiga nti, Yakuwa atwagala nnyo. Bayibuli egamba nti: “Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa gye tuli, Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye. Okwagala okwo kweyoleka bwe kuti: tekiri nti ffe twayagala Katonda, wabula Katonda ye yatwagala n’atuma Omwana we okuba ssaddaaka etangirira ebibi byaffe tusobole okutabagana ne Katonda.”—1 Yokaana 4:9, 10.
Katonda “teyalemwa kuwaayo Mwana we ku lwaffe ffenna.” N’olwekyo, tuli bakakafu nti ajja ‘kutuwa ebintu ebirala byonna’ bye yatusuubiza. (Abaruumi 8:32) Biki Katonda bye yatusuubiza? Weeyongera okusoma obimanye.
BIKI KATONDA BY’AKOZE?
^ lup. 16 Okumanya ebisingawo ebikwata ku kinunulo, laba essuula 5 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukafuna ku www.dan124.com/lg.
Yakuwa yatonda abantu ng’ayagala babeere ku nsi emirembe gyonna. Yatuwa Bayibuli tusobole okumanya ebimukwatako. Okuyitira mu Yesu Kristo, Yakuwa yawaayo ekinunulo okukakasa nti ebisuubizo bye bijja kutuukirira