Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okumanya Katonda Kiyinza Kukuganyula Kitya?

Okumanya Katonda Kiyinza Kukuganyula Kitya?

We tutuukidde wano, tulabye engeri gye tuyinza okuddamu ekibuuzo ekigamba nti, Katonda y’Ani? Tulabye nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa era nti engeri ye esinga obukulu kwe kwagala. Ate era tulabye by’akoze ne by’ajja okukolera abantu. Wadde nga wakyaliyo bingi eby’okuyiga ebikwata ku Katonda, oyinza okwebuuza engeri gy’ojja okuganyulwa bw’onooyiga ebimukwatako.

Yakuwa asuubiza nti “bw’onoomunoonya ajja kukkiriza omuzuule.” (1 Ebyomumirembe 28:9) Bw’onoomanya ebikwata ku Katonda, ojja kufuna ekintu ekisingayo okuba eky’omuwendo​—nga ye ‘nkolagana ey’oku lusegere ne Katonda’! (Zabbuli 25:14) Onooganyulwa otya bw’onooba ne nkolagana ng’eyo ne Katonda?

Essanyu erya nnamaddala. Yakuwa ayogerwako nga “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11) Bw’onoomusemberera era n’okoppa engeri ze, ojja kufuna essanyu erya nnamaddala. (Zabbuli 33:12) Ate era, ojja kusobola okuba omusanyufu nga weewala ebintu ebiyinza okukuleetera ebizibu era ng’okolagana bulungi n’abalala. Ojja kukkiriziganya n’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Okusemberera Katonda kirungi gye ndi.”​—Zabbuli 73:28.

Okuwulira ng’ofiibwako. Yakuwa yasuubiza abaweereza be nti: “Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.” (Zabbuli 32:8) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa afaayo ku baweereza be kinnoomu era awa buli omu kye yeetaaga. (Zabbuli 139:1, 2) Bw’onoofuna enkolagana ennungi ne Yakuwa ojja kukiraba nti bulijjo waali okukuyamba.

Ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Ng’oggyeeko okukuyamba okuba omusanyufu kati, Yakuwa Katonda era asobola okukuyamba ofuna essuubi ery’obulamu obusingayo okuba obulungi mu biseera eby’omu maaso. (Isaaya 48:17, 18) Bayibuli egamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Mu biseera bino ebizibu, essuubi Katonda ly’atuwa liringa ennanga y’eryato erituyamba okuba abanywevu.​—Abebbulaniya 6:19.

Ezo ze zimu ku nsonga lwaki wandifubye okumanya ebikwata ku Katonda n’okuba n’enkolagana ennungi naye. Tukukubiriza okwogera n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa oba okugenda ku mukutu www.dan124.com/lg osobole okumanya ebisingawo.