Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu yawonya maama wa muka Peetero.—Matayo 8:14, 15; Makko 1:29-31

Bayibuli Egaana Bannaddiini Okuwasa?

Bayibuli Egaana Bannaddiini Okuwasa?

AMADIINI mangi mu nsi, gamba ng’Abakatuliki, Abasodokisi, ab’enzikiriza ya Bbuda, n’amalala tegakkiriza bakulembeze baago kuwasa. Abantu bangi balowooza nti enkola eyo y’esinze okuleetera bannaddiini ab’enzikiriza ng’ezo okwenyigira mu by’obukaba.

N’olwekyo, kiba kikulu okwebuuza nti, Bayibuli y’egaana bannaddiini okuwasa? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tusooke tulabe enkola eyo gye yava n’ekyo Katonda ky’agirowoozaako.

ENKOLA EYO YATANDIKA ETYA?

Mu 2006, Paapa Benedict XVI bwe yali ayogera eri olukiiko lw’Ekkereziya olw’oku ntikko yagamba nti abakulembeze b’eddiini obutawasa “kalombolombo akaava edda mu biseera by’Abatume.”

Kyokka Abakristaayo abaaliwo mu biseera by’abatume baali tebagoberera kalombolombo ako. Mu butuufu, omutume Pawulo yalabula nti wandizzeewo abantu aboogera “ebigambo ebibuzaabuza” nga “bagaana abantu okufumbiriganwa.”1 Timoseewo 4:1-3.

Akalombolombo ako kaatandikibwawo abantu abamu abaali beeyita Abakristaayo mu kyasa eky’okubiri. Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Celibacy and Religious Traditions, akalombolombo ako “kalina akakwate n’enkola ey’abantu okwefuga ne bateegatta eyali ecaase mu matwale g’Abaruumi” mu kiseera ekyo.

Mu byasa ebyaddirira, abakulembeze b’Ekkereziya beeyongera okutumbula enkola eyo. Baalowoozanga nti omuntu okwegatta kimufuula atali mulongoofu era nti ekyo tekikwatagana na mirimu bannaddiini gye bakola. Kyokka ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica kigamba nti, “okutuukira ddala mu kyasa eky’ekkumi, abasosodooti bangi ne babisopu abamu baalina abakyala.”

Enkola eyo yafuulibwa etteeka mu lukiiko lw’Ekkereziya olwatuula mu Rooma mu 1123 ne 1139, era n’okutuusa leero ye nkola ekyagoberewa. Ekyo kyayamba Ekkereziya obutafiirwa bintu byayo, kubanga abasosodooti abaabanga bawasizza baalekeranga abaana baabwe ettaka ly’Ekkereziya n’ebintu by’Ekkereziya ebirala ng’eby’obusika.

ENDOWOOZA KATONDA GY’ALINA KU NKOLA EYO

Bayibuli eraga endowooza Katonda gy’alina ku kya bannaddiini obutawasa. Eraga nti waliwo Abakristaayo abaasigala nga si bafumbo “olw’Obwakabaka obw’omu ggulu,” era ne Yesu kennyini teyawasa. (Matayo 19:12) Omutume Pawulo naye teyali mufumbo, era yakubiriza n’abalala okuba nga ye, “olw’amawulire amalungi.”1 Abakkolinso 7:37, 38; 9:23.

Kyokka Yesu ne Pawulo baali tebagaana bannaddiini kuwasa. Omuntu okusigala nga si mufumbo Yesu yakiyita ‘kirabo,’ era si buli muntu nti alina ekirabo ekyo. Wadde ng’omutume Pawulo yagamba nti kirungi Omukristaayo okusigala nga si mufumbo, yagamba nti: “Sirina kiragiro kye mbawa kuva eri Mukama waffe, naye mbawa endowooza yange.”Matayo 19:11; 1 Abakkolinso 7:25.

Okugatta ku ekyo, Bayibuli eraga nti abagoberezi ba Yesu bangi abaaliwo mu biseera by’abatume, nga mw’otwalidde n’omutume Peetero, baalina abakyala. (Matayo 8:14; Makko 1:29-31; 1 Abakkolinso 9:5) Mu butuufu, olw’ebikolwa eby’obugwenyufu ebyali bicaase ennyo mu kiseera ekyo, omutume Pawulo yagamba nti omulabirizi Omukristaayo omufumbo yalina okuba ‘n’omukazi omu’ era “ng’alina abaana abawulize.”1 Timoseewo 3:2, 4.

Ekyo tekitegeeza nti abalabirizi abo baalina abakyala naye nga tebeegatta nabo, kubanga Bayibuli egamba nti “omwami asasule mukyala we ekimugwanira” era nti “buli omu tammanga munne” bwe kituuka ku nsonga y’okwegatta. (1 Abakkolinso 7:3-5) N’olwekyo, Katonda tagaana bannaddiini kuwasa.

KU LW’AMAWULIRE AMALUNGI

Bwe kiba nti Katonda tagaana bannaddiini kuwasa, lwaki Yesu ne Pawulo baagamba nti omuntu asobola okusigala nga si mufumbo? Ensonga eri nti omuntu atali mufumbo taba na bingi bimutaataaganya, era asobola okwemalira ku kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.1 Abakkolinso 7:32-35.

Lowooza ku David eyasalawo okuleka omulimu omulungi mu kibuga ekikulu ekya Mexico n’agenda mu kitundu eky’omu kyalo mu Costa Rica okuyigiriza abantu Bayibuli. David agamba nti: “Embeera teyali nnyangu mu kitundu ekyo, naye olw’okuba nnali nzekka, kyannyanguyira okugimanyiira.”

Ate ye Claudia eyagenda okubuulira mu kitundu eky’ewala agamba nti: “Nnyumirwa nnyo okuweereza Katonda. Okukkiriza kwange n’enkolagana yange ne Katonda byeyongera okunywera bwe ndaba engeri gy’andabiriramu.”

“K’obe ng’oli mufumbo oba nga toli mufumbo, ekikulu kwe kuweereza Katonda n’omutima gwo gwonna.”—Claudi

Omuntu teyandisigadde nga si mufumbo bw’aba awulira nga kimukaluubiriza. Claudia agamba nti: “K’obe ng’oli mufumbo oba nga toli mufumbo, ekikulu kwe kuweereza Katonda n’omutima gwo gwonna.”Zabbuli 119:1, 2.