Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

By’Osaanidde Okukola Okusobola Okubeera mu Nsi Empya

By’Osaanidde Okukola Okusobola Okubeera mu Nsi Empya

Ebitundu ebivuddeko biraze nti Katonda anaatera okuzikiriza abantu ababi era n’okuggyawo ebizibu byonna. Tuli bakakafu nti ekyo kijja kubaawo. Lwaki? Kubanga Ekigambo kya Katonda Bayibuli, kigamba nti:

“Ensi eggwaawo.”​—1 YOKAANA 2:17.

Ate era tuli bakakafu nti waliwo abantu abajja okuwonawo kubanga ekyawandiikibwa ekyo era kigamba nti:

“Oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.”

N’olwekyo okusobola okuwonawo, tulina okukola Katonda by’ayagala. Okusobola okumanya Katonda by’ayagala, tulina okusooka okumumanya.

‘MANYA’ EBIKWATA KU KATONDA OSOBOLE OKUWONAWO NG’ENKOMERERO EZZE

Yesu yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima.” (Yokaana 17:3) Okusobola okuwonawo ng’enkomerero ezze, era ne tufuna obulamu ogutaggwaawo, ‘kitwetaagisa okumanya Katonda.’ Ekyo kisingawo ku kumanya obumanya nti Katonda gyali oba okubaako ebintu ebitonotono bye tumanya ebikwata ku Katonda. Kitwetaagisa okufuuka mikwano gye. Bulijjo bwe tuba twagala omukwano gwe tulina n’omuntu okunywera, tuwaayo ebiseera okubeerako n’omuntu oyo. Bwe kityo bwe kiri ne ku nkolagana yaffe ne Katonda. Ka tulabe amazima agali mu Bayibuli agatuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.

SOMA EKIGAMBO KYA KATONDA BAYIBULI BULI LUNAKU

Osobola okuwonawo n’otuuka mu nsi ya Katonda empya, bw’onoomusaba akuyambe era n’okola by’ayagala

Tulya emmere buli lunaku okusobola okuba abalamu. Naye Yesu yagamba nti: “Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.”​—Matayo 4:4.

Leero ebigambo bya Yakuwa bisangibwa mu Bayibuli. Bw’onoosoma ekitabo ekyo ekitukuvu, ojja kumanya ebyo Katonda bye yakola mu biseera ebyayita, ebyo by’akola kati, era n’ebyo by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso.

SABA KATONDA AKUYAMBE

Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba ng’oyagala okukola Katonda by’ayagala, naye nga kikuzibuwalira? Mu mbeera eyo, bw’otegeera Katonda obulungi, kisobola okukuyamba.

Lowooza ku mukyala gwe tujja okuyita Sakura, eyali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yasoma ekyawandiikibwa ekigamba nti “muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu.” (1 Abakkolinso 6:18) Sakura yasaba Katonda amuwe amaanyi, era yasobola okuvvuunuka emize emibi gye yali yeenyigiramu. Naye era akyalina okulwanyisa ebikemo. Agamba nti: “Ebirowoozo ebibi bwe binzijira, nsaba Yakuwa annyambe okubirwanyisa, kubanga nkimanyi nti sisobola kubirwanyisa ku lwange. Okusaba kunnyambye okusemberera Yakuwa.” Okufaananako Sakura, abantu bukadde na bukadde bayiga ebikwata ku Katonda. Abawa amaanyi ge beetaaga okusobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe n’okukola ebimusanyusa.​—Abafiripi 4:13.

Gy’onookoma okumanya Katonda, naye gy’ajja okukoma ‘okukumanya’ n’okuba mukwano gwo. (Abaggalatiya 4:9; Zabbuli 25:14) Ekyo kijja kukusobozesa okuwonawo ng’enkomerero ezze osobole okubeera mu nsi empya. Naye ensi eyo empya eneeba etya? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.