Enkomerero Enejja? Ekyo Yesu kye Yagamba
Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, Bayibuli bw’eyogera ku nkomerero y’ensi, eba tetegeeza nkomerero y’ensi eno kwe tutudde oba enkomerero y’abantu. Wabula eba etegeeza enkomerero y’enteekateeka embi eriwo n’abo bonna abagiwagira. Naye Bayibuli eraga ekiseera enkomerero y’enteekateeka eno embi lw’enejja?
LOWOOZA KU BINTU BYA MIRUNDI EBIRI YESU BYE YAYOGERA KU NKOMERERO:
“Mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.”—MATAYO 25:13.
“Mutunulenga, mubeerenga bulindaala, kubanga temumanyi kiseera ekigereke we kinaatuukira.”—MAKKO 13:33.
N’olwekyo, tewali muntu yenna ku nsi amanyi kiseera kyennyini enkomerero w’enejjira. Kyokka Katonda yassaawo ekiseera ekigereke, kwe kugamba, ‘olunaku n’essaawa enkomerero lw’enejja.’ (Matayo 24:36) Ekyo kitegeeza nti tewali ngeri yonna gye tuyinza kumanyaamu obanga enkomerero eneetera okujja? Si bwe kiri. Yesu yagamba abagoberezi be okwetegereza ebintu ebitali bimu ebyandibadde biraga nti enkomerero eneetera okujja.
AKABONERO
Ebintu ebyo kandibadde kabonero akalaga “amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” Yesu yagamba nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu.” (Matayo 24:3, 7) Ate era yagamba nti wandibaddewo “endwadde ez’amaanyi.” (Lukka 21:11) Ebintu ebyo Yesu bye yayogerako obiraba?
Entalo ez’amaanyi, enjala, musisi, n’endwadde ezitali zimu bingi nnyo mu nsi. Ng’ekyokulabirako, mu 2004 musisi ow’emaanyi yayita mu Guyanja Indian n’aviirako sunami okutta abantu nga 225,000. Mu myaka esatu, obulwadde bwa COVID-19 bwatta abantu ng’obukadde mukaaga mu emitalo kyenda mu nsi yonna. Yesu yagamba nti ebintu ng’ebyo byandibadde biraga nti enkomerero eneetera okujja.
“NNAKU EZ’ENKOMERERO”
Ekiseera ekisembayo enkomerero eryoke ejje Bayibuli ekiyita ‘ennaku ez’enkomerero.’ (2 Peetero 3:3, 4) 2 Timoseewo 3:1-5, walaga nti mu nnaku ez’enkomerero, empisa z’abantu zandibadde zoonooneka nnyo. (Laba akasanduuko, “ Ng’Enkomerero Eneetera Okujja.”) Olaba abantu abeefaako bokka, ab’omululu, abakambwe, n’abatalaga balala kwagala? N’ebyo biraga nti enkomerero eneetera okujja.
Ennaku ez’enkomerero zinaamala kiseera kyenkana wa? Okusinziira ku Bayibuli, zijja kumala “akaseera katono.” Oluvannyuma Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’—Okubikkulirwa 11:15-18; 12:12.
ENSI EMPYA ERI KUMPI!
Katonda yassaawo dda olunaku n’essaawa w’anaazikiririza enteekateeka eno embi. (Matayo 24:36) Naye eky’essanyu kiri nti, “tayagala muntu yenna kuzikirizibwa.” (2 Peetero 3:9) Awadde abantu bonna akakisa okuyiga ebyo by’ayagala. Lwaki? Kubanga ayagala tuwonewo ng’ensi eno ezikirizibwa tusobole okubeera mu nsi empya ejja okuba ennungi ennyo era atajja kubeeramu kizibu kyonna.
Katonda ataddewo enteekateeka mu nsi yonna ey’okuyigiriza abantu basobole okumanya engeri gye basobola okubeera mu nsi empya nga bafugibwa Obwakabaka bwe. Yesu yagamba nti amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda gandibadde gabuulirwa “mu nsi yonna.” (Matayo 24:14) Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna baamala essaawa buwumbi na buwumbi nga babuulira era nga bayigiriza obubaka obuli mu Bayibuli obuwa essuubi. Yesu yagamba nti okubuulira kuno kwandibadde kukolebwa mu nsi yonna ng’enkomerero eneetera okujja.
Ekiseera ky’obufuzi bw’abantu kyenkana kiweddeyo. Naye eky’essanyu kiri nti osobola okuwonawo ng’ensi eno ezikirizibwa, osobole okubeera mu nsi eneeba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. Ekitundu ekiddako kiraga by’olina okukola okusobola okubeera mu nsi eyo empya.
Obunnabbi bwa Yesu obukwata ku “nnaku ez’enkomerero” butuwa essuubi