Ensi Empya Eri Kumpi!
Katonda yatonda ensi abantu abatuukirivu basobole okugibeeramu emirembe gyonna. (Zabbuli 37:29) Yateeka abantu abasooka, Adamu ne Kaawa, mu lusuku Edeni olwali lulabika obulungi ennyo, era n’abawa obuvunaanyizibwa awamu n’abaana baabwe okulabirira ensi.—Olubereberye 1:28; 2:15.
Ensi leero teri nga Katonda bwe yali ayagala ebeere. Kyokka Katonda takyusanga kigendererwa kye. Anaatuukiriza atya ekigendererwa kye yalina ng’atonda ensi? Ng’ebitundu ebivuddeko bwe biraze, Katonda tagenda kuzikiriza nsi eno kwe tuli. Mu kifo ky’ekyo, ajja kuleka abantu abakola by’ayagala bagibeereko. Ensi eneeba etya nga Katonda atuukirizza ebyo bye yasuubiza?
Gavumenti ejja okufuga ensi yonna
Mu kiseera ekitali kya wala, gavumenti ya Katonda ey’omu ggulu bw’enaatandika okufuga abantu bonna, ensi ejja kuba nnungi nnyo ng’abantu basobola okugibeerako nga bali bumu era nga bakola emirimu emirungi era egimatiza. Katonda yalonda Yesu Kristo okufuga ensi. Obutafaananako bafuzi bangi leero, Yesu ajja kuba afaayo ku byetaago by’abo b’afuga. Ajja kuba ayoleka okwagala, ekisa, obusaasizi, era ajja kuba mwenkanya.—Isaaya 11:4.
Obumu mu nsi yonna
Abantu abanaabeera mu nsi empya bajja kuba tebeeyawuddeyawuddeemu olw’amawanga. Bonna bajja kuba bumu. (Okubikkulirwa 7:9, 10) Abantu bonna abanaabeera ku nsi bajja kuba baagala Katonda ne bantu bannaabwe, era bajja kukolera wamu mu mirembe okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yawa abantu mu kusooka obw’okulabirira obulungi ensi.—Zabbuli 115:16.
Tewajja kubaawo ayonoona butonde
Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, obutyabaga tebujja kuddamu kukosa nsi. (Zabbuli 24:1, 2) Yesu bwe yali ku nsi, yakkakkanya omuyaga ogw’amaanyi ennyo ng’akozesa amaanyi Katonda ge yamuwa. (Makko 4:39, 41) Bw’anaaba afuga ensi, tewali n’omu ajja kweraliikirira butyabaga. Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga, abantu bajja kubeera mu mirembe n’ensolo era tebajja kwonoona butonde.—Koseya 2:18.
Abantu bajja kuba balamu bulungi era nga balina emmere nnyingi
Buli muntu ajja kuba mulamu bulungi. Tewali ajja kulwala, kukaddiwa, oba okufa. (Isaaya 35:5, 6) Abantu bajja kubeera mu nsi erabika obulungi era ennyonjo, ng’eringa olusuku Edeni, Adamu ne Kaawa lwe baalimu. Okufaananako olusuku Edeni, ensi ejja kuba ebaza emmere, era abantu bonna bajja kuba n’emmere mu bungi. (Olubereberye 2:9) Okufaananako eggwanga lya Isirayiri ery’edda, buli muntu mu nsi empya ajja ‘kulya emmere ye akutte.’—Eby’Abaleevi 26:4, 5.
Emirembe egya nnamaddala n’obukuumi
Gavumenti ya Katonda bw’eneeba efuga ensi, abantu bonna bajja kuba mu mirembe era buli omu ajja kuba ayisa munne mu ngeri ey’ekisa era ey’obwenkanya. Tewajja kubaawo ntalo, kukozesa bubi buyinza, oba okukaluubirirwa okufuna ebyetaago by’obulamu. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu alituula wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe, era tewalibaawo n’omu abatiisa.”—Mikka 4:3, 4.
Ennyumba ennungi n’emirimu egimatiza
Buli maka gajja kuba n’ennyumba nga tewali yeeraliikirira kusengulwa, era emirimu gyonna abantu gye banaaba bakola gijja kuba gibaleetera essanyu. Nga Bayibuli bw’egamba, abo abanaabeera mu nsi ya Katonda empya ‘tebajja kuteganira bwereere.’—Isaaya 65:21-23.
Obuyigirize obusingayo obulungi
Bayibuli egamba nti: “Ensi erijjula okumanya Yakuwa.” (Isaaya 11:9) Abantu abanaabeera mu nsi empya bajja kuyiga bingi ku Yakuwa Omutonzi waabwe alina amagezi agatakoma, era bajja kuyiga bingi okuva ku bintu ebirungi bye yatonda. Ebyo bye banaayiga tebagenda kubikozesa kukola byakulwanyisa oba kutuusa kabi ku bannaabwe. (Isaaya 2:4) Mu kifo ky’ekyo, bajja kuyiga okubeera awamu mu mirembe n’okulabirira obulungi ensi.—Zabbuli 37:11.
Obulamu obutaggwaawo
Katonda yatonda ensi n’obwegendereza tusobole okunyumirwa okugibeerako buli lunaku. Ayagala abantu bagibeereko emirembe gyonna. (Zabbuli 37:29; Isaaya 45:18) Katonda okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye, ‘ajja kumirira ddala okufa emirembe gyonna.’ (Isaaya 25:8) Bayibuli egamba nti: “Okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.” (Okubikkulirwa 21:4) Katonda ajja kuwa abantu bonna akakisa okubaawo emirembe gyonna, era nga mu abo mwe mujja okuba abanaawonawo ng’enkomerero ezze, n’abalala bukadde na bukadde abanaazuukizibwa.—Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15.
Manya ebisingawo ebikwata ku ngeri gy’osobola okuwonawo ng’enkomerero ezze, osobole okubeera mu nsi ennungi eneetera okujja. Saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa okukubaganya naawe ebirowoozo ku Bayibuli nga mukozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!