Twetaaga Ensi Empya!
António Guterres, ssaabawandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte yagamba nti: “Tuli mu nsi ejjudde ebizibu.” Ndowooza naawe okkiriziganya naye.
Ebifulumira mu mawulire ennaku zino byeraliikiriza
Endwadde
Obutyabaga
Obwavu n’enjala
Okwonoonebwa kw’obutonde n’ebbugumu okweyongera
Obumenyi bw’amateeka, ebikolwa eby’obukambwe, n’obulyi bw’enguzi
Entalo
Awatali kubuusabuusa, twetaaga ensi empya. Ensi ejja okubaamu
Abantu abalamu obulungi
Obukuumi eri buli omu
Emmere mu bungi
Embeera y’obudde ennungi
Obwenkanya
Emirembe
Naye bwe twogera ku nsi empya, tuba tutegeeza ki?
Kiki ekinaatuuka ku nsi gye tulimu kati?
Biki bye tusaanidde okukola okusobola okubeera mu nsi empya?
Mu katabo kano, tugenda kulaba engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo n’ebirala, era engeri gy’ebiddamu ezzaamu amaanyi.