Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

ABANTU ABAMU BAGAMBA NTI Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gy’abantu; ate abalala balowooza nti abantu bwe banaaleeta emirembe ku nsi, awo bujja kuba bufuga. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Mu biseera bya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. . . . Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka [bw’abantu] bwonna.” (Danyeri 2:44) Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?

OLOWOOZA OTYA?

  • Tewali amanyi

  • Bunaatera okujja

  • Tebulijja

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Amawulire amalungi bwe ganaamala okubuulirwa mu bujjuvu, Obwakabaka bwa Katonda bujja kujja buggyewo omulembe guno omubi.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Tewali muntu yenna amanyi kiseera Obwakabaka bwa Katonda lwe bunajja.​—Matayo 24:36.

  • Obunnabbi obuli mu Bayibuli bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja.​—Matayo 24:3, 7, 12.