Oyinza Otya Okumanyiira Ekibiina Ekipya?
OW’OLUGANDA Allen * agamba nti: “Nnafunamu okweraliikirira bwe nnali ŋŋenda mu kibiina ekipya. Nnali simanyi nti nnandisobodde okufuna emikwano emirala.” Allen agenda amanyiira ekibiina ekipya kati kyalimu ekyesudde mayiro nga 900 okuva ewaabwe.
Bwe kiba nti naawe waakegatta ku kibiina ekipya, oyinza okuba ng’olinamu obweraliikirivu. Kiki ekiyinza okukuyamba okumanyiira ekibiina ekyo? Kiki ky’oyinza okukola singa owulira nti oluddewo okukimanyiira? Ate singa mu kibiina kyo mujjamu abantu abapya, oyinza otya okukifuula ekyangu gye bali okukimanyiira?
OYINZA OTYA OKUTUUKANA N’EMBEERA N’OBA MUSANYUFU?
Lowooza ku kyokulabirako kino: Omuti bwe bagusimbuliza mu kifo ekimu ne baguzza mu kirala gusooka ne guwotokamuko. Omuti bwe guba gusimbulizibwa okuva mu ttaka, mingi ku mirandira gyagwo gitemebwako kisobole okuba ekyangu okugutambuza. Bwe gumala okusimbibwa mu kifo ekipya, gulina okutandikirawo okumera emirandira emipya. Mu ngeri y’emu, okugenda mu kibiina ekipya kiyinza okuba nga kikukosezzaamu. Mu kibiina ky’obaddemu oyinza okuba ng’obadde “n’emirandira” mingi, kwe kugamba emikwano mingi, era ng’olina n’enteekateeka z’eby’omyoyo z’omanyidde. Kati olina okumera emirandira emipya okusobola okufuna essanyu mu kibiina ekipya ky’ozzeemu. Ekyo onoosobola otya okukikola? Okukolera ku misingi gya Bayibuli kijja kukuyamba. Ka tulabeyo egimu ku gyo.
Omuntu asoma Ekigambo kya Katonda obutayosa aba “ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’emikutu gy’amazzi, ogubala ebibala mu kiseera kyagwo, era ebikoola byagwo tebiwotoka. Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.”—Zab. 1:1-3.
Ng’omuti bwe gwetaaga okufuna amazzi obutayosa okusobola okusigala nga mulamu, n’Omukristaayo yeetaaga okunywa amazzi agali mu Kigambo kya Katonda obutayosa okusobola okusigala nga mulamu mu by’omwoyo. N’olwekyo weeyongere okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, n’okugenda mu nkuŋŋaana obutayosa. Weeyongere okubeera n’okusinza kw’amaka, n’okwesomesa obutayosa. Ebintu byonna ebyali bikuyamba okunywera mu by’omwoyo mu kibiina kye walimu, obyetaaga ne mu kibiina ekipya ky’ozzeemu.
“Buli azzaamu abalala amaanyi ajja kuzzibwamu amaanyi.”—Nge. 11:25.
Ojja kuzzibwamu amaanyi era ojja kumanyiira mangu bwe weenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. Kevin omukadde mu kibiina agamba nti: “Ekintu ekyatuyamba ennyo nze ne mukyala wange, kwe kuweereza nga bapayoniya abawagizi nga twakatuuka mu kibiina ekipya. Twamanya mangu ab’oluganda, bapayoniya, n’ekitundu kye tubuuliramu.” Roger, eyasengukira mu kitundu ekyali kyesudde mayiro ezisukka mu 1,000 okuva we yali abeera agamba nti: “Ekintu ekiyinza okukuyamba okumanyiira amangu ekibiina ekipya, kwe kwenyigira ennyo mu mulimu gw’okubuulira. Ate era, tegeeza abakadde nti oli mwetegefu okuyamba wonna we kiba kyetaagisa, gamba nga mu kuyonja ekizimbe ky’Obwakabaka, okukola nga nnakyewa mu nkuŋŋaana, oba okubaako omuntu gw’otwalako mu nkuŋŋaana. Ab’oluganda bwe bakiraba nti omuntu omupya mwetegefu okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’ekibiina, bamukolako mangu omukwano.”
“Mugaziwe mu mitima gyammwe.”—2 Kol. 6:13.
Gaziwa mu kwagala ab’oluganda. Melissa n’ab’omu maka ge bwe baatuuka mu kibiina ekipya baafuba okufuna emikwano emipya. Agamba nti: “Twanyumyanga n’ab’oluganda ng’enkuŋŋaana tezinnatandika n’oluvannyuma lwazo. Tetwakomanga ku kubabuuza bubuuza
wabula twawangayo akaseera akawerako okunyumyako nabo ku bintu ebitali bimu.” Ekyo kyabasobozesa okuyiga amangu amannya g’ab’oluganda. Ate era baasembezanga ab’oluganda mu maka gaabwe ne kinyweza omukwano gwabwe. Melissa agamba nti: “Twabawa ennamba zaffe ez’essimu nabo ne batuwa ezaabwe, bwe kityo ne basobola okutuyitanga okukolera awamu nabo ebintu eby’omwoyo n’ebintu ebirala.”Bwe kiba nga tekikwanguyira kwogera na bantu b’otomanyidde, waliwo by’osobola okukola ebiyinza okukuyamba. Ng’ekyokulabirako, teekako akamwenyumwenyu ne bwe kiba nti muli owulira toyagala kukateekako. Ekyo kisobola okusikiriza abalala okukutuukirira. Bayibuli egamba nti: “Amaaso amacamufu galeetera omutima okusanyuka.” (Nge. 15:30) Rachel eyagenda mu kibiina ekipya ekyali ewala n’ewaabwe agamba nti: “Nnina ensonyi. Oluusi mba nnina okwewaliriza okwogera n’ab’oluganda mu kibiina ekipya kye ndimu. Nnoonyaayo omuntu atudde yekka nga talina gw’ayogera naye. Omuntu oyo ayinza okuba nga naye wa nsonyi nga nze.” Lwaki tofuba kwogerako n’omuntu omupya ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde?
Ku luuyi olulala, mu kusooka oyinza okusanyuka okusisinkana ab’oluganda abapya. Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo ab’oluganda abo obamanyiira. Kiba kikwetaagisa okweyongera okufuba okukola emikwano emipya.
WEEWE EKISEERA OKUMANYIIRA
Emiti egimu girwawo okumanyiira ettaka okusinga emirala. Mu ngeri y’emu, abantu abamu bamanyiira mangu ekibiina ekipya ate abalala balwawo okukimanyiira. Bwe kiba nti wayise ekiseera bukya ojja mu kibiina ekipya naye nga tonnakimayiira, emisingi gya Bayibuli gino wammanga gisobola okukuyamba:
“Ka tuleme kulekera awo kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.”—Bag. 6:9.
Tosaanidde kuggwaamu maanyi singa okiraba nti kikutwalidde ebbanga ddene okumanyiira ekibiina ekipya. Lowooza ku kino: Abaminsani bangi abava mu Ssomero lya Gireyaadi bamala emyaka egiwerako nga tebannaddayo kukyalako mu nsi zaabwe. Ekyo kibayamba okukola omukwano ogw’oku lusegere n’ab’oluganda mu nsi gye baba basindikiddwa n’okumanyiira obuwangwa bwayo.
Alejandro, akyusizza ebibiina ebiwerako, agamba nti enkyukakyuka eziba zeetaaga okukolebwa tezeetaaga kupapirwa. Agamba nti: “Ku mulundi gwe twasembayo okukyusa ekibiina mukyala wange yaŋŋamba nti, ‘Mikwano gyange gyonna bali mu kibiina kye tuvuddemu!’” Alejandro yajjukiza mukyala we nti ebigambo ebyo byennyini yali abyogedde emyaka ebiri emabega bwe baali bagenze mu kibiina ekipya. Naye mu myaka egyo ebiri yafuba okufaayo ku balala era ab’oluganda mu kusooka be yali tamanyi baafuuka mikwano gye egy’oku lusegere.
“Tobuuzanga nti, ‘Lwaki ebiseera ebyayita bisinga bino ebiriwo kati?’ kubanga ekyo tekiba kibuuzo kya magezi.”—Mub. 7:10.
Weewale okugeraageranya ekibiina ekipya ky’olimu ku kibiina ky’obaddemu. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda mu kibiina ekipya bayinza okuba nga si boogezi nnyo oba nga boogera nnyo okusinga ab’omu kibiina ky’obaddemu. Ssa essira ku ngeri zaabwe ennungi nga naawe bwe wandyagadde basse essira ku ngeri zo ennungi. Abamu ku abo abagenze mu bibiina ebipya batuuse n’okwebuuza, ‘Ddala njagala baganda bange mu nsi yonna’?—1 Peet. 2:17.
“Musabenga, muliweebwa.”—Luk. 11:9.
Weeyongere okusaba Yakuwa akuyambe. Ow’oluganda David, aweereza ng’omukadde, agamba nti: “Olutalo olwo tolulwana wekka. Waliwo ebintu bingi bye tutasobola kukola okuggyako nga Yakuwa atuyambye.
N’olwekyo musabenga!” Ekyo Rachel, ayogeddwako waggulu, naye akikkiriza. Agamba nti: “Nze n’omwami wange bwe tuwulira nga wazzeewo omuwaatwa wakati waffe n’ab’oluganda mu kibiina, twogera ne Yakuwa ne tumugamba nti, ‘Tusaba otuyambe okumanya obanga waliwo ekintu kyonna kye tukola ekireetera ab’oluganda okukaluubirirwa okuba mikwano gyaffe.’ Oluvannyuma tufuba okukola kyonna kye tusobola okubeerako awamu n’ab’oluganda.”Abazadde bwe kiba nti abaana bammwe tekibanguyidde kumanyiira kibiina kipya, musabireeko wamu nabo ku nsonga eyo. Mubayambe okufuna emikwano emipya nga mukola entegeka okubeerako awamu n’ab’oluganda mu kibiina.
YAMBA AB’OLUGANDA ABAPYA OKUWULIRA NTI BAAGALIBWA
Biki by’oyinza okukola okuyamba ab’oluganda abaakajja mu kibiina kyo? Fuba okubakolako omukwano amangu ddala nga bwe kisoboka. Ekyo okusobola okukikola, lowooza ku ngeri gye wandyagadde okuyisibwamu ng’ogenze mu kibiina ekipya, era obayise bw’otyo. (Mat. 7:12) Oyinza okwaniriza ab’oluganda abapya mu maka go mufunire wamu okusinza kw’amaka oba mulabire wamu programu eya buli mwezi eba ku ttivi yaffe eya JW Broadcasting? Oyinza okubasaba okubuulirako awamu naawe? Bw’obayita okuliirako awamu nabo emmere, ekyo bajja kulwawo nga bakijjukira. Biki ebirala by’oyinza okukola okubayamba?
Carlos agamba nti: “Bwe twatuuka mu kibiina ekipya, mwannyinaffe omu yatuwa olukalala lw’amaduuka agataseera bintu. Ekyo kyatuyamba nnyo.” Abo ababa bavudde mu bitundu ng’embeera y’obudde eyawukana ku y’omu kitundu kyammwe, kibaganyula nnyo singa bayambibwa okumanya engeri gye basaanidde okwambalamu mu biseera eby’ebbugumu, eby’obunnyogovu, oba eby’enkuba. Era oyinza okubabuulira embeera z’abantu b’omu kitundu kyammwe kibasobozesa okumanya engeri y’okubakwatamu nga bababuulira.
OKUTUUKANA N’EMBEERA KIVAAMU EMIGANYULO
Allen, ayogeddwako waggulu kati amaze omwaka ogusukka mu gumu ng’ali mu kibiina kye ekipya. Agamba nti: “Mu kusooka tekyannyanguyira kumanya baganda bange ne bannyinaze mu kibiina kino ekipya. Naye kati nnina enkolagana ey’oku lusegere nabo, era ndi musanyufu.” Allen yakiraba nti teyafiirwa mukwano na gumu ng’asenguse, wabula yayongera kufuna mikwano mirala, abayinza okusigala nga mikwano gye obulamu bwe bwonna.
^ lup. 2 Amannya agamu gakyusiddwa.