EBYAFAAYO
Nnafuna Essanyu mu Kugaba
BWE nnali wa myaka 12, nnakizuula nti nnalina ekintu eky’omuwendo kye nsobola okuwa abalala. Bwe twali ku lukuŋŋaana olumu olunene, ow’oluganda omu yambuuza obanga nnandyagadde okubuulira. Wadde nga nnali sibuulirangako, nnamugamba nti njagala. Twagenda mu kitundu eky’okubuuliramu era n’ampa obutabo obwali bwogera ku Bwakabaka bwa Katonda. Yaŋŋamba nti: “Ggwe buulira ku ludda luno olw’oluguudo nze mbuulire ku ludda luli.” Wadde nga nnali ntidde, nnatandika okubuulira nnyumba ku nnyumba, era mu kiseera kitono nnali mmaze okugaba obutabo bwonna bwe nnalina. Nnakiraba nti abantu bangi baali baagala ebyo bye nnali ngaba.
Nnazaalibwa mu 1923 mu Chatham, Kent, Bungereza, era mu kiseera ekyo abantu abasinga obungi tebaali basanyufu era tebaalina ssuubi. Ssematalo I yali taleese mirembe na butebenkevu mu nsi ng’abantu bwe baali basuubira. Bazadde bange nabo baali baweddemu amaanyi olw’okulaba ng’abakulembeze b’eddiini beefaako bokka. Bwe nnali wa myaka mwenda, maama wange yatandika okugendanga mu kizimbe ekimu Abayizi ba Bayibuli, kati abaali batandise okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa, mwe baali bakuŋŋaanira. Omu ku bannyinaffe, ffe abaana yabangako ebintu by’atuyigiriza okuva mu Bayibuli ne mu kitabo ekyali kiyitibwa The Harp of God. Bye nnayiganga byansanyusa nnyo.
NNAYIGIRA KU B’OLUGANDA ABAKULU
Bwe nnali nkyali muvubuka, nnayagalanga nnyo okukozesa Ekigambo kya Katonda okuyamba abantu okufuna essuubi. Wadde nga nnateranga okubuulira nzekka, ebiseera ebimu nnabuuliranga n’abalala era nnina bingi bye nnabayigirako. Ng’ekyokulabirako, bwe twali tuvuga obugaali n’ow’oluganda omu eyali omukulu mu myaka nga tugenda okubuulira mu kitundu ekimu, twayita ku mukulembeze w’eddiini omu ne ŋŋamba ow’oluganda nti, “Embuzi ogirabye?” Ow’oluganda yayimiriza eggaali ye n’aŋŋamba nti tutuuleko wansi twogere. Yaŋŋamba nti: “Ani yakuwa obuyinza okulamula abantu nti mbuzi? Obuvunaanyizibwa bwaffe bwa kubuulira bantu mawulire malungi, naye okulamula kwa Yakuwa.” Ab’oluganda abakulu bannyamba okukiraba nti okugaba kulimu essanyu.—Mat. 25:31-33; Bik. 20:35.
Ow’oluganda omulala eyali omukulu mu myaka yannyamba okukitegeera nti okusobola okufuna essanyu mu kugaba, oluusi kitwetaagisa okuba abagumiikiriza. Mukyala we yali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa. Lumu ow’oluganda oyo yantwala ewuwe okubaako kye tulya. Mukyala we yanyiiga nnyo olw’okuba ow’oluganda oyo yali ava kubuulira era yatandika okutukuba bupakiti bw’amajaani. Mu kifo ky’okumusunguwalira, ow’oluganda oyo yalondalonda bupakiti bw’amajaani n’abuzza we bubeera. Nga wayise emyaka, obugumiikiriza bwe
bwavaamu ebibala, mukyala we bwe yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa.Nneeyongera okwagala okuyamba abalala okufuna essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso, era bwe kityo mu Maaki 1940 nze ne maama wange twabatizibwa mu kibuga Dover. Mu Ssebutemba 1939, nga nnina emyaka 16, Bungereza yalangirira nti yali egenda kulwana ne Bugirimaani. Mu Jjuuni 1940, loole z’abasirikale nnyingi zaayitanga okumpi n’awaka waffe era abasirikale abo baali balabika nga banakuwavu nnyo. Be bamu ku abo abaali bawonyeewo mu lutalo olwali mu kibuga Dunkirk. Bwe nnabatunuulira, nnalaba nga tebalina ssuubi lyonna era nnawulira nga njagala nnyo okubabuulira amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Omwaka gwa 1940 bwe gwali gunaatera okuggwaako, Bungereza yatandika okukubibwa bbomu olutatadde. Buli kiro nnalabanga ennyonyi za Bugirimaani ennwanyi nga ziyita mu kitundu mwe twali tubeera. Twawuliranga bbomu nga zibwatuka era ekyo kyatutiisanga nnyo. Bwe twazuukukanga ku makya, twalabanga ng’amayumba mangi gasaanyeewo. Ekyo kyeyongera okundaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okutereeza embeera ku nsi.
OBULAMU BWANGE MBUKOZESA MU BUJJUVU OKUYAMBA ABALALA
Mu mwaka gwa 1941 nnatandika okukozesa obulamu bwange mu ngeri ennyambye okufuna essanyu mu bujjuvu. Nnali nkola gwa kuzimba n’okuddaabiriza emmeeri ku mwalo gw’e Chatham, era omulimu ogwo bangi baali bagwegomba nnyo. Abajulirwa ba Yakuwa baali bakimanyi nti kikyamu Abakristaayo okwenyigira mu ntalo. Omwaka gwa 1941 we gwatuukira, twali tutandise okukitegeera nti tetulina kukola mu makolero agakola eby’okulwanyisa. (Yok. 18:36) Okuva bwe kiri nti ku mwalo kwe nnali nkolera twali tuzimba emmeeri ennwanyi zirubbira, nnasalawo okuleka omulimu ogwo ne nnyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Nnasooka kusindikibwa okuweereza mu Cirencester, akabuga akalabika obulungi ennyo akasangibwa mu kitundu ky’e Cotswolds.
Bwe nnaweza emyaka 18, nnasibibwa mu kkomera okumala emyezi mwenda olw’okugaana okuyingira amagye. Bwe bannyingiza munda mu kkomera ne baggalawo ekiggi, nnatya nnyo. Naye amangu ddala, abakuumi n’abasibe abalala baatandika okumbuuza ensonga lwaki nnali nsibiddwa, era nnakozesa akakisa ako okubabuulira ebikwata ku nzikiriza yange.
Bwe nnateebwa, nneegatta ku w’Oluganda Leonard Smith * ne tubuulira mu bubuga obw’enjawulo mu ssaza ly’ewaffe ery’e Kent. Okuva mu 1944, ennyonyi ezeevuganga zokka ezaabanga zeetisse bbomu zaatandika okugwa mu Kent. Ekitundu kye twalimu, ennyonyi ennwanyi mwe zaayitanga. Ennyonyi ezo ennwanyi ezeetikkanga bbomu zaayitibwanga doodlebug. Entiisa yali ya maanyi nnyo mu kiseera ekyo. Bwe wawuliranga ennyonyi ng’ezikidde ng’omanya nti mu kaseera katono egenda kugwa, bbomu zibwatuke. Mu kiseera ekyo, waliwo abantu bataano abaali babeera mu maka agamu be twali tuyigiriza Bayibuli. Ebiseera ebimu, twatuulanga wansi w’emmeeza ey’ekyuma tuleme kutuukibwako kabi singa ennyumba egwa. Oluvannyuma abantu abo bonna baabatizibwa.
OKUBUULIRA MU NSI ENDALA
Olutalo bwe lwaggwa, nnaweereza nga payoniya mu bukiikaddyo bwa Ireland okumala emyaka ebiri. Twali tetukimanyi nti Ireland yali ya njawulo nnyo ku Bungereza. Twagenda nju ku nju nga tunoonya aw’okusula, nga tugamba abantu nti tuli baminsani era twagaba ne magazini ku nguudo. Tekyali kya magezi kukola kintu ng’ekyo mu nsi eyali ejjuddemu Abakatoliki! Omusajja omu bwe yatiisatiisa okutukolako akabi ne tumuwawaabira ku poliisi, owa poliisi yatuddamu nti, “Gubasinze, kiki kye mubadde musuubira?” Twali tetukimanyi nti abakulu b’eddiini baalina obuyinza bungi nnyo mu nsi eyo. Baalagiranga abantu okugoba abakozi abaabanga bakkirizza obutabo bwaffe, era naffe baatugobesanga ku mayumba kwe twabanga tupangisa.
Twakiraba nti bwe tutuuka mu kitundu ekipya, kiba kya magezi okusooka okubuulira mu bitundu ebiri ewala okuva we tubeera, ebitwalibwa omukulembeze w’eddiini omulala, oluvannyuma ne tulyoka tusembyayo ekitundu mwe tubeera. Mu kibuga Kilkenny, waliwo omuvubuka gwe twasomanga naye emirundi esatu buli wiiki wadde nga waliwo abantu abaatiisatiisanga okutukolako akabi. Nnanyumirwa nnyo okuyigiriza abantu Bayibuli ne kiba nti nnasaba okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi, eritendeka abaminsani.
Oluvannyuma lw’okumala emyezi etaano nga tusoma mu Ssomero lya Gireyaadi, nze n’ab’oluganda abalala basatu twasindikibwa okubuulira ku kazinga akatono akasangibwa mu guyanja gw’e Caribbean. Mu Noovemba 1948, twasimbula eryato lyaffe ery’amatanga eryali liyitibwa Sibia era eryalina obuwanvu bwa ffuuti 59 ne twolekera akazinga ako. Olw’okuba nnali sitambulirangako mu lyato, nneesunga nnyo olugendo olwo. Gust Maki, omu ku b’oluganda be twagenda nabo, yalina obumanyirivu mu kusaabaza amaato. Yatuyigiriza ebintu ebitali bimu ebikwata ku kusaabala, gamba ng’okuwanika n’okussa amatanga, engeri y’okukozesaamu kampasi, n’engeri y’okwaŋŋangamu empewo y’oku nnyanja. Gust yatusaabaza okumala ennaku 30 ne tusobola okuvvuunuka emiyaga egy’amaanyi ku nnyanja okutuusa lwe twatuuka mu Bahamas.
“MUKIRANGIRIRE MU BIZINGA”
Oluvannyuma lw’okumala emyezi mitonotono nga tubuulira ku bizinga by’e Bahamas, twagenda okubuulira ne ku bizinga ebirala bingi. Twabuulira okuviira ddala ku bizinga ebiyitibwa Virgin Islands ebiri okumpi ne Puerto Rico okutuuka ku bizinga ebiri okumpi ne Trinidad, nga wakati waabyo waliwo mayiro nga 500. Twamala emyaka etaano nga tubuulira ku bizinga ebyesudde ebitaaliko Bajulirwa ba Yakuwa. Ebiseera ebimu twamalanga wiiki eziwerako nga tetusobola kuwuliziganya na bantu baffe. Wadde kyali kityo, twali basanyufu nnyo okulangirira ekigambo kya Yakuwa ku bizinga!—Yer. 31:10.
Bwe twatuukanga ku kizinga, abantu bangi baakuŋŋaananga okutulaba. Abamu ku bo baali tebalabangako ku lyato ddene ng’eryo lye twalina era abamu baali tebalabangako ku muzungu. Abantu b’oku bizinga baali baaniriza nnyo abagenyi, nga bettanira nnyo eby’eddiini, era nga basoma nnyo Bayibuli. Emirundi mingi, baatuwanga ebyennyanja, ovakedo, n’ebinyeebwa. Wadde ng’eryato lyaffe eryo teryali ggazi kimala, twasobola okusulangako, okufumbirako, n’okwolezaako engoye.
Bwe twavanga mu lyato, twatandikirangawo okubuulira era twabuuliranga olunaku lwonna. Bwe twabanga tubuulira twagambanga abantu nti wajja kubaawo emboozi eyeesigamiziddwa ku Bayibuli. Obudde bwe bwawungeeranga, twakubanga akade akaali ku lyato lyaffe okuyita abantu. Kyatusanyusanga nnyo okulaba abantu bangi nga bakuŋŋaana okuwulira emboozi. Bajjanga n’amataala gaabwe era amataala ago bwe wagalengereranga
ewala, gaali galabika ng’emmunyeenye ezimyansamyansa. Oluusi abantu nga kikumi be bajjanga, era oluvannyuma baabuuzanga ebibuuzo okumala essaawa eziwerako. Abantu baanyumirwanga nnyo okuyimba, bwe kityo twabakubira ennyimba z’Obwakabaka ku mpapula ne tuzibawa. Ffe abana twafubanga nnyo okuyimba obulungi ennyimba ezo, abalala ne bagoberera. Bwe twagattanga awamu amaloboozi, ennyimba zaanyumanga nnyo era ekyo kyatusanyusanga nnyo!Bwe twamalanga okusoma n’abamu ku bayizi baffe aba Bayibuli, abamu ku bo baatuwerangako nga tugenda okusoma n’abayizi abalala era ne babaawo nga tusoma nabo. Wadde nga buli luvannyuma lwa wiiki ntono twalinanga okuva mu kitundu ekimu okugenda mu kirala, twasabanga abayizi ba Bayibuli abaali basiimye ennyo amazima okweyongera okuyigiriza abantu abalala okutuusa lwe twandikomyewo mu kitundu ekyo. Kyatusanyusa nnyo okulaba engeri abamu ku bo gye baafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo bwe twali tubawadde.
Wadde nga mu kiseera kino ebizinga ebyo bye twabuulirangamu byafuuka bifo bya bulambuzi, mu kiseera ekyo tebyaliko bantu bangi nnyo. Mu budde obw’ekiro, twasaabalanga okuva ku kizinga ekimu okudda ku kirala. Bwe twabanga tusaabala, twalabanga agennyanja aganene nga gawugira okumpi n’eryato lyaffe, era ekintu kyokka kye wawuliranga kwe kuyira kw’amazzi ng’eryato lyaffe lisaabala. Ekitangaala ky’omwezi bwe kyakubanga ku mazzi, amazzi gaatangalijjanga era gaalabikanga bulungi nnyo.
Oluvannyuma lw’okumala emyaka etaano nga tubuulira ku bizinga, twasaabala ne tugenda e Puerto Rico okusobola okufuna eryato erya yingini mu kifo ky’eryo lye twalina. Bwe twatuukayo, nnasisinkana Maxine Boyd, mwannyinaffe eyali aweereza ng’omuminsani mu nsi eyo, era nnawulira nga mwagala. Okuviira ddala mu buto, Maxine yali abuulira n’obunyiikivu. Oluvannyuma yaweerezaako ng’omuminsani mu Dominican Republic okutuusa gavumenti y’ensi eyo eyali ejjuddemu Abakatoliki bwe yamugoba mu nsi eyo mu 1950. Olw’okuba nnali mugoba wa lyato, nnakkirizibwa okubeera mu Puerto Rico omwezi gumu gwokka. Mu kiseera kitono nnali wa kuddayo ku bizinga era mmaleyo emyaka egiwerako. N’olwekyo muli nnagamba nti, ‘Ronald, bw’oba oyagala omukazi ono, baako ne ky’okolawo mu bwangu.’ Nga wayiseewo wiiki ssatu, nnategeeza Maxine nti njagala kumuwasa, era oluvannyuma lwa wiiki mukaaga twafumbiriganwa. Nze ne Maxine twasabibwa okuweereza ng’abaminsani mu Puerto Rico, n’olwekyo saddayo ne bannange mu lyato eppya erya yingini.
Mu 1956 twatandika okukyalira ebibiina. Wadde ng’ab’oluganda abasinga obungi be twakyaliranga baali baavu, twanyumirwanga nnyo okubakyalira. Ng’ekyokulabirako, ku kyalo ekimu ekiyitibwa Potala Pastillo, kwaliko amaka abiri ag’Abajulirwa ba Yakuwa agaalimu abaana abangi, era nnateranga okubafuuyira endere. Agamu ku maka ago gaalimu akawala akato akayitibwa Hilda. Nnabuuza Hilda obanga yandyagadde okugenda naffe okubuulira. Yanziramu nti: “Njagala, naye sisobola kubanga sirina ngatto.” Twamugulira engatto era n’atandika okubuulira naffe. Nga wayise emyaka, nze ne Maxine bwe twali tugenze okukyalako ku Beseri y’e Brooklyn mu 1972, waliwo mwannyinaffe omu eyali yaakamaliriza emisomo gye mu Ssomero lya Gireyaadi eyajja we twali. Yali anaatera okusimbula okugenda mu Ecuador gye baali bamusindise okuweereza. Yatugamba nti: “Munzijukira? Nze kawala kali akato akaali mu Pastillo akataalina ngatto.” Twajjukira nti ye Hilda, era ekyo kyatusanyusa nnyo ne tukaaba n’amaziga!
Mu 1960 twasabibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi ey’omu Puerto Rico. Ofiisi eyo yali ku kizimbe kya myaliriro ebiri ekyali mu Santurce, San Juan. Mu kusooka nze n’ow’oluganda ayitibwa Lennart Johnson ffe twakolanga emirimu egisinga obungi. Lennart ne mukyala we be Bajulirwa ba Yakuwa abaasooka mu Dominican Republic, era baatuuka mu Puerto Rico mu 1957. Oluvannyuma, Maxine yakolanga ku biwandiiko by’abo abaasabanga okuweebwa magazini buli mwezi. Maxine yanyumirwa nnyo okukola omulimu ogwo kubanga gwayambanga abantu okufuna emmere ey’eby’omwoyo.
Nnyumirwa nnyo okuweereza ku Beseri, kubanga ekyo kinsobozesa okwoleka omwoyo omugabi ku kigero ekya waggulu. Naye okuweereza ku Beseri kirimu okusoomooza. Ng’ekyokulabirako, olukuŋŋaana olunene olw’ensi eziwerako olwasooka mu Puerto Rico bwe lwali lugenda okubaawo mu 1967, nnawulira ng’obuvunaanyizibwa obwali bumpeereddwa bunsukkiriddeko. Ow’oluganda Nathan Knorr, mu kiseera ekyo eyali atwala obukulembeze mu Bajulirwa ba Yakuwa, yajja mu Puerto Rico. Yalowooza nti nnali sifuddeeyo kukola nteekateeka za bya ntambula ez’abaminsani abaali bavudde mu nsi endala. Era yaŋŋamba nti nsaanidde okuba omuntu ow’obuvunaanyizibwa era nti nnali mmuyiyeeyo. Wadde nga kye yayogera tekyali kituufu, saamukaayanya, naye nnawulira bubi okumala ekiseera. Wadde kyali kityo, ku mulundi nze ne Maxine lwe twaddamu
okusisinkana Ow’oluganda Knorr, yatukyaza ewuwe ne tuliirako wamu naye emmere.Bwe twali mu Puerto Rico, twateranga okukyalirako ab’eŋŋanda zange mu Bungereza. Nze ne maama we twayigira amazima, taata ye yali tannayagala kuyiga mazima. Naye ab’oluganda okuva ku Beseri bwe bajjanga okuwa emboozi mu kibiina kyaffe, emirundi mingi maama yabagambanga okusula ewaffe. Taata yakiraba nti ab’oluganda abo baali beetoowaze nnyo, okwawukana ku bakulembeze b’eddiini abaali baamutama edda. Mu 1962 taata yabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.
Mukyala wange omwagalwa, Maxine, yafa mu 2011. Nneesunga nnyo okuddamu okumulaba ng’azuukidde! Mu myaka 58 gye nnamala nga ndi ne Maxine, twalaba omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Puerto Rico nga gweyongerayongera okuva ku babuulizi 650 okutuuka ku babuulizi 26,000! Mu 2013 ofiisi y’ettabi ey’omu Puerto Rico yagattibwa ku ofiisi y’ettabi ey’omu Amerika, era nnasabibwa okugenda okuweerereza ku Beseri y’omu Wallkill, New York. Oluvannyuma lw’okumala emyaka 60 nga ndi ku kizinga ky’e Puerto Rico nnawulira nga nfuuse waayo era nnali saagala kuvaayo. Naye ekiseera kyali kituuse nveeyo.
“KATONDA AYAGALA OYO AGABA N’ESSANYU”
Nkyanyumirwa okuweereza ku Beseri. Kati nsussa emyaka 90, era omulimu gwe nkola gwa kuzzaamu maanyi ab’oluganda ku Beseri. Okuva lwe nnajja e Wallkill njogeddeko n’ab’oluganda nga 600 ku nsonga ezitali zimu. Abamu ku abo abajja gye ndi baba baagala okwogerako nange ku bizibu bye balina kinnoomu oba mu maka gaabwe. Abalala bansaba mbawe ku magezi ku ngeri gye bayinza okweyongera okuweereza ku Beseri. Ate abamu ababa baakafumbiriganwa batera okunsaba okubawa amagezi ku ngeri gye bayinza okuba n’obufumbo obw’essanyu. Abamu ku b’oluganda ku Beseri basindikiddwa okuweereza Yakuwa mu ngeri endala. Bonna abajja okwogerako nange mbawuliriza era ntera okubagamba nti: “‘Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.’ N’olwekyo buli mulimu gw’okola gukole n’essanyu kubanga ogukolera Yakuwa.”—2 Kol. 9:7.
Omuntu okusobola okusigala nga musanyufu ng’aweereza ku Beseri ne mu buweereza obulala bwonna, bulijjo aba alina okujjukiranga ensonga lwaki ekyo ky’akola kikulu. Buli mulimu gwe tukola ku Beseri buweereza butukuvu. Tuba tuyamba “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okuwa abaweereza ba Katonda mu nsi yonna emmere ey’eby’omwoyo. (Mat. 24:45) Ka tube nga Yakuwa tumuweerereza mu kifo ki, buli omu ku ffe alina enkizo ey’okumutendereza. N’olwekyo, ka bulijjo tusanyukire ebyo bye tukolera Yakuwa, kubanga “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”
^ lup. 13 Osobola okusoma ebikwata ku Leonard Smith mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2012.