Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kolera Wamu ne Yakuwa Buli Lunaku

Kolera Wamu ne Yakuwa Buli Lunaku

“Tukolera wamu ne Katonda.”​—1 KOL. 3:9.

ENNYIMBA: 64, 111

1. Tuyinza tutya okukolera awamu ne Yakuwa?

KATONDA yatonda abantu ng’ayagala bakolera wamu naye okutuukiriza ebigendererwa bye. Wadde nga kati abantu tebatuukiridde, abantu abeesigwa bakyasobola okukolera awamu ne Yakuwa buli lunaku. Ng’ekyokulabirako, “tukolera wamu ne Katonda” nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era nga tufuula abantu abayigirizwa. (1 Kol. 3:5-9) Lowooza ku nkizo ey’ekitalo gye tulina okukolera awamu n’Omuyinza w’ebintu byonna mu mulimu gw’atwala nga mukulu nnyo! Naye okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa si ye ngeri yokka gye tukolera awamu ne Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri endala gye tuyinza okukolera awamu ne Katonda: nga tuyamba ab’omu maka gaffe ne bakkiriza bannaffe, nga tusembeza abagenyi, nga tukola nga bannakyewa mu mirimu egikolebwa ekibiina kya Yakuwa, era nga tugaziya ku buweereza bwaffe.​—Bak. 3:23.

2. Lwaki si kya magezi kugeraageranya ebyo by’okolera Yakuwa n’ebyo abalala bye bamukolera?

2 Nga twekenneenya ebintu ebyo, togeraageranya ebyo by’okolera Yakuwa n’ebyo abalala bye bamukolera. Kijjukire nti emyaka gyaffe, embeera yaffe ey’obulamu, n’obusobozi bwaffe byawukana. Omutume Pawulo yagamba nti: “Buli omu akebere ebyo by’akola, awo ajja kuba ne ky’asinziirako okwenyumiriza ku lulwe, nga teyeegeraageranyizza na muntu mulala.”​—Bag. 6:4.

YAMBA AB’OMU MAKA GO NE BAKKIRIZA BANNO

3. Lwaki tuyinza okugamba nti bwe tulabirira ab’omu maka gaffe tuba tukolera wamu ne Katonda?

3 Yakuwa asuubira abaweereza be okulabirira ab’omu maka gaabwe. Ng’ekyokulabirako, weetaaga okukola okusobola okufuna ssente okulabirira ab’omu maka go. Bamaama bangi basigala waka nga balabirira abaana baabwe abato. Era abaana abamu abakulu balina okulabirira bazadde baabwe abatakyesobola. Ebintu ebyo bikulu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Singa omuntu yenna talabirira babe, naddala ab’omu maka ge, aba yeegaanye okukkiriza era aba mubi n’okusinga omuntu atalina kukkiriza.” (1 Tim. 5:8) Bw’oba ng’olina obuvunaanyizibwa ng’obwo, oyinza obutafuna biseera bingi kwenyigira mu mirimu gy’ekibiina nga bwe wandyagadde. Naye ekyo tekisaanidde kukumalamu maanyi! Bw’ofuba okulabirira ab’omu maka go, kisanyusa Yakuwa.​—1 Kol. 10:31.

4. Abazadde bayinza batya okukulembeza ebintu eby’omwoyo, era kiki ekivaamu bwe bakola bwe batyo?

4 Abazadde Abakristaayo bwe bayamba abaana baabwe okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, baba bakolera wamu ne Yakuwa. Waliwo abazadde bangi abakoze bwe batyo; n’ekivuddemu, abaana baabwe bayingidde obuweereza obw’ekiseera kyonna, oluusi nga baweerereza mu bitundu eby’ewala. Abamu baweereza ng’abaminsani, abalala baweereza nga bapayoniya mu bitundu awali obwetaavu obusingako, ate abalala baweereza ku Beseri. Olw’okuba abaana baabwe baweerereza wala, tebatera kubeerako wamu nabo. Wadde kiri kityo, abazadde abooleka omwoyo ogw’okwefiiriza bakubiriza abaana baabwe okunywerera mu buweereza bwabwe. Lwaki? Kibasanyusa nnyo okulaba ng’abaana baabwe bakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. (3 Yok. 4) Bangi ku bazadde abo bayinza okuba nga bawulira nga Kaana eyagamba nti yali ‘ayazise’ Yakuwa mutabani we Samwiri. Abazadde ng’abo bagitwala nga nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Yakuwa mu ngeri eyo.​—1 Sam. 1:28, obugambo obuli wansi.

5. Oyinza otya okuyamba baganda bo mu kibiina? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)

5 Bw’oba tolina buvunaanyizibwa bwa maka, oyinza okuyambako bakkiriza banno abalabirira abo abatakyesobola, bannamukadde, oba abalala abali mu mbeera ezifaananako ng’ezo? Waliwo abali mu kibiina kyo abeetaaga obuyambi? Ng’ekyokulabirako, waliwo mwannyinaffe mu kibiina kyo alabirira muzadde we akaddiye? Oyinza okuwaayo akadde n’obeerako ne muzadde we oyo, mwannyinaffe oyo asobole okukola ku bintu ebirala. Oba waliwo omuntu gw’osobola okutwalako mu nkuŋŋaana, oba okumuyamba okugula ebintu ku dduuka, oba okumukyalirako mu ddwaliro? Bw’okola bw’otyo, oyinza okuba ng’okolera wamu ne Yakuwa okuddamu essaala y’omuweereza we.​—Soma 1 Abakkolinso 10:24.

SEMBEZA ABAGENYI

6. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi?

6 Abo abakolera awamu ne Katonda basembeza abagenyi. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo ekyavvuunulwa ‘okusembeza bagenyi’ kitegeeza ‘okulaga abantu b’otomanyi ekisa.’ (Beb. 13:2; obugambo obuli wansi.) Ekigambo kya Katonda kirimu ebyokulabirako ebitali bimu ebituyigiriza okwoleka okwagala ng’okwo. (Lub. 18:1-5) Bulijjo tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okuyamba abalala, ka kibe nti bakkiriza bannaffe oba nedda.​—Bag. 6:10.

7. Birungi ki ebiva mu kusembeza ab’oluganda abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna?

7 Osobola okukolera awamu ne Yakuwa ng’osembeza ab’oluganda abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna ababa bakyadde nga beetaaga aw’okusula? (Soma 3 Yokaana 5, 8.) Okukyaza ab’oluganda ng’abo kituwa akakisa ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:11, 12) Lowooza ku Olaf. Agamba nti emyaka mingi emabega, mu kibiina kyabwe temwalimu asobola kusuza mulabirizi akyalira ebibiina, eyali obwannamunigina. Olaf yasaba bazadde be abataali Bajulirwa ba Yakuwa bakkirize omulabirizi oyo asule ewaabwe. Bazadde be bakkiriza naye ne bagamba nti Olaf yali ajja kusula mu ntebe, omulabirizi asule ku kitanda kye. Ekyo Olaf teyakyejjusa. Agamba nti: “Wiiki eyo yannyumira nnyo! Buli ku makya nze n’omulabirizi twakubaganyanga ebirowoozo ku bintu ebitali bimu nga tulya eky’enkya. Bye twanyumyako byanzizaamu nnyo amaanyi ne njagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.” Kati Olaf amaze emyaka 40 ng’aweereza ng’omuminsani mu nsi ez’enjawulo.

8. Lwaki tusaanidde okulaga abalala ekisa ne bwe kiba nti mu kusooka bayinza okulabika ng’abatasiimye? Waayo ekyokulabirako.

8 Waliwo engeri ezitali zimu gy’oyinza okulagamu abantu b’otomanyi okwagala ne bwe kiba nti mu kusooka balabika ng’abatasiima. Lowooza ku kyokulabirako kino. Omubuulizi omu mu Sipeyini bwe yali ayigiriza Bayibuli omuyizi we ayitibwa Yesica, eyava mu Ecuador, yakiraba nti omuyizi oyo yali akaaba. Omubuulizi oyo yamubuuza ensonga lwaki yali akaaba. Yesica yamugamba nti bwe yali akyabeera mu Ecuador yali mwavu nnyo ne kiba nti lumu teyalina mmere ya kulya. Ekintu kyokka kye yali asobola okuwa muwala we gaali mazzi. Yesica yagezaako okusiisiitira omwana we yeebaake ng’eno bw’asaba Katonda amuyambe. Waayita akaseera katono, Abajulirwa ba Yakuwa babiri ne bamukyalira, naye Yesica teyabayisa bulungi era yayuza magazini gye baamuwa. Yabagamba nti: “Eno ye mmere gye mwagala mpe omwana wange?” Bannyinaffe abo baagezaako okumubudaabuda naye nga buteerere. Oluvannyuma baaleeta emmere ne bagiteeka ku mulyango gwe. Kati omubuulizi oyo bwe yali asoma ne Yesica, Yesica yatandika okukaaba ng’akiraba nti Katonda yaddamu okusaba kwe naye n’atakiraba. Kyokka kati Yesica yali mumalirivu okuweereza Yakuwa. Ekisa bannyinaffe abo kye baalaga kyavaamu ebirungi!​—Mub. 11:1, 6.

WEWEEYO OKUKOLA NGA NNAKYEWA MU MIRIMU GY’EKIBIINA

9, 10. (a) Egimu ku mirimu egyali gyetaagisa Abayisirayiri okukola nga bannakyewa gye giruwa? (b) Egimu ku mirimu egikolebwa ab’oluganda abeewaayo okuweereza mu kibiina leero gye giruwa?

9 Mu Isirayiri ey’edda emirundi mingi bannakyewa beetaagibwanga okukola emirimu egitali gimu. (Kuv. 36:2; 1 Byom. 29:5; Nek. 11:2) Ne leero waliwo engeri nnyingi gy’osobola okukozesaamu ebiseera byo, ebintu byo, n’obukugu bw’olina okuyamba bakkiriza banno. Ekyo bw’okikola ojja kufuna essanyu lingi n’emikisa mingi.

10 Ekigambo kya Katonda kikubiriza abasajja mu kibiina okukolera awamu ne Yakuwa nga baluubirira enkizo ey’okuba abaweereza oba abakadde. (1 Tim. 3:1, 8, 9; 1 Peet. 5:2, 3) Abo abaluubirira enkizo eyo baba baagala okuyamba abalala mu by’omwoyo ne mu bintu ebirala. (Bik. 6:1-4) Abakadde baakusabako okuyambako mu kwaniriza abantu mu nkuŋŋaana, okukola mu bitabo, okukuba mmaapu y’ebitundu ebibuulirwamu, okuyambako mu kuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka, oba okukola omulimu omulala gwonna mu kibiina? Abo abakola emirimu ng’egyo bagamba nti bafuna essanyu lingi mu kuyamba abalala.

Okukola nga nnakyewa mu mirimu gy’ekibiina kikusobozesa okufuna emikwano (Laba akatundu 11)

11. Mwannyinaffe omu aganyuddwa atya mu mikwano gy’afunye ng’akola omulimu gw’okuzimba?

11 Abo abeewaayo okukola nga bannakyewa mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka bafuna emikwano mingi. Lowooza ku mwannyinaffe Margie, amaze emyaka 18 ng’akola omulimu ogw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Mu myaka egyo atendese bannyinaffe abato bangi. Margie akirabye nti abo abeenyigira mu mulimu ogwo bafuna akakisa okuzziŋŋanamu amaanyi mu by’omwoyo. (Bar. 1:12) Agamba nti mu biseera ebizibu, emikwano gy’afunye ng’akola omulimu gw’okuzimba gimuzzaamu nnyo amaanyi. Wali okozeeko nga nnakyewa mu mulimu gw’okuzimba? K’obe ng’olina obumanyirivu oba nedda, osobola okwewaayo okukola nga nnakyewa?

12. Oyinza otya okuyamba bakkiriza banno nga waguddewo akatyabaga?

12 Akatyabaga bwe kagwawo, abantu ba Katonda bafuna akakisa okukolera awamu ne Katonda nga bayamba bakkiriza bannaabwe mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, bawaayo ssente okuyamba abo ababa bakoseddwa. (Yok. 13:34, 35; Bik. 11:27-30) Oba bayambako mu kuyonja oba okuddaabiriza ebizimbe ebiba byonooneddwa. Mwannyinaffe Gabriela ow’omu Poland yasanyuka nnyo bwe yalaba ab’oluganda okuva mu bibiina ebiriraanyewo nga bamudduukiridde oluvannyuma lw’amataba okusaanyaawo ennyumba ye. Agamba nti: “Saagala kwogera ku bintu bye nnafiirwa kubanga ebyo bintu buntu ebiggwaawo. Naye njagala kwogera ku ngeri gye nnaganyulwa. Baganda bange bannyamba nnyo era ekyo kyandeetera okukiraba nti nkizo ya maanyi okuba mu kibiina Ekikristaayo era mpulira essanyu lingi.” Bangi ku abo abayambibwa oluvannyuma lw’akatyabaga okugwawo bagamba nti bawulira nga bazziddwamu nnyo amaanyi era baba basanyufu nnyo. N’abo abakolera awamu ne Yakuwa okuyamba baganda baffe ng’abo bafuna essanyu lingi.​—Soma Ebikolwa 20:35; 2 Abakkolinso 9:6, 7.

13. Okukola nga bannakyewa kinyweza kitya enkolagana yaffe ne Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

13 Stephanie n’ababuulizi abalala baafuna enkizo okukolera awamu ne Katonda nga bayamba Abajulirwa ba Yakuwa abaali badduse olutalo ne bagenda mu Amerika okufuna obubudamu. Baayambako mu kufunira ab’omu maka agatali gamu ennyumba n’ebyetaagisa. Stephanie agamba nti: “Baganda baffe abo baasanyuka nnyo era baasiima nnyo olw’okwagala kwe twabalaga era ekyo kyatukwatako nnyo. Bawulira nti twabayamba nnyo naye mu butuufu tuwulira nti be baasinga okutuyamba. Okuba nti bakkiriza bannaffe abo baagalana, bali bumu, banywevu mu kukkiriza, era beesiga Yakuwa, kituleetedde okweyongera okwagala Yakuwa n’okusiima ebintu byonna by’atuwa okuyitira mu kibiina kye.”

GAZIYA OBUWEEREZA BWO

14, 15. (a) Mwoyo ki nnabbi Isaaya gwe yayoleka? (b) Ababuulizi leero bayinza batya okukoppa Isaaya?

14 Oyagala okukolera awamu ne Yakuwa mu ngeri esingawo? Oli mwetegefu okugenda okuweerereza Yakuwa mu bitundu awali obwetaavu obusingako? Kya lwatu nti abaweereza ba Katonda tekibeetaagisa kusooka kugenda mu bitundu ebyesudde okusobola okwoleka omwoyo omugabi. Naye embeera za bakkiriza bannaffe abamu zibasobozesa okugenda okuweereza mu bitundu ebiri ewala. Endowooza gye balina efaananako n’eya nnabbi Isaaya. Yakuwa bwe yabuuza nti, “Nnaatuma ani, era ani anaatukiikirira?” Isaaya yaddamu nti: “Nzuuno! Ntuma!” (Is. 6:8) Oyagala okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako, era embeera zo zikusobozesa? Wa w’oyinza okuyambako?

15 Ng’ayogera ku mulimu gw’okubuulira, Yesu yagamba nti: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.” (Mat. 9:37, 38) Osobola okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako, oboolyawo ng’oweereza nga payoniya? Oba kyandiba nti osobola okuyamba omulala okugenda okuweereza mu kitundu ng’ekyo? Ab’oluganda ne bannyinaffe bangi bakirabye nti engeri esingayo obulungi gye bayinza okulaga nti baagala Katonda ne bantu bannaabwe kwe kugenda okuweereza nga bapayoniya mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Waliwo engeri endala gy’oyinza okugaziya ku buweereza bwo? Ekyo bw’okikola ojja kufuna essanyu lingi.

16, 17. Ngeri ki endala gy’oyinza okugaziyaamu obuweereza bwo?

16 Oli mwetegefu okugenda okuweereza ku Beseri oba okuyambako mu mulimu gw’okuzimba, oboolyawo ng’oweerezaayo okumala ekiseera ekigere oba ng’oweereza ng’oviira waka wo? Waliwo obwetaavu bungi obw’ab’oluganda abeetegefu okuweereza Yakuwa yonna gye baba basindikiddwa era abeetegefu okukola omulimu gwonna oguba gubaweereddwa. Ekyo kiyinza okubeetaagisa okukola omulimu gwonna oguba gwetaagibwa okukolebwa ne bwe kiba nti obumanyirivu babulina mu mulimu mulala. Yakuwa asiima nnyo abo abeewaayo okuweereza awali obwetaavu.​—Zab. 110:3.

17 Oyagala okufuna okutendekebwa okunaakuyamba okutuukiriza obulungi obuweereza bwo? Bwe kiba kityo, weeteerewo ekiruubirirwa eky’okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Essomero eryo litendeka abasajja n’abakazi abakulembeza ebintu eby’omwoyo era abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, basobole okugaziya ku buweereza bwabwe. Abo abagenda mu ssomero eryo balina okuba abeetegefu okugenda okuweereza yonna gye baba basindikiddwa. Oli mwetegefu okugaziya ku buweereza bwo mu ngeri eyo?​—1 Kol. 9:23.

18. Birungi ki ebiva mu kukolera awamu ne Yakuwa buli lunaku?

18 Olw’okuba tuli bantu ba Yakuwa, kitukubiriza okuba abagabi, okulaga abalala ekisa, n’okubalaga okwagala. Tufaayo ku balala buli lunaku era ekyo kituleetera essanyu n’emirembe. (Bag. 5:22, 23) K’obe ng’oli mu mbeera ki, osobola okufuna essanyu singa okoppa Yakuwa n’oyoleka omwoyo omugabi era n’okolera wamu naye!​—Nge. 3:9, 10.