Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 32

Ba Mwetoowaze ng’Otambula ne Katonda Wo

Ba Mwetoowaze ng’Otambula ne Katonda Wo

‘Ba mwetoowaze ng’otambula ne Katonda wo!’​—MI. 6:8.

OLUYIMBA 31 Tambulanga ne Katonda!

OMULAMWA *

1. Kiki Dawudi kye yayogera ku bwetoowaze bwa Yakuwa?

DDALA tusobola okugamba nti Yakuwa mwetoowaze? Yee. Dawudi yagamba nti: “Ompa engabo yo ey’obulokozi, era obwetoowaze bwo bunfuula wa kitiibwa.” (2 Sam. 22:36; Zab. 18:35) Oboolyawo Dawudi yali alowooza ku lunaku nnabbi Samwiri lwe yagenda mu maka ga kitaawe okufuka amafuta ku oyo eyandizzeeko okuba kabaka wa Isirayiri. Dawudi ye yali asembayo obuto ku baana abalenzi omunaana, naye Yakuwa gwe yalonda okudda mu bigere bya Kabaka Sawulo.​—1 Sam. 16:1, 10-13.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Dawudi ateekwa okuba nga yali akkiriziganya n’ebyo omuwandiisi omu owa zabbuli bye yayogera ku Yakuwa nti: “Akutama n’atunuulira eggulu n’ensi, n’ayimusa omunaku okumuggya mu nfuufu. Ayimusa omwavu . . . okumutuuza n’ab’ebitiibwa.” (Zab. 113:6-8) Mu kitundu kino tugenda kusooka tulabe ebintu eby’enjawulo ebikwata ku bwetoowaze nga tulaba embeera ezitali zimu Yakuwa mwe yayolekera engeri eyo. Oluvannyuma tugenda kulaba bye tuyigira ku Kabaka Sawulo, nnabbi Danyeri, ne Yesu bwe kituuka ku kwoleka obwetoowaze.

KIKI KYE TUYIGIRA KU YAKUWA?

3. Yakuwa akolagana atya naffe, era ekyo kiraga ki?

3 Yakuwa ayoleka obwetoowaze ng’akolagana n’abaweereza be abatatuukiridde. Ng’oggyeeko okuba nti akkiriza okusinza kwaffe, era atutwala nga mikwano gye. (Zab. 25:14) Okusobola okutusobozesa okuba mikwano gye, Yakuwa yawaayo Omwana we nga ssaddaaka olw’ebibi byaffe. Mazima ddala yatulaga ekisa kingi!

4. Kiki Yakuwa kye yatuwa, era lwaki?

4 Lowooza ku ngeri endala Yakuwa gy’akyoleseemu nti mwetoowaze. Yakuwa yali asobola okututonda nga tetusobola kweronderawo ngeri gye twagala kutambuzaamu bulamu bwaffe. Naye ekyo teyakikola. Yatutonda mu kifaananyi kye era yatuwa eddembe ly’okwesalirawo. Ayagala tumuweereze kyeyagalire olw’okuba tumwagala era olw’okuba tukiraba nti kya muganyulo okumugondera. (Ma. 10:12; Is. 48:17, 18) Mazima ddala tuganyulwa nnyo mu bwetoowaze bwa Yakuwa!

Yesu ng’ali mu ggulu. Ali wamu n’abamu ku abo abagenda okufugira awamu naye. Batunuulira bamalayika abangi ennyo. Bamalayika abamu bagenda ku nsi okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa. Bonna abalagiddwa mu kifaananyi Yakuwa aliko obuvunaanyizibwa bwe yabawa (Laba akatundu 5)

5. Yakuwa atuyigiriza atya okuba abeetoowaze? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

5 Yakuwa atuyigiriza obwetoowaze okuyitira mu ngeri gy’akolaganamu naffe. Yakuwa y’asingayo okuba ow’amagezi. Wadde kiri kityo awuliriza endowooza z’abalala. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yakkiriza omwana we okumuyambako mu kutonda ebintu byonna. (Nge. 8:27-30; Bak. 1:15, 16) Wadde nga Yakuwa ye muyinza w’ebintu byonna, akwasa abalala obuvunaanyizibwa. Ng’ekyokulabirako, yalonda Yesu okuba Kabaka w’Obwakabaka bwe, era ajja kuwa obuyinza obw’ekigero abantu 144,000 abajja okufugira awamu ne Yesu. (Luk. 12:32) Kya lwatu nti Yakuwa yatendeka Yesu okusobola okuba Kabaka era Kabona Asinga Obukulu. (Beb. 5:8, 9) Ate era atendeka n’abo abanaafugira awamu ne Yesu basobole okutuukiriza omulimu gw’abawadde. Kyokka tadda awo kulingiriza buli kamu ke bakola nga batuukiriza omulimu ogwo. Mu kifo ky’ekyo, abeesiga nti bajja kukola by’ayagala.​—Kub. 5:10.

Bwe tutendeka abalala era ne tubaako obuvunaanyizibwa bwe tubawa, tuba tukoppa Yakuwa (Laba akatundu 6-7) *

6-7. Kiki kye tuyigira ku Kitaffe ow’omu ggulu bwe kituuka ku kubaako obuvunaanyizibwa bwe tuwa abalala?

6 Bwe kiba nti Kitaffe ow’omu ggulu, ateetaaga buyambi bwa muntu yenna, abaako obuvunaanyizibwa bw’akwasa abalala, ffe tetwandisinzeewo nnyo! Ng’ekyokulabirako, oli mutwe gw’amaka oba oli mukadde mu kibiina? Koppa Yakuwa ng’obaako obuvunaanyizibwa bw’okwasa abalala era weewale okubayingira mu buli kimu kye bakola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Bw’okoppa Yakuwa, emirimu gijja kusobola okutambula ate era kijja kusobozesa n’abalala okulekera awo okwetya. (Is. 41:10) Kiki ekirala abo abalina obuyinza obw’ekigero kye bayinza okuyigira ku Yakuwa?

7 Bayibuli eraga nti Yakuwa awuliriza ebiteeso bya bamalayika be. (1 Bassek. 22:19-22) Abazadde, muyinza mutya okukoppa Yakuwa? Bwe kiba kituukirawo, gamba abaana bo bawe endowooza yaabwe ku ngeri omulimu ogumu gye guyinza okukolebwamu. Era bwe kiba kituukirawo, kolera ku magezi ge baba bawadde.

8. Yakuwa yayoleka atya obugumiikiriza eri Ibulayimu ne Saala?

8 Engeri endala Yakuwa gy’akiragamu nti mwetoowaze kwe kuba nti mugumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa ayoleka obugumiikiriza ng’abo abamuweereza babuusabuusa ekyo ky’aba asazeewo. Yawuliriza Ibulayimu, Ibulayimu bwe yali abuusabuusa obanga kyali kituufu Yakuwa okuzikiriza Sodomu ne Ggomola. (Lub. 18:22-33) Ate era lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakwatamu Saala, mukyala wa Ibulayimu. Teyanyiiga Saala bwe yaseka ng’awulidde ekisuubizo kya Yakuwa eky’okumusobozesa okuzaala omwana mu myaka gye egy’obukadde. (Lub. 18:10-14) Mu kifo ky’ekyo, yayisa bulungi Saala.

9. Kiki abazadde n’abakadde kye bayinza okuyigira ku Yakuwa?

9 Abazadde n’abakadde, kiki kye muyinza okuyigira ku Yakuwa? Lowooza ku ngeri gye weeyisaamu ng’abo b’olinako obuyinza babuusabuusizza ebyo by’oba osazeewo. Ky’osooka okulowoozaako kwe kubagolola oba okubalaga nti oli mutuufu? Oba ogezaako okutegeera endowooza yaabwe? Ab’omu maka n’abo abali mu kibiina baganyulwa nnyo abo ababalinako obuyinza bwe bafuba okukoppa Yakuwa. We tutuukidde wano, tulabye engeri ekyokulabirako kya Yakuwa gye kituyigiriza okuba abeetoowaze. Kati tugenda kubaako bye tuyigira ku bantu abamu aboogerwako mu Bayibuli bwe kituuka ku kwoleka obwetoowaze.

BIKI BYE TUYIGIRA KU BALALA?

10. Yakuwa akozesa atya ebyokulabirako by’abalala okutuyigiriza?

10 Yakuwa, ‘Omuyigiriza waffe Asingiridde,’ yateeka ebyokulabirako ebitali bimu mu Kigambo kye okutuyigiriza. (Is. 30:20, 21) Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma ku bantu abaayoleka engeri ezisanyusa Katonda, omuli n’obwetoowaze, tubaako bingi bye tuyiga. Ate era tulina bye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku abo abaalemererwa okwoleka engeri ezo.​—Zab. 37:37; 1 Kol. 10:11.

11. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Sawulo ekibi?

11 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka Sawulo. Mu kusooka Sawulo yali mwetoowaze. Yali amanyi obusobozi bwe we bukoma era bwe yaweebwa obuvunaanyizibwa obulala yali agaanye n’okubukkiriza. (1 Sam. 9:21; 10:20-22) Kyokka oluvannyuma Sawulo yatandika okwetulinkiriza. Yayoleka engeri eyo embi nga waakayita ekiseera kitono ng’amaze okufuuka kabaka. Lumu yalemererwa okugumiikiriza ng’alindirira nnabbi Samwiri. Mu kifo ky’okwesiga Yakuwa nti yali asobola okuyamba abantu be, Sawulo yawaayo ekiweebwayo ekyokebwa wadde nga si ye yalina okukiwaayo. N’ekyavaamu, Yakuwa yanyiigira Sawulo era oluvannyuma yamuggyako n’obwakabaka. (1 Sam. 13:8-14) Tusaanidde okuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Sawulo, twewale okwetulinkiriza.

12. Danyeri yayoleka atya obwetoowaze?

12 Kyokka ye nnabbi Danyeri yali wa njawulo ku Sawulo. Obulamu bwe bwonna, Danyeri yasigala nga mwetoowaze era yanoonyanga obulagirizi okuva eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yamusobozesa okunnyonnyola amakulu g’ekirooto kya Nebukadduneeza, Danyeri teyagamba nti yali akinnyonnyodde mu busobozi bwe. Mu kifo ky’ekyo, yalaga nti Yakuwa ye yali amusobozesezza okukinnyonnyola era nti ye yali agwanidde okutenderezebwa. (Dan. 2:26-28) Ekyo kituyigiriza ki? Bwe kiba nti ab’oluganda banyumirwa nnyo emboozi ze tuwa oba bwe kiba nti tufunye ebibala bingi mu mulimu gw’okubuulira, ekitiibwa n’ettendo tusaanidde kubiwa Yakuwa. Tusaanidde okukijjukira nti tetwandisobodde kukola bintu ebyo awatali buyambi bwa Yakuwa. (Baf. 4:13) Bwe tuba n’endowooza ng’eyo, era tuba tukoppa Yesu. Mu ngeri ki?

13. Okusinziira ku Yokaana 5:19, 30, kiki kye tuyigira ku Yesu?

13 Wadde nga Yesu yali Mwana wa Katonda atuukiridde, yeesigamanga ku Yakuwa mu buli kye yakolanga. (Soma Yokaana 5:19, 30.) Teyagezaako kutwala buyinza bwa Kitaawe ow’omu ggulu. Abafiripi 2:6 wagamba nti Yesu “teyalowooza ku kya kwezza buyinza asobole okwenkanankana ne Katonda.” Ng’Omwana omuwulize, Yesu yali amanyi obusobozi bwe we bukoma era yassanga ekitiibwa mu buyinza bwa Kitaawe.

Yesu yali amanyi obuyinza bwe we bukoma (Laba akatundu 14)

14. Yesu bwe yasabibwa okukola ekintu ky’ataalina buyinza kukola yeeyisa atya?

14 Lowooza ku ekyo Yesu kye yakola, abatume be Yakobo ne Yokaana awamu ne maama waabwe bwe baamutuukirira okubawa enkizo gye yali talina buyinza kubawa. Amangu ddala Yesu yabagamba nti Kitaawe ow’omu ggulu yekka y’alina obuyinza okusalawo ani ow’okutuula ku mukono gwa Yesu ogwa ddyo n’ogwa kkono mu Bwakabaka. (Mat. 20:20-23) Yesu yakiraga nti yali amanyi w’akoma. Yali mwetoowaze. Teyakola kintu kyonna Yakuwa ky’ataamuwa buyinza kukola. (Yok. 12:49) Tuyinza tutya okumukoppa?

Tuyinza tutya okukoppa Yesu mu kwoleka obwetoowaze? (Laba akatundu 15-16) *

15-16. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira okuli mu 1 Abakkolinso 4:6?

15 Tukoppa Yesu bwe tukolera ku kubuulirira okuli mu 1 Abakkolinso 4:6 awagamba nti: “Tosukkanga bintu ebyawandiikibwa.” N’olwekyo, bwe wabaawo atusaba okumuwa ku magezi, tetusaanidde kwesigama ku ndowooza yaffe oba okumugamba kyonna ekisooka okutujjira mu birowoozo. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okumuwa amagezi agali mu Bayibuli ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa. Bwe tukola tutyo tuba tukiraga nti tumanyi obusobozi bwaffe we bukoma. Era tuba tukiraga nti bulijjo amagezi ga Yakuwa gasinga agaffe.​—Kub. 15:3, 4.

16 Ng’oggyeeko okussa ekitiibwa mu Yakuwa, waliwo n’ensonga endala lwaki tusaanidde okuba abeetoowaze. Kati tugenda kulaba engeri obwetoowaze gye butusobozesa okuba abasanyufu n’okukolagana obulungi n’abalala.

ENGERI OKUBA ABEETOOWAZE GYE KITUGANYULAMU

17. Lwaki abantu abeetoowaze baba basanyufu?

17 Bwe tuba abeetoowaze kisobola okutuyamba okuba abasanyufu. Lwaki? Bwe tumanya obusobozi bwaffe we bukoma, tusiima era tusanyuka nnyo ng’abalala balina kye bakoze okutuyamba. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mulundi Yesu lwe yawonya abagenge ekkumi. Omu yekka ye yakomawo okwebaza Yesu olw’okumuwonya endwadde eyo embi ennyo gye yali tasobola kwewonya. Omusajja oyo eyali omwetoowaze yasanyuka nnyo olw’obuyambi bwe yafuna era yatendereza Katonda.​—Luk. 17:11-19.

18. Obwetoowaze butusobozesa butya okukolagana obulungi n’abalala? (Abaruumi 12:10)

18 Abantu abeetoowaze batera okukolagana obulungi n’abalala era emirundi mingi baba n’emikwano eminywevu. Lwaki? Bakikkiriza nti abantu abalala nabo balina engeri ennungi era baba babeesiga. Abantu abeetoowaze basanyukirako abalala nga baliko ebirungi bye batuuseeko mu buweereza bwabwe era banguwa okubayozaayoza.​—Soma Abaruumi 12:10.

19. Ezimu ku nsonga lwaki tusaanidde okwewala okuba ab’amalala ze ziruwa?

19 Kyokka bo abantu ab’amalala bakaluubirirwa okusiima abalala era baagala bo be baba batenderezebwa. Baagala nnyo okwegeraageranya n’abalala n’okuleetawo omwoyo ogw’okuvuganya. Mu kifo ky’okutendeka abalala n’okubaako obuvunaanyizibwa bwe babawa, batera okuba n’endowooza egamba nti, “Bw’oba oyagala ekintu kikolebwe bulungi, ggwe olina okukyekolera.” Emirundi mingi omuntu ow’amalala aba ayagala okuba nga buli kiseera y’asinga abalala era akwatirwa abalala obuggya. (Bag. 5:26) Abantu ng’abo emikwano gyabwe tegiwangaala. Bwe tukiraba nti tulina amalala, tusaanidde okusaba ennyo Yakuwa atuyambe ‘tufune endowooza empya,’ engeri eyo embi ereme kusimba makanda mu mutima gwaffe.​—Bar. 12:2.

20. Lwaki tusaanidde okuba abeetoowaze?

20 Nga tusiima nnyo Yakuwa olw’okututeerawo ekyokulabirako ekirungi! Yakuwa ayoleka obwetoowaze mu ngeri gy’akolaganamu n’abaweereza be era tusaanidde okumukoppa. Ate era tusaanidde okukoppa abantu aboogerwako mu Bayibuli abaali abeetoowaze ne bafuna enkizo okutambulira awamu ne Katonda. Ka bulijjo tuwenga Yakuwa ekitiibwa n’ettendo by’agwanidde okuweebwa. (Kub. 4:11) Bwe tukola tutyo naffe tujja kusobola okutambulira awamu ne Kitaffe ow’omu ggulu, oyo ayagala abantu abeetoowaze.

OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo

^ lup. 5 Omuntu omwetoowaze aba asaasira abalala. N’olwekyo tusobola okugamba nti Yakuwa mwetoowaze. Nga bwe tugenda okulaba mu kitundu kino, tusobola okuyigira ku Yakuwa okuba abeetoowaze. Era tugenda kulaba bye tuyinza okuyigira ku Kabaka Sawulo, nnabbi Danyeri, ne Yesu bwe kituuka ku kwoleka obwetoowaze.

^ lup. 58 EBIFAANANYI: Omukadde ng’atendeka ow’oluganda omuvubuka asobole okukola ku fayiro y’ebitundu ekibiina kyabwe mwe kibuulira. Omukadde talingiriza buli kimu ow’oluganda oyo ky’akola ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa obwo.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe nga yeebuuza ku mukadde obanga kikkirizibwa okugenda ku mbaga egenda okubeera mu kkanisa. Omukadde tamuwa ndowooza ye wabula amujjukiza egimu ku misingi egiri mu Bayibuli.