Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 36

Abantu ba Yakuwa Baagala Obutuukirivu

Abantu ba Yakuwa Baagala Obutuukirivu

“Balina essanyu abalumwa enjala n’ennyonta ey’eby’obutuukirivu.”​—MAT. 5:6.

OLUYIMBA 9 Yakuwa Ye Kabaka Waffe!

OMULAMWA *

1. Kigezo ki Yusufu kye yayolekagana nakyo, era kiki kye yakola?

 YUSUFU mutabani wa Yakobo yayolekagana n’ekigezo eky’amaanyi. Muka Potifaali yamusendasenda okwegatta naye. Yusufu yagaana okukola ekyo omukazi oyo kye yamugamba. Omuntu ayinza okwebuuza nti, ‘Lwaki Yusufu yagaana okwegatta n’omukazi oyo, ate nga mukama we Potifaali teyaliiwo?’ Ate okuva bwe kiri nti Yusufu yali muddu, okugaana okukola ekyo omukazi oyo kye yali amugamba kyandimuviiriddeko okuyisibwa obubi. Wadde ng’omukazi oyo yeesiba ku Yusufu okumala ekiseera, Yusufu yagaana okwegatta naye. Lwaki? Yagamba nti: “Nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?”​—Lub. 39:7-12.

2. Yusufu yamanya atya nti obwenzi kibi kya maanyi mu maaso ga Katonda?

2 Yusufu yamanya atya nti okwegatta n’omukazi oyo kyandibadde kibi kya maanyi mu maaso ga Katonda? Mu kiseera ekyo, amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri okuyitira mu Musa agaalimu etteeka erigamba nti “Toyendanga,” tegaaliwo era waayitawo emyaka bibiri Katonda n’alyoka agawa Abayisirayiri. (Kuv. 20:14) Wadde kyali kityo, Yusufu yali amanyi bulungi engeri Yakuwa gy’atwalamu ebikolwa eby’obugwenyufu. Ng’ekyokulabirako, Yusufu yali akimanyi nti Yakuwa bwe yatandikawo obufumbo yali ayagala bubeere wakati w’omusajja omu n’omukazi omu. Ate era ayinza okuba nga yawulirako nti emirundi ebiri Yakuwa yakuuma jjajjaawe Saala, abasajja abalala bwe baali baagala okumweddiza. Ate era ayinza okuba nga yawulirako engeri Yakuwa gye yakuumamu Lebbeeka, mukyala wa Isaaka. (Lub. 2:24; 12:14-20; 20:2-7; 26:6-11) Yusufu bwe yafumiitiriza ku bintu ebyo, yasobola okumanya ekyo Yakuwa ky’atwala nti kituufu n’ekyo ky’atwala nti kikyamu. Yali ayagala nnyo Yakuwa Katonda we n’emitindo gye egy’obutuukirivu, era nga mumalirivu okuginywererako.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Oyagala obutuukirivu? Oteekwa okuba ng’obwagala. Kyokka ffenna tetutuukiridde era bwe tuteegendereza, kyangu okutwalirizibwa endowooza abantu mu nsi gye balina ku butuukirivu. (Is. 5:20; Bar. 12:2) N’olwekyo tugenda kulaba obutuukirivu kye ki, n’engeri gye tuganyulwa mu kukola eby’obutuukirivu. Oluvannyuma tujja kulaba ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okweyongera okwagala emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.

OBUTUUKIRIVU KYE KI?

4. Ndowooza ki enkyamu bangi gye balina ku butuukirivu?

4 Abantu bangi balowooza nti omuntu omutuukirivu aba anoonya ensobi mu balala, yeetwala nti asinga abalala, era aba wa malala. Naye engeri ezo Katonda tazaagalira ddala. Yesu bwe yali ku nsi, yavumirira abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kye olw’okweteerawo emitindo egyabwe egy’obutuukirivu. (Mub. 7:16; Luk. 16:15) Omuntu atwalibwa nti mutuukirivu mu maaso ga Katonda aba teyeetwala kuba nti y’asinga abalala.

5. Nga bwe kiragibwa mu Bayibuli, obutuukirivu kye ki? Waayo ebyokulabirako.

5 Obutuukirivu ngeri nnungi nnyo. Okuba omutuukirivu kitegeeza okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda. Mu Bayibuli, ebigambo ebyavvuunulwa ‘ng’obutuukirivu’ birina amakulu ag’okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egya waggulu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa ayagala abasuubuzi bakozese ebipimo ‘ebituufu.’ (Ma. 25:15) N’olwekyo, Omukristaayo ayagala okuba omutuukirivu mu maaso ga Katonda, alina okuba nga mwesigwa mu ngeri gy’akolamu bizineesi ye. Omuntu omutuukirivu era aba ayagala obwenkanya, aba tayagala kulaba muntu yenna ayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ate era ‘okusobola okusanyusiza ddala Yakuwa,’ omuntu omutuukirivu afumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu ebyo by’asalawo.​—Bak. 1:10.

6. Lwaki tusobola okwesiga emitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu? (Isaaya 55:8, 9)

6 Bayibuli eraga nti Yakuwa ye Nsibuko y’obutuukirivu. Era eyo ye nsonga lwaki egamba nti ‘mu maaso ge mwe mubeera obutuukirivu.’ (Yer. 50:7) Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi, ye yekka asobola okututeerawo emitindo emituufu egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Olw’okuba tuli boonoonyi era tetutuukiridde, tetusobola kumanyira ddala kituufu na kikyamu. Kyokka olw’okuba Yakuwa ye atuukiridde, amanyidde ddala ekituufu n’ekikyamu. (Nge. 14:12; soma Isaaya 55:8, 9.) Naye olw’okuba twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, tusobola okutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu. (Lub. 1:27) Era ekyo kyennyini kye twagala okukola. Okwagala kwe tulina eri Kitaffe kutuleetera okufuba okumukoppa.​—Bef. 5:1.

7. Lwaki twetaaga okuba n’emitindo gye tugoberera? Waayo ekyokulabirako.

7 Bwe tunywerera ku mitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu, tuganyulwa nnyo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kyandibaddewo singa buli muvuzi wa kidduka yeeteerawo amateeka agakwata ku ngeri y’okuvugamu ekidduka kye. Ekyo kyandiviiriddeko obubenje bungi. Oba lowooza ku kibaawo singa omusawo agaana okugoberera amateeka agakwata ku by’obujjanjabi. Ekyo kiyinza okuviirako abalwadde abamu okufa. N’olwekyo, bwe wabaawo amateeka oba emitindo abantu gye balina okugoberera, kiba kya bukuumi gye bali. Bwe kityo, n’emitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu gya bukuumi gye tuli.

8. Mikisa ki abo abafuba okutambulira ku mitindo gya Yakuwa gye bajja okufuna?

8 Yakuwa awa emikisa abo abafuba okutambulira ku mitindo gye. Ekigambo kye kigamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.” (Zab. 37:29) Lowooza ku bumu, emirembe, n’essanyu, ebiribaawo ng’abantu bonna batambulira ku mitindo gya Yakuwa? Yakuwa ayagala obeere mu bulamu obwo. Mazima ddala ffenna tulina ensonga kwe tusinziira okwagala obutuukirivu! Tuyinza tutya okweyongera okwagala engeri eyo? Ka tulabeyo ebintu bisatu.

WEEYONGERE OKWAGALA EMITINDO GYA YAKUWA

9. Kiki ekinaatuyamba okwagala obutuukirivu?

9 Ekisooka: Yagala oyo atuteerawo emitindo. Okusobola okwagala obutuukirivu, tulina okwagala oyo atuteerawo emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Gye tukoma okwagala Yakuwa, gye tukoma okwagala okutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Ng’ekyokulabirako, singa Adamu ne Kaawa baali baagala Yakuwa, bandibadde baamugondera.​—Lub. 3:1-6, 16-19.

10. Kiki Ibulayimu kye yakola okusobola okweyongera okutegeera endowooza ya Yakuwa?

10 Kya lwatu nti tetwagala kukola nsobi y’emu nga Adamu ne Kaawa gye baakola. Tusobola okwewala okukola ensobi ng’eyo singa tweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, tusiima engeri ze, era ne tufuba okutegeera endowooza ye. Bwe tukola bwe tutyo, okwagala kwe tulina eri Yakuwa kweyongera. Lowooza ku Ibulayimu. Yali ayagala nnyo Yakuwa. Ne bwe kyamubeerera ekizibu okutegeera ebyo Yakuwa bye yabanga asazeewo, teyamujeemera. Mu kifo ky’ekyo, yafuba okweyongera okumanya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu bwe yategeera ku ekyo Yakuwa kye yali asazeewo eky’okuzikiriza Sodomu ne Ggomola, okusooka yalowooza nti “Omulamuzi w’ensi yonna” yali agenda kuzikiriza abatuukirivu awamu n’ababi. Ibulayimu yali alaba ng’ekyo tekisoboka, era bw’atyo yabuuza Yakuwa ebibuuzo ebitali bimu. Yakuwa yayoleka obugumiikiriza ng’addamu ebibuuzo bya Ibulayimu. Oluvannyuma, Ibulayimu yakitegeera nti Yakuwa akebera omutima gwa buli muntu era nti abantu abatalina musango tababonereza wamu n’ababi.​—Lub. 18:20-32.

11. Ibulayimu yakyoleka atya nti yali ayagala nnyo Yakuwa era nti yali amwesiga?

11 Ibulayimu yakwatibwako nnyo olw’ebyo bye yayogera ne Yakuwa ebikwata ku kuzikiriza ekibuga Sodomu ne Ggomola. Biteekwa okuba nga byamuyamba okweyongera okwagala Kitaawe ow’omu ggulu n’okumussaamu ekitiibwa. Nga wayise emyaka, obwesige Ibulayimu bwe yalina mu Yakuwa bwagezesebwa. Yakuwa yamugamba okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka. Naye kati Ibulayimu yali amanyi bulungi Katonda we, era ku luno talina kibuuzo kyonna kye yamubuuza. Ibulayimu yatandikirawo okweteekateeka okukola ekyo Yakuwa kye yamugamba. Lowooza ku ngeri gye yali awuliramu ng’ateekateeka okuwaayo omwana we nga ssaddaaka! Ibulayimu ateekwa okuba nga yafumiitiriza nnyo ku ebyo bye yali ayize ku Yakuwa. Yali akimanyi nti Yakuwa tayinza kukola kintu kyonna kitali kya butuukirivu oba ekitooleka kwagala. Omutume Pawulo yagamba nti Ibulayimu yakitwala nti Yakuwa yali asobola okuzuukiza omwana we Isaaka gwe yali ayagala ennyo. (Beb. 11:17-19) Yakuwa yali yasuubiza nti Isaaka yandivuddemu eggwanga, ate nga mu kiseera ekyo Isaaka teyalina mwana n’omu. Olw’okuba Ibulayimu yali ayagala nnyo Yakuwa, yali amwesiga nti bulijjo by’akola biba bituufu. Wadde nga tekyali kyangu gy’ali, okukkiriza kwe yalina kwamuleetera okugondera Yakuwa.​—Lub. 22:1-12.

12. Tuyinza tutya okukoppa Ibulayimu? (Zabbuli 73:28)

12 Tuyinza tutya okukoppa Ibulayimu? Naffe tusaanidde okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ekyo kijja kutuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye, n’okweyongera okumwagala. (Soma Zabbuli 73:28.) Ate era, omuntu waffe ow’omunda ajja kuba atendekeddwa era ng’atuyamba okukolera ku mitindo gya Yakuwa. (Beb. 5:14) N’ekinaavaamu, singa wabaawo omuntu yenna agezaako okutupikiriza okukola ekintu ekikyamu, tetujja kukkiriza. Tetujja na kugezaako kukola kintu kyonna kiyinza kunyiiza Kitaffe ow’omu ggulu oba okwonoona enkolagana yaffe naye. Ngeri ki endala gye tuyinza okulagamu nti twagala obutuukirivu?

13. Tuyinza tutya okweyongera okukulaakulanya okwagala obutuukirivu? (Engero 15:9)

13 Eky’okubiri: Fuba okukulaakulanya okwagala obutuukirivu. Bwe tuba nga twagala omubiri gwaffe okuba ogw’amaanyi, tulina okufuba okukola dduyiro buli lunaku. Bwe kityo bwe kiri, ne bwe kituuka ku kwagala okukola Yakuwa by’ayagala. Tulina okufuba okukulaakulanya okwagala okwo, era ekyo tulina okukikola buli lunaku. Yakuwa tatusuubira kukola ebyo bye tutasobola. (Zab. 103:14) Atugamba mu Kigambo kye nti “ayagala oyo agoberera obutuukirivu.” (Soma Engero 15:9.) Bwe wabaawo ekiruubirirwa kye twagala okutuukako mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, tukola kyonna kye tusobola okukituukako. Bwe kityo bwe kiri ne bwe tuba nga twagala okukulaakulanya okwagala obutuukirivu. Yakuwa ajja kutuyamba bwe tufuba okwagala obutuukirivu.​—Zab. 84:5, 7.

14. “Eky’omu kifuba eky’obutuukirivu” kye ki, era lwaki tukyetaaga?

14 Mu Kigambo kye Bayibuli, Yakuwa atulaga nti okukola eby’obutuukirivu si mugugu. (1 Yok. 5:3) Mu butuufu, kya bukuumi gye tuli era tukyetaaga buli lunaku. Lowooza ku by’okulwanyisa eby’omwoyo omutume Pawulo bye yayogerako bye tulina okwambala. (Bef. 6:14-18) Kya kulwanyisa ki ekyakuumanga omutima gw’omusirikale? Kyali “eky’omu kifuba eky’obutuukirivu,” ekikiikirira emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Ng’ekyambalo ky’omu kifuba bwe kyakuumanga omutima gw’omusirikale, n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu gikuuma omutima gwaffe ogw’akabonero, kwe kugamba, ekyo kye tuli munda. N’olwekyo, fuba okulaba nti ku byambalo eby’obutuukirivu by’oyambala, eky’omu kifuba eky’obutuukirivu tekibulako!​—Nge. 4:23.

15. Oyinza otya okwambala eky’omu kifuba eky’obutuukirivu?

15 Osobola otya okwambala eky’omu kifuba eky’obutuukirivu? Osobola okukyambala ng’olowooza ku mitindo gya Yakuwa mu byonna by’osalawo buli lunaku. Bw’oba ng’osalawo bintu ki by’oyagala okwogerako, nnyimba ki z’onoowuliriza, biki by’onoolaba ku ttivi oba ku kompyuta, oba bitabo ki by’onoosoma, sooka weebuuze: ‘Biki bye ŋŋenda okuyingiza mu mutima gwange? Ebintu ebyo bisiimibwa mu maaso ga Yakuwa? Oba bitumbula ebintu Yakuwa by’atwala nti si bya butuukirivu, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, ebikolwa eby’obukambwe, omululu, n’okwelowoozaako ffekka?’ (Baf. 4:8) Ebintu by’osalawo bwe biba nga bikwatagana n’ebyo Yakuwa by’ayagala, oba okkiriza emitindo gye egy’obutuukirivu okukuuma omutima gwo.

Obutuukirivu bwo busobola okuba “ng’amayengo g’ennyanja” (Laba akatundu 16-17)

16-17. Okusinziira ku Isaaya 48:18, lwaki tuli bakakafu nti tusobola okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu?

16 Oluusi weeraliikirira nti oyinza okulemererwa okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu? Lowooza ku kyokulabirako Yakuwa kye yakozesa ekiri mu Isaaya 48:18. (Soma.) Yakuwa yagamba nti obutuukirivu bwaffe busobola okuba “ng’amayengo g’ennyanja.” Kuba akafaananyi ng’oyimiridde ku lubalama lw’ennyanja, ng’otunuulira amayengo agakuba obutasalako. Oyinza okulowooza nti ekiseera kirituuka ennyanja n’eba nga tekyaliko mayengo? Nedda! Okimanyi nti amayengo gabadde ku nnyanja okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, era gajja kweyongera okubaako.

17 Obutuukirivu bwo buyinza okuba ng’amayengo g’ennyanja! Mu ngeri ki? Bw’oba n’ekintu ky’oyagala okusalawo, sooka olowooze ku ekyo Yakuwa ky’ayagala okole era okikolereko. Ka kibe nti ekyo ky’oyagala okusalawo kizibu nnyo, Kitaawo akwagala waali okukuwa amaanyi n’okukuyamba okutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu buli lunaku.​—Is. 40:29-31.

18. Lwaki tulina okwewala okusalira abalala omusango nga tusinziira ku mitindo egyaffe ku bwaffe?

18 Eky’okusatu: Leka Yakuwa y’aba asala omusango. Bwe tufuba okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, tetujja kusalira balala musango. Mu kifo ky’okusalira abalala omusango nga tusinziira ku mitindo egyaffe ku bwaffe, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ye ‘Mulamuzi w’ensi yonna.’ (Lub. 18:25) Yakuwa teyatuwa buyinza kusalira balala musango. Mu butuufu, Yesu yatugamba nti: “Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe muleme kusalirwa musango.”​—Mat. 7:1. *

19. Yusufu yakiraga atya nti Yakuwa y’alina okusalira abalala omusango?

19 Ka tuddemu tulowooze ku Yusufu eyali ayagala ennyo okukola eby’obutuukirivu. Yeewala okusalira abalala omusango, ka babe abo abaamuyisa obubi. Baganda be baamutulugunya, baamutunda mu buddu, era ne balimba kitaabwe nti yali afudde. Nga wayise emyaka, Yusufu yaddamu okusisinkana baganda be. Mu kiseera ekyo, ng’alina ekifo ekya waggulu mu gavumenti, Yusufu yali asobola okubasalira omusango n’abeesasuza. Ne baganda be bwe batyo bwe baali balowooza, wadde nga baali beenenyezza mu bwesimbu olw’ebyo bye baamukola. Naye Yusufu yabagamba nti: “Temutya. Siyinza kwessa mu kifo kya Katonda.” (Lub. 37:18-20, 27, 28, 31-35; 50:15-21) Yusufu yali akimanyi nti Yakuwa ye yalina obuyinza okusalira baganda be omusango.

20-21. Tuyinza tutya okwewala okwetwala nti tuli batuukirivu?

20 Okufaananako Yusufu, tusaanidde okuleka Yakuwa okuba nga y’asala omusango. Ng’ekyokulabirako, bakkiriza bannaffe bwe beeyisa mu ngeri emu oba endala, tetusaanidde kukitwala nti tumanyi ensonga ebaviiriddeko okweyisa bwe batyo. Tetusobola kumanya kiri mu mutima gw’omuntu. ‘Yakuwa yekka ye yeekenneenya ebiruubirirwa,’ kwe kugamba, y’amanyi ensonga eba eviiriddeko omuntu okweyisa mu ngeri emu oba endala. (Nge. 16:2) Ayagala abantu aba buli kika, ka babe nga baakulira mu mbeera ki oba ka babe ba ggwanga ki. Ate era atukubiriza ‘okugaziwa mu mitima gyaffe.’ (2 Kol. 6:13) Tusaanidde okwagala bakkiriza bannaffe bonna, so si kubasalira musango.

21 N’abantu abataweereza Yakuwa nabo tetulina kubasalira musango. (1 Tim. 2:3, 4) Ddala osaanidde okusalira omu ku b’eŋŋanda zo atali muweereza wa Yakuwa omusango ng’ogamba nti, “Oyo tasobola kufuuka muweereza wa Yakuwa”? Bw’okola bw’otyo, oba weetulinkiriza era oba weetwala nti oli mutuukirivu. Mu kiseera kino, Yakuwa akyawadde ‘abantu bonna akakisa beenenye.’ (Bik. 17:30) Osaanidde okukijjukiranga nti abo abeetwala nti batuukirivu okusinga abalala, Yakuwa abatwala nti si batuukirivu.

22. Lwaki omaliridde okwagala obutuukirivu?

22 Bwe tuneeyongera okwagala emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu tujja kuba basanyufu, era tujja kuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. Ekyo kijja kubaviirako okweyongera okutwagala n’okwagala Katonda waffe. Bulijjo ka tubeerenga abantu “abalumwa enjala n’ennyonta ey’eby’obutuukirivu.” (Mat. 5:6) Beera mukakafu nti bw’ofuba okukola eby’obutuukirivu, Yakuwa alaba era kimusanyusa nnyo. Wadde ng’abantu mu nsi beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, toggwaamu maanyi! Bulijjo kijjukirenga nti “Yakuwa ayagala abatuukirivu.”​—Zab. 146:8.

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

^ Mu nsi eno embi, si kyangu kusanga bantu abaagala okukola Yakuwa by’ayagala. Wadde kiri kityo, waliwo abantu bukadde na bukadde abafuba okukola Yakuwa by’ayagala. Oyinza okuba ng’oli omu ku bo. Ofuba okukola ebintu eby’obutuukirivu olw’okuba oyagala Yakuwa, ate nga Yakuwa ayagala obutuukirivu. Tuyinza tutya okweyongera okwagala obutuukirivu? Mu kitundu kino, tugenda kulaba obutuukirivu kye ki, n’engeri gye tuganyulwa mu kukola eby’obutuukirivu. Ate era tugenda kulaba ebintu bye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okwagala obutuukirivu.

^ Oluusi abakadde mu kibiina baba balina okusalawo ku nsonga ezikwata ku kukola ekibi eky’amaanyi n’okwenenya. (1 Kol. 5:11; 6:5; Yak. 5:14, 15) Kyokka bwe baba basalawo ku nsonga ng’ezo, bafuba okuba abeetoowaze nga bakijjukira nti tebasobola kumanya biri mu mutima gw’omuntu era nti balamula ku lwa Yakuwa. (Geraageranya 2 Ebyomumirembe 19:6.) Bakoppa Yakuwa nga bafuba okwoleka obusaasizi, okuba abenkanya, n’obutaba bakakanyavu.