Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 35

Weeyongere Okugumiikiriza

Weeyongere Okugumiikiriza

“Mwambale . . . obugumiikiriza.”​—BAK. 3:12.

OLUYIMBA 114 “Mugumiikirize”

OMULAMWA a

1. Lwaki osiima abantu abagumiikiriza?

 FFENNA twagala abantu abagumiikiriza. Tusiima nnyo abantu abasigala nga bakkakkamu nga balina kye balindirira. Era tusiima nnyo abalala bwe batugumiikiriza nga tukoze ensobi. Ate era tuli basanyufu okuba nti oyo eyatuyigiriza Bayibuli yatugumiikiriza nga tukaluubirirwa okuyiga enjigiriza za Bayibuli, okuzikkiriza, n’okuzikolerako. N’okusingira ddala, tusiima nnyo Yakuwa olw’okutugumiikiriza!​—Bar. 2:4.

2. Ddi lwe kiyinza okutubeerera ekizibu okugumiikiriza?

2 Wadde nga tusiima nnyo abalala bwe booleka obugumiikiriza, ffe oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu okuba abagumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okutubeerera ekizibu okusigala nga tuli bakkakkamu nga tuli mu kalippagano k’ebidduka, naddala obudde bwe buba nga butuyiseeko. Abalala bwe bakola ebintu ebitunyiiza, tuyinza okuva mu mbeera. Ate era oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okulindirira ensi empya Yakuwa gye yasuubiza. Wandyagadde okweyongera okuba omugumiikiriza? Mu kitundu kino tugenda kulaba kye kitegeeza okuba abagumiikiriza, n’ensonga lwaki kikulu nnyo. Ate era tugenda kulaba ebisobola okutuyamba okweyongera okukulaakulanya obugumiikiriza.

KITEGEEZA KI OKUGUMIIKIRIZA?

3. Omuntu omugumiikiriza yeeyisa atya ng’abalala bakoze ebimunyiiza?

3 Lowooza ku mbeera za mirundi ena mwe tuyinza okwoleka obugumiikiriza. Esooka, omuntu omugumiikiriza alwawo okusunguwala. Afuba okusigala nga mukkakkamu era yeewala okwesasuza abalala bwe bamusosonkereza, oba bw’aba ng’alina ebimweraliikiriza. Ebigambo “alwawo okusunguwala,” bisooka okulabikira mu Bayibuli Yakuwa w’ayogerwako nga “Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi.”​—Kuv. 34:6.

4. Omuntu omugumiikiriza yeeyisa atya mu mbeera nga kimwetaagisa okulindirira?

4 Ey’okubiri, omuntu omugumiikiriza alindirira n’obukkakkamu. Ekintu bwe kitwala ekiseera ekiwanvu okutuukirira okusinga bw’abadde asuubira, omuntu ng’oyo tava mu mbeera. (Mat. 18:26, 27) Waliwo embeera nnyingi ezitwetaagisa okulindirira n’obukkakkamu. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okuwuliriza n’obugumiikiriza ng’omuntu ayogera, ne twewala okumusala ekirimi. (Yob. 36:2) Ate era kitwetaagisa okuba abagumiikiriza nga tuyamba omuyizi okutegeera enjigiriza ya Bayibuli emu, oba okuvvuunuka omuze ogumu.

5. Engeri endala omuntu gy’ayolekamu obugumiikiriza y’eruwa?

5 Ey’okusatu, omuntu omugumiikiriza tapapa kukola bintu. Kyo kituufu nti ebintu ebimu byetaaga okukolebwa mu bwangu, kyokka omuntu omugumiikiriza bw’abaako n’ekintu ekikulu ky’alina okukola, tayanguyiriza kutandika kukikola era tapapa kukimaliriza. Mu kifo ky’ekyo, awaayo ebiseera ebimala okuteekateeka engeri gy’anaakolamu ekintu ekyo. Oluvannyuma akiwa ebiseera ebimala okukikola.

6. Omuntu omugumiikiriza yeeyisa atya ng’ayolekagana n’ebizibu?

6 Ey’okuna, omuntu omugumiikiriza agumira ebizibu nga teyeemulugunya. Kyo kituufu nti bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu si kikyamu okubaako ow’omukwano gwe tubuulirako ne tumutegeeza engeri gye twewuliramu. Naye omuntu omugumiikiriza alowooza ne ku birungi by’afunye mu bulamu bwe, era n’akola kyonna ky’asobola okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Bak. 1:11) Abaweereza ba Yakuwa basaanidde okwoleka obugumiikiriza mu mbeera ezo zonna ze tulabye. Ka tulabe ensonga lwaki.

ENSONGA LWAKI KIKULU NNYO OKUBA ABAGUMIIKIRIZA

Ng’omulimi bw’alindirira n’obugumiikiriza nga mukakafu nti ekiseera kijja kutuuka akungule, naffe tulindirira n’obugumiikiriza nga tuli bakakafu nti mu kiseera kye ekituufu Yakuwa ajja kutuukiriza ebyo bye yasuubiza (Laba akatundu 7)

7. Okusinziira ku Yakobo 5:7, 8, lwaki kikulu nnyo okuba abagumiikiriza? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Bwe tuba ab’okufuna obulamu obutaggwaawo tulina okugumiikiriza. Okufaananako abaweereza ba Yakuwa ab’omu biseera eby’edda, tusaanidde okulindirira Katonda n’obugumiikiriza okutuukiriza ebyo bye yasuubiza. (Beb. 6:11, 12) Embeera yaffe Bayibuli egigeraageranya n’ey’omulimi. (Soma Yakobo 5:7, 8.) Omulimi akola nnyo okusiga n’okufukirira ebirime bye naye aba tamanyidde ddala kiseera we binaakulira. N’olwekyo, omulimi alindirira n’obugumiikiriza nga mukakafu nti ajja kukungula ebibala. Mu ngeri y’emu, naffe tweyongera okwenyigira mu bintu eby’omwoyo wadde nga ‘tetumanyi lunaku Mukama waffe lw’anajjirako.’ (Mat. 24:42) Tulindirira n’obugumiiikiriza nga tuli bakakafu nti mu kiseera kye ekituufu, Yakuwa ajja kutuukiriza ebyo byonna bye yasuubiza. Singa tulekera awo okuba abagumiikiriza, tuyinza okukoowa okulindirira, ne tutandika okuwaba mpolampola ne tuva mu mazima. Tuyinza n’okutandika okwenoonyeza ebintu ebireeta essanyu ery’amangu. Naye bwe tuba abagumiikiriza, tusobola okulindirira okutuukira ddala ku nkomerero, era tujja kulokolebwa.​—Mi. 7:7; Mat. 24:13.

8. Obugumiikiriza butuyamba butya okuba n’enkolagana ennungi n’abalala? (Abakkolosaayi 3:12, 13)

8 Obugumiikiriza butuyamba okuba n’enkolagana ennungi n’abalala. Butuyamba okuwuliriza obulungi ng’abalala boogera. (Yak. 1:19) Ate era obugumiikiriza butuyamba okuba mu mirembe n’abalala. Butuyamba okwewala okubaako kye tukolawo mu bwangu, oba okwogera ekintu ekirumya abalala bwe tuba nga tulina ebitweraliikiriza. Era bwe tuba nga tuli bagumiikiriza, tetujja kwanguwa kunyiiga ng’omuntu akoze ekintu ekitulumya. Mu kifo ky’okwesasuza, tujja kweyongera “okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga.”​—Soma Abakkolosaayi 3:12, 13.

9. Obugumiikiriza butuyamba butya nga tulina bye tusalawo? (Engero 21:5)

9 Obugumiikiriza era butuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Mu kifo ky’okusalawo nga twanguyiriza oba nga tetulowoozezza, tuwaayo ebiseera okunoonyereza ku ekyo kye twagala okusalawo. (Soma Engero 21:5.) Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga tunoonya omulimu, tuyinza okuwulira nga twagala okukkiriza omulimu gwonna oguba gusoose okulabika, ka gube nga gujja kutulemesa okwenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo. Naye bwe tuba abagumiikiriza, tujja kuwaayo ebiseera okufumiitiriza ku bintu nga, ekitundu omulimu gye guli, essaawa ze tunaamala nga tukola, n’engeri gye gunaakwata ku maka gaffe ne ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe tuba abagumiikiriza tuyinza okwewala okusalawo obubi.

ENGERI GYE TUYINZA OKWEYONGERA OKUBA ABAGUMIIKIRIZA

10. Omukristaayo ayinza atya okukulaakulanya obugumiikiriza era n’asigala ng’abwoleka?

10 Saba Yakuwa akuyambe okweyongera okuba omugumiikiriza. Obugumiikiriza kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) Tusobola okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu kituyambe okukulaakulanya ekibala kyagwo. Bwe twolekagana n’embeera etwetaagisa okuba abagumiikiriza, tusaanidde ‘okusabanga’ Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okuba abagumiikiriza. (Luk. 11:9, 13) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Oluvannyuma lw’okusaba, tulina okufuba ennyo okuba abagumiikiriza buli lunaku. Gye tukoma okusaba Yakuwa atuyambe okuba abagumiikiriza, era ne tufuba okwoleka obugumiikiriza, ajja kutuyamba okubwoleka wadde nga mu kusooka tetwali bantu bagumiikiriza.

11-12. Yakuwa ayolese atya obugumiikiriza?

11 Fumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli. Bayibuli eyogera ku bantu bangi abaayoleka obugumiikiriza. Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye boogerako, tuyinza okuyiga engeri gye tuyinza okwolekamu obugumiikiriza. Nga tetunnalaba ebimu ku byokulabirako by’abantu abo, ka tusooke tulabe ekyokulabirako ky’oyo akyasinzeeyo okwoleka obugumiikiriza, ng’ono ye Yakuwa.

12 Mu lusuku Edeni, Sitaani yayogera eby’obulimba ku Yakuwa n’aleetera Kaawa okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa Mufuzi wa bwenkanya era alina okwagala. Mu kifo ky’okuzikiririzaawo Sitaani olw’okumwogerako eby’obulimba, Yakuwa yagumiikiriza era yeefuga, ng’akimanyi nti kyali kyetaagisa ekiseera okuyitawo okukakasa nti obufuzi bwe bwe busingayo obulungi. Ng’alindirira ekiseera ekyo okuyitawo, agumidde ekivume ekireeteddwa ku linnya lye. Ate era Yakuwa alindiridde n’obugumiikiriza abantu bangi basobole okufuna akakisa ak’okufuna obulamu obutaggwaawo. (2 Peet. 3:9, 15) N’ekivuddemu, abantu bangi nnyo bayize ebimukwatako. Bwe tufumiitiriza ku miganyulo egiri mu kuba nti Yakuwa agumiikirizza, kijja kutubeerera kyangu okulindirira ekiseera lw’anaaleeta enkomerero.

Obugumiikiriza bujja kutuyamba okulwawo okusunguwala nga waliwo akoze oba ayogedde ebitunyiiza (Laba akatundu 13)

13. Yesu ayolese atya obugumiikiriza ng’obwa Kitaawe? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Yesu yayigira ku Kitaawe okuba omugumiikiriza, era yayoleka engeri eyo bwe yali ku nsi. Oluusi kiteekwa okuba nga tekyamubeereranga kyangu okwoleka obugumiikiriza naddala eri abawandiisi n’Abafalisaayo abaali bannanfuusi. (Yok. 8:25-27) Kyokka okufaananako Kitaawe, Yesu yalwangawo okusunguwala. Teyeesasuza abalala bwe baamuvumanga oba bwe baamusosonkerezanga. (1 Peet. 2:23) Yesu yagumira ebigezo bye yali ayolekagana nabyo awatali kwemulugunya. Tekyewuunyisa nti Bayibuli etukubiriza okulowooza ennyo “ku oyo eyagumira ebigambo by’ababi ebifeebya”! (Beb. 12:2, 3) Naffe Yakuwa asobola okutuyamba okugumira ekigezo kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo.

Bwe tukoppa obugumiikiriza bwa Ibulayimu, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa mu kiseera kino, era n’okusingawo mu nsi empya (Laba akatundu 14)

14. Kiki kye tuyigira ku bugumiikiriza bwa Ibulayimu? (Abebbulaniya 6:15) (Laba n’ekifaananyi.)

14 Watya singa ebyo bye twali tusuubira ebikwata ku nkomerero tebinnatuukirira? Oboolyawo twali tusuubira nti enkomerero yandibadde yajja dda. Tuyinza okuba tutya nti w’enejjira tujja kuba twafa dda. Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okulindirira n’obugumiikiriza? Lowooza ku Ibulayimu. Bwe yali nga wa myaka 75 era nga talina mwana, Yakuwa yamugamba nti: “Ndikufuula eggwanga eddene.” (Lub. 12:1-4) Ibulayimu yalaba okutuukirizibwa kw’ekisuubizo ekyo? Teyalaba kutuukirizibwa kwakyo mu bujjuvu. Oluvannyuma lw’okusomoka omugga Fulaati, n’okulindirira okumala emyaka 25, Ibulayimu yafuna omwana ow’obulenzi ayitibwa Isaaka eyazaalibwa mu ngeri ey’ekyamagero. Ate waamala kuyitawo emyaka emirala 60 bazzukulu be, Esawu ne Yakobo, ne balyoka bazaalibwa. (Soma Abebbulaniya 6:15.) Naye Ibulayimu teyalaba bazzukulu be nga baafuuka eggwanga eddene era nga basikira Ensi Ensuubize. Kyokka omusajja oyo omwesigwa yasigala alina omukwano ogw’oku lusegere n’Omutonzi we. (Yak. 2:23) Ibulayimu bw’anaazuukira, ajja kufuna essanyu lingi nnyo okukimanya nti okukkiriza n’obugumiikiriza bye yayoleka byaviirako amawanga gonna okuweebwa omukisa! (Lub. 22:18) Kiki kye tuyigamu? Ebimu ku ebyo Yakuwa bye yasuubiza tuyinza obutabiraba nga bituukirira. Naye bwe tuba abagumiikiriza nga Ibulayimu, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa mu kiseera kino, era n’okusingawo mu nsi empya.​—Mak. 10:29, 30.

15. Biki bye tuyinza okwekenneenya nga twesomesa?

15 Bayibuli eyogera ku bantu abalala bangi abaayoleka obugumiikiriza. (Yak. 5:10) Kiba kirungi okuwaayo ebiseera osome ku bantu abo. b Ng’ekyokulabirako, wadde nga Dawudi yafukibwako amafuta ng’akyali muto okuba kabaka wa Isirayiri eyandizzeeko, yalina okulindirira okumala emyaka mingi okusobola okutandika okufuga nga kabaka wa Isirayiri. Simiyoni ne Ana baasinza Yakuwa n’obwesigwa nga bwe balindirira okujja kwa Masiya eyasuubizibwa. (Luk. 2:25, 36-38) Ng’osoma ku byokulabirako by’abantu ng’abo, noonya eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Kiki ekiyinza okuba nga kye kyayamba omuntu ono okwoleka obugumiikiriza? Yaganyulwa atya mu kuba omugumiikiriza? Nnyinza ntya okumukoppa? N’okusoma ku bantu abataayoleka bugumiikiriza nakyo kiyinza okukuganyula. (1 Sam. 13:8-14) Oyinza okwebuuza: ‘Kiki ekiyinza okuba nga kye kyamuleetera obutaba bugumiikiriza? Biki ebyavaamu?’

16. Egimu ku miganyulo egiri mu kuba abagumiikiriza gye giruwa?

16 Lowooza ku miganyulo egiva mu kuba abagumiikiriza. Bwe tuba abagumiikiriza tuba basanyufu era tuba bakkakkamu. Ekyo kisobola okutuyamba okuba abalamu obulungi mu mubiri ne mu birowoozo. Bwe tugumiikiriza abalala, tuba n’enkolagana ennungi nabo. Ekibiina kyaffe kyeyongera okuba obumu. Omuntu bw’akola ebitunyiiza ne tulwawo okusunguwala, kituyamba obutasajjula mbeera. (Zab. 37:8, obugambo obuli wansi; Nge. 14:29) N’ekisinga obukulu, bwe tuba abagumiikiriza, tuba tukoppa Kitaffe ow’omu ggulu, era tweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.

17. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

17 Mazima ddala obugumiikiriza ngeri nnungi nnyo era ya muganyulo nnyo! Wadde ng’oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kuba bagumiikiriza, Yakuwa asobola okutuyamba ne tweyongera okukulaakulanya engeri eyo. Era nga bwe tulindirira okujja kwe nsi empya, tusobola okuba abakakafu nti “eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya, abo abalindirira okwagala kwe okutajjulukuka.” (Zab. 33:18) Ka ffenna tweyongere okuba abamalirivu okwambala obugumiikiriza.

OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange

a Mu nsi ya Sitaani, abantu bangi si bagumiikiriza. Kyokka Bayibuli etukubiriza okwambala obugumiikiriza. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu nnyo okuba abagumiikiriza, n’engeri gye tusobola okweyongera okuba abagumiikiriza.

b Okusobola okumanya ebyokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli ebikwata ku bugumiikiriza, genda mu Watch Tower Publications Index wansi w’omutwe Patience (Obugumiikiriza).