Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Omutuukirivu Ajja Kusanyuka olw’Ebyo Yakuwa by’Amukoledde”

“Omutuukirivu Ajja Kusanyuka olw’Ebyo Yakuwa by’Amukoledde”

MWANNYINAFFE Diana asussa emyaka 80. Omwami we yalwala obulwadde obw’okuwuttaala era n’amala emyaka egiwerako mu kifo awalabirirwa bannamukadde okutuusa lwe yafa. Diana era yafiirwa batabani be babiri era n’akwatibwa ne kookolo w’amabeere. Naye ab’oluganda abali mu kibiina Diana mw’akuŋŋaanira bagamba nti aba musanyufu buli kiseera ng’azze mu nkuŋŋaana oba ng’akola omulimu gw’okubuulira.

Ow’oluganda John yamala emyaka 43 ng’akola omulimu ogw’okukyalira ebibiina. Yali ayagala nnyo obuweereza obwo! Naye yalekera awo okukola omulimu ogwo asobole okulabirira omu ku b’eŋŋanda ze omulwadde. Abo abaali bamanyi John mu biseera eby’emabega bwe bamusisinkana ku nkuŋŋaana ennene, balaba nga teyakyuka. John akyali musanyufu nnyo.

Diana ne John basobodde batya okusigala nga basanyufu? Omuntu alina ebizibu ayinza atya okusigala nga musanyufu? Ate era omuntu atakyalina nkizo gye yali ayagala ennyo ayinza atya okusigala nga musanyufu? Bayibuli egamba nti: “Omutuukirivu ajja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’amukoledde.” (Zab. 64:10) Ekyo tusobola okukitegeera obulungi bwe tumanya ekireeta essanyu erya nnamaddala n’ekyo ekitasobola kuleeta ssanyu lya nnamaddala.

ESSANYU ERY’AKASEERA OBUSEERA

Waliwo ebintu ebireeta essanyu kumpi buli lwe bibaawo. Lowooza ku musajja n’omukazi abaagalana ne bafumbiriganwa. Oba ku muntu aba azadde omwana oba aba afunye enkizo mu kibiina? Ebintu ebyo bireeta essanyu kubanga birabo okuva eri Yakuwa. Yakuwa ye yatandikawo obufumbo, ye yawa abantu obusobozi bw’okuzaala, era y’atuwa emirimu mu kibiina kye.​—Lub. 2:18, 22; Zab. 127:3; 1 Tim. 3:1.

Naye essanyu ebintu ebimu lye bireeta liba lya kaseera buseera. Ng’ekyokulabirako, omu ku bafumbo ayinza okulekera awo okuba omwesigwa eri munne oba okufa. (Ezk. 24:18; Kos. 3:1) Abaana abamu bajeemera bazadde baabwe ne Katonda, oboolyawo ne batuuka n’okugobebwa mu kibiina. Abaana ba Samwiri tebaaweereza Yakuwa mu ngeri gy’asiima, era ne Dawudi yafuna ebizibu bingi mu maka ge olw’okwenda ku Basuseba. (1 Sam. 8:1-3; 2 Sam. 12:11) Ebintu ebyo bwe bibaawo tebireeta ssanyu wabula bireeta nnaku na bulumi.

Mu ngeri y’emu, enkizo omuntu z’aba nazo mu kibiina kya Yakuwa zisobola okuggwaawo, oboolyawo ng’alwadde, ng’azadde, ng’alina okulabirira omu ku b’eŋŋanda ze, oba nga wazzeewo enkyukakyuka mu kibiina. Bangi ku b’oluganda aboolekaganye n’enkyukakyuka ng’ezo bagamba nti basaalirwa nnyo bwe balowooza ku ssanyu lye baalina nga bakyalina enkizo ezo.

Kyeyoleka kaati nti ebintu ng’ebyo tebireeta ssanyu lya lubeerera. Naye ekyebuuzibwa kiri nti, waliwo ekintu ekisobola okutuleetera essanyu ne lisigalawo ne bwe tuba nga tufunye ebizibu mu bulamu? Weekiri, kubanga Samwiri, Dawudi, n’abalala baasigala basanyufu wadde nga baayolekagana n’ebizibu.

ESSANYU ERYA NNAMADDALA

Yesu yali amanyi kye kitegeeza okuba n’essanyu erya nnamaddala. Bwe yali tannaba kujja ku nsi, ng’ali mu mbeera ennungi ennyo, ‘yasanyukiranga mu maaso ga Yakuwa bulijjo.’ (Nge. 8:30) Kyokka bwe yali ku nsi, oluusi yayolekagananga n’ebizibu eby’amaanyi ennyo. Wadde kyali kityo, Yesu yafuna essanyu mu kukola Kitaawe by’ayagala. (Yok. 4:34) Ate bwe yali attibwa? Bayibuli etugamba nti: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge, yagumira omuti ogw’okubonaabona.” (Beb. 12:2) N’olwekyo tulina bye tusobola okuyigira ku bintu bibiri Yesu bye yayogera ebireeta essanyu erya nnamaddala.

Lumu abayigirizwa 70 baakomawo eri Yesu nga bava okubuulira. Baali basanyufu nnyo olw’ebintu bye baali bakoze, omwali n’okugoba dayimooni ku bantu. Naye Yesu yabagamba nti: “Temusanyuka olw’okuba emyoyo emibi gibawulira, naye musanyuke olw’okuba amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.” (Luk. 10:1-9, 17, 20) Kyeyoleka lwatu nti okusiimibwa Yakuwa kye kisinga obukulu era kireeta essanyu okusinga enkizo yonna gye tuyinza okufuna mu kibiina.

Ku mulundi omulala Yesu bwe yali eyogera n’ekibiina ky’abantu, omukazi omu Omuyudaaya yakwatibwako nnyo olw’engeri Yesu gye yali ayigirizaamu n’agamba nti maama wa Yesu ateekwa okuba nga musanyufu nnyo. Naye Yesu yamuwabula n’amugamba nti: “Nedda, abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!” (Luk. 11:27, 28) Abaana baffe bwe bakola ebirungi kisobola okutuleetera essanyu, naye ekireeta essanyu erya nnamaddala kwe kuba abawulize eri Yakuwa n’okuba n’enkolagana ennungi naye.

Okukimanya nti Yakuwa atusiima kituleetera essanyu lingi ku mutima. Wadde ng’ebizibu tebitusanyusa, tebisobola kutuggyako nneewulira eyo. Mu butuufu bwe tusigala nga tuli beesigwa nga tugezesebwa, essanyu lyaffe lyeyongera. (Bar. 5:3-5) Ate era Yakuwa awa omwoyo gwe abo abamwesiga ate ng’essanyu kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo. (Bag. 5:22) Ekyo kituyamba okutegeera ensonga lwaki Zabbuli 64:10 egamba nti: “Omutuukirivu ajja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’amukoledde.”

Kiki ekiyambye John okweyongera okuba omusanyufu?

Ekyo kituyamba okulaba ensonga lwaki Diana ne John, aboogeddwako waggulu, baasobola okusigala nga basanyufu wadde nga baali bayita mu mbeera enzibu. Diana agamba nti: “Nneesiga Yakuwa ng’omwana bwe yeesiga muzadde we.” Diana akirabye atya nti Yakuwa amusiima? Agamba nti: “Ndaba nga Yakuwa y’ansobozesezza okweyongera okubuulira nga ndi musanyufu.” John, eyeeyongera okubuulira n’obunyiikivu n’oluvannyuma lw’okulekera awo okukola omulimu ogw’okukyalira ebibiina atubuulira ekyo ekyamuyamba okusigala musanyufu. Agamba nti: “Okuva mu 1998 bwe nnaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, nnayongera amaanyi mu kwesomesa.” Era agamba nti enkyukakyuka ye ne mukyala we gye baalina okukola yabanguyira okukola kubanga bulijjo baabanga beetegefu okukola kyonna Yakuwa kye yabanga abagambye okukola. Era agamba nti tebejjusa n’akamu.

Waliwo n’abalala abalabye obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Zabbuli 64:10. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku w’oluganda ne mukyala we abaamala emyaka egisukka mu 30 nga baweereza ku Beseri y’omu Amerika. Oluvannyuma baasindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Bagamba nti: “Kya bulijjo okuwulira obubi ng’ekintu ky’oyagala kikuvuddeko, naye ennaku eyo teba ya lubeerera.” Amangu ddala baatandikirawo okubuulira n’ekibiina mwe baagenda. Ow’oluganda oyo ne mukyala we era bagamba nti: “Twasabanga Yakuwa ne tumubuulira ddala ebyo ebyali bitweraliikiriza. Bwe twalaba ng’essaala zaffe zididdwamu, kyatuzzangamu nnyo amaanyi era kyatusanyusanga nnyo. Waayita ekiseera kitono nga twakagenda mu kibiina ekyo, n’abalala mu kibiina ekyo ne batandika okuweereza nga bapayoniya era twafuna abayizi ba Bayibuli babiri abakulaakulana.”

‘MUSANYUKE EMIREMBE GYONNA’

Kyo kituufu nti si kyangu okusigala nga tuli basanyufu buli kiseera kubanga oluusi n’oluusi tufuna ebizibu. Naye Yakuwa atugumya n’ebigambo ebiri mu Zabbuli 64:10. Ne mu biseera lwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi, tusobola okuba abakakafu nti abo bonna abakiraga nti batuukirivu ne basigala nga beesigwa eri Yakuwa wadde nga wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, ‘bajja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’abakoledde. Ate era twesunga okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Yakuwa ekikwata ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya.’ Mu kiseera ekyo, obutali butuukirivu bujja kuggibwawo emirembe gyonna. Abantu ba Katonda bonna bajja ‘kusanyuka era bajaganye emirembe gyonna’ olw’ebyo byonna Yakuwa by’anaakola.​—Is. 65:17, 18.

Ekyo kitegeeza ki? Tujja kuba balamu bulungi era buli lunaku tujja kuzuukukanga nga tulina amaanyi. Ka tube nga twafuna bulumi bwenkana wa mu biseera eby’emabega, obulumi obwo tetuliddamu kuba nabwo. Yakuwa atukakasa nti: “Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa, era tebirisigala mu mutima.” Tujja kwaniriza abantu baffe abaatufaako era tujja kuwulira nga bazadde b’omuwala ow’emyaka 12 Yesu gwe yazuukiza. Bayibuli egamba nti: ‘Bonna baasanyuka nnyo.’ (Mak. 5:42) Ekiseera kijja kutuuka buli muntu ku nsi abe nga ‘mutuukirivu’ era ‘ng’asanyuka olw’ebyo Yakuwa by’amukolera.’