Kitegeeza Ki Okuba Omuntu ow’Eby’Omwoyo?
“[Katonda] k’abasobozese okuba n’endowooza Kristo Yesu gye yalina.”—BAR. 15:5.
1, 2. (a) Ab’oluganda abamu baganyuddwa batya mu kuba abantu ab’eby’omwoyo? (b) Bibuuzo ki ebisatu ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
MWANNYINAFFE omu abeera mu Canada yagamba nti: “Okuba omuntu ow’eby’omwoyo kinnyambye okwongera okuba omusanyufu, era kinnyambye okwaŋŋanga ebizibu bye njolekagana nabyo buli lunaku.” Ow’oluganda abeera mu Brazil agamba nti: “Okuba nti tufubye okuba abantu ab’eby’omwoyo kituyambye okuba abasanyufu mu myaka 23 gye twakamala mu bufumbo bwaffe.” Ate ye ow’oluganda abeera mu Philippines agamba nti: “Okuba omuntu ow’eby’omwoyo kinnyambye okuba n’emirembe mu mutima, era kinnyambye okukolagana obulungi n’ab’oluganda abaakulira mu mbeera ez’enjawulo.”
2 Ebigambo bya bakkiriza bannaffe abo biraga nti kya muganyulo nnyo okuba omuntu ow’eby’omwoyo. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Nnyinza ntya okuba omuntu ow’eby’omwoyo nange nsobole okufuna emiganyulo ng’egyo egyogeddwako waggulu?’ Nga tetunnalaba kya kuddamu mu kibuuzo ekyo, tulina okusooka okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyogera ku muntu ow’eby’omwoyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: (1) Kitegeeza ki okuba omuntu ow’eby’omwoyo? (2) Byakulabirako ki ebinaatuyamba
okweyongera okukula mu by’omwoyo? (3) Okuba ‘n’endowooza ya Kristo’ kinaatuyamba kitya okuba abantu ab’eby’omwoyo?OMUNTU OW’EBY’OMWOYO Y’ANI?
3. Bayibuli eraga etya enjawulo eriwo wakati w’omuntu ow’omubiri n’omuntu ow’eby’omwoyo?
3 Omutume Pawulo atuyamba okumanya omuntu ow’eby’omwoyo ng’alaga enjawulo eriwo wakati ‘w’omuntu ow’eby’omwoyo n’omuntu ow’omubiri.’ (Soma 1 Abakkolinso 2:14-16.) Njawulo ki eriwo? “Omuntu ow’omubiri” takkiriza “bintu bya mwoyo gwa Katonda kubanga bya busirusiru gy’ali; era tasobola kubimanya.” Ku luuyi olulala, “omuntu ow’eby’omwoyo” akebera “ebintu byonna” era aba ‘n’endowooza ya Kristo.’ Pawulo yatukubiriza okuba abantu ab’eby’omwoyo. Njawulo ki endala eriwo wakati w’omuntu ow’omubiri n’omuntu ow’eby’omwoyo?
4, 5. Omuntu ow’omubiri omumanyira ku ki?
4 Okusooka, lowooza ku ndowooza omuntu ow’omubiri gy’aba nayo. Omuntu ow’omubiri aba n’endowooza y’ensi essa essira ku kwegomba okw’omubiri. Endowooza eyo Pawulo yagiyita “omwoyo ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu.” (Bef. 2:2) Omwoyo ogwo guleetera abantu okugoberera abangi kye bakola. Abantu abasinga obungi leero bagoberera okwegomba okw’omubiri. N’ekivuddemu, abantu abasinga obungi bakola ebyo bo bye bawulira nti bituufu era tebafaayo ku ebyo Katonda by’ayagala. Omuntu ow’omubiri ebiseera ebisinga ebirowoozo bye abimalira ku kwenoonyeza bitiibwa, ku kwenoonyeza bintu, oba ku kulwanirira eddembe lye.
5 Ebintu ebirala kwe tumanyira omuntu ow’omubiri bye biruwa? Omuntu yenna akola ekimu ku ‘bikolwa eby’omubiri’ aba muntu wa mubiri. (Bag. 5:19-21) Ebbaluwa Pawulo gye yasooka okuwandiikira ab’omu kibiina ky’e Kkolinso eraga ebintu ebirala kwe tumanyira abantu ab’omubiri. Abantu abo beenyigira mu bukuubagano, baleetawo enjawukana, bakubiriza abalala okujeema, batwalaŋŋana mu mbuga z’amateeka, tebassa kitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze, era beemalira ku kulya na kunywa. Omuntu ow’omubiri bw’akemebwa, taziyiza kikemo, wabula atwalirizibwa. (Nge. 7:21, 22) Yuda yagamba nti abantu ab’omubiri abamu bandituuse ekiseera ne baba nga tebakyafiirayo ddala ku bintu eby’omwoyo.—Yud. 18, 19.
6. Omuntu ow’eby’omwoyo omumanyira ku ki?
6 Kati ate ye “omuntu ow’eby’omwoyo” aba atya? Obutafaananako muntu wa mubiri, omuntu ow’eby’omwoyo ye yeemalira ku Katonda. Abantu ab’eby’omwoyo bafuba ‘okukoppa Katonda.’ (Bef. 5:1) Ekyo kitegeeza nti bafuba okuba n’endowooza ya Yakuwa ku bintu era babitunuulira nga bw’abitunuulira. Katonda aba wa ddala gye bali. Obutafaananako bantu ba mubiri, abantu ab’eby’omwoyo bafuba okugoberera emitindo gya Yakuwa mu byonna bye bakola. (Zab. 119:33; 143:10) Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byabwe ku bikolwa eby’omubiri, abantu ab’eby’omwoyo bafuba okwoleka ‘ekibala eky’omwoyo.’ (Bag. 5:22, 23) Okusobola okutuyamba okwongera okutegeera obulungi omuntu ow’eby’omwoyo, ka tulowooze ku kyokulabirako kino: Omuntu bw’aba nga yettanira nnyo eby’obusuubuzi, aba ayitibwa musuubuzi. Mu ngeri y’emu, omuntu eyettanira ennyo ebintu eby’omwoyo oba ebikwata ku Katonda, aba ayitibwa omuntu ow’eby’omwoyo.
7. Bayibuli eyogera ki ku bantu ab’eby’omwoyo?
7 Bayibuli eyogera bulungi ku bantu ab’eby’omwoyo. Matayo 5:3 wagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” Abaruumi 8:6 walaga omuganyulo oguli mu kuba abantu ab’eby’omwoyo. Wagamba nti: “Okulowooza eby’omubiri kivaamu okufa, naye okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe.” Bwe twemalira ku bintu eby’omwoyo, tuba n’emirembe ne Katonda era tuba n’emirembe mu mutima. Ate era tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.
8. Lwaki kitwetaagisa okufuba ennyo okuba abantu ab’eby’omwoyo n’okusigala nga tuli ba bya mwoyo?
8 Kyokka ensi gye tulimu mbi nnyo. Okuva bwe kiri nti abantu abasinga obungi mu nsi balowooza bya mubiri, kitwetaagisa okufuba ennyo okuba abantu ab’eby’omwoyo n’okusigala nga tuli ba bya mwoyo. Omuntu bw’alekera awo okuba ow’eby’omwoyo, kiba kyangu okutwalirizibwa endowooza z’ensi. Kiki ekisobola okutuyamba okwewala ekyo okututuukako? Tuyinza tutya okukula mu by’omwoyo?
ABANTU ABASSAAWO EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI
9. (a) Kiki ekisobola okutuyamba okukula mu by’omwoyo? (b) Abamu ku bantu abaali ab’eby’omwoyo be tugenda okwetegereza be baluwa?
9 Omwana asobola okukula mu birowoozo bwe yeetegereza bazadde be era n’abakoppa. Mu ngeri y’emu naffe tusobola okukula mu by’omwoyo bwe twetegereza abantu ab’eby’omwoyo era ne tubakoppa. Ku luuyi olulala, enneeyisa y’abantu ab’omubiri etulaga ebintu bye tulina okwewala. (1 Kol. 3:1-4) Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abantu abaali ab’eby’omwoyo n’abo abaali ab’omubiri. Naye okuva bwe kiri nti twagala okukula mu by’omwoyo, ka tulabeyo ebyokulabirako by’abantu abamu abassaawo ekyokulabirako ekirungi kye tusaanidde okukoppa. Tugenda kulaba Yakobo, Maliyamu, ne Yesu.
10. Yakobo yakyoleka atya nti muntu wa bya mwoyo?
10 Ekisooka, lowooza ku Yakobo. Okufaananako bangi ku ffe, Yakobo yafuna ebizibu bingi nnyo mu bulamu. Yalina okukolagana ne muganda we Esawu eyali yettanira ennyo ebintu eby’omubiri era eyali ayagala okumutta. Ate era yalina okukolagana ne kitaawe wa bakazi be ataali wa mazima, era eyamunyigiriza ennyo. Kyokka, wadde nga Yakobo yali yeetooloddwa abantu abalowooza eby’omubiri, yasigala nga wa bya mwoyo. Yali akkiririza mu kisuubizo Lub. 28:10-15) Ebyo Yakobo bye yayogeranga ne bye yakolanga byalaga nti yakuumiranga mu birowoozo bye emitindo gya Yakuwa n’ekigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, bwe yawulira ng’atidde muganda we Esawu, Yakobo yasaba Katonda n’amugamba nti: “Nkusaba onnunule . . . wagamba nti: ‘Nja kukukolera ebirungi era ezzadde lyo ndirifuula ng’omusenyu gw’ennyanja.’” (Lub. 32:6-12) Kyeyoleka lwatu nti Yakobo yali akkiririza mu ebyo Yakuwa bye yali amusuubizza n’ebyo bye yali asuubizza bajjajjaabe, era nti yali ayagala nnyo okutuukanya obulamu bwe n’ekigendererwa kya Yakuwa.
Katonda kye yawa Ibulayimu era yafuba nnyo okulabirira abaana be, Yakuwa be yandiyitiddemu okutuukiriza ekigendererwa kye. (11. Kiki ekiraga nti Maliyamu yali muntu wa bya mwoyo?
11 Kati ate lowooza ku kyokulabirako kya Maliyamu. Lwaki Yakuwa yalonda Maliyamu okuba maama wa Yesu? Kya lwatu nti yamulonda olw’okuba Maliyamu yali yettanira nnyo ebintu eby’omwoyo. Ekyo tukimanya tutya? Ebigambo Maliyamu bye yayogera ng’akyalidde Zekkaliya ne Erizabeesi, be yalinako oluganda, biraga nti yali muntu wa bya mwoyo. (Soma Lukka 1:46-55.) Ebigambo Maliyamu bye yayogera biraga nti yali ayagala nnyo Ekigambo kya Katonda era ng’ategeera bulungi Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. (Lub. 30:13; 1 Sam. 2:1-10; Mal. 3:12) Ate era kijjukire nti wadde nga Maliyamu ne Yusufu baali baakafumbiriganwa, beewala okwegatta okutuusa Yesu lwe yamala okuzaalibwa. Ekyo kiraga ki? Kiraga nti Maliyamu ne Yusufu bombi baali bakulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala, mu kifo ky’okukulembeza bye baagala. (Mat. 1:25) Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Maliyamu yafumiitiriza ku bintu ebitali bimu ebyaliwo mu bulamu bwa Yesu era yassaayo omwoyo ku bigambo eby’amagezi Yesu bye yayogera. Ate era ‘yakuumira ebigambo ebyo byonna ku mutima gwe.’ (Luk. 2:51) Kyeyoleka lwatu nti Maliyamu yali ayagala nnyo okumanya engeri ekigendererwa kya Katonda gye kyandituukiriziddwamu okuyitira mu Masiya. Mu butuufu, ekyokulabirako kya Maliyamu kituyamba okulaba engeri gye tuyinza okukulembeza Katonda by’ayagala mu bulamu bwaffe.
12. (a) Yesu yakoppa atya Kitaawe? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yesu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)
12 Ku bantu bonna abaali babadde ku nsi, ani yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kuba omuntu ow’eby’omwoyo? Kya lwatu, ye Yesu. Ekiseera kyonna Yesu kye yamala ku nsi, yakiraga kaati nti ayagala nnyo okukoppa Kitaawe, Yakuwa. Yesu yakoppa Yakuwa mu ngeri gye yalowoozangamu ne mu ngeri gye yeeyisangamu era yatuukanya obulamu bwe n’emitindo gya Yakuwa awamu n’ekigendererwa kye. (Yok. 8:29; 14:9; 15:10) Ng’ekyokulabirako, weetegereze ebyo nnabbi Isaaya bye yayogera ku busaasizi bwa Yakuwa, era oluvannyuma obigeraageranye n’ebyo omuwandiisi w’Enjiri ya Makko bye yayogera ku Yesu. (Soma Isaaya 63:9; Makko 6:34.) Okufaananako Yesu, naffe tufaayo ku abo ababa beetaaga obuyambi? Yesu era yakola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. (Luk. 4:43) Omuntu ow’eby’omwoyo alumirirwa abalala era afuba okubayamba.
13, 14. (a) Kiki kye tuyigira ku Bakristaayo abafaayo ennyo ku by’omwoyo leero? (b) Waayo ekyokulabirako.
13 Ng’oggyeeko abantu aboogerwako mu Bayibuli, waliwo n’abaweereza ba Yakuwa bangi leero abataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka engeri ng’eza Kristo. Booleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, basembeza abagenyi, balumirirwa abalala, era booleka n’engeri endala ennungi nnyingi. Ab’oluganda abo bateekwa okuba nga balina obunafu bwe balwanyisizza ne basobola okwoleka engeri ng’ezo ennungi. Mwannyinaffe Rachel abeera mu Brazil, agamba nti: “Nnayagalanga nnyo okugoberera emisono gy’ensi. Bwe kityo ennyambala yange teyali nnungi. Naye okuyiga amazima,
kyankubiriza okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa nsobole okuba omuntu ow’eby’omwoyo. Tekyali kyangu kukola nkyukakyuka ezo, naye bwe nnazikola nnafuna essanyu, era nnafuna ekigendererwa mu bulamu.”14 Ate mwannyinaffe Reylene abeera mu Philippines, ye yalina okusoomooza okulala. Wadde nga yali mu mazima, ebirowoozo bye yali abimalidde ku kufuna obuyigirize obwa waggulu n’okufuna omulimu ogusasula obulungi. Agamba nti: “Mpolampola nnatandika okuggya ebirowoozo byange ku biruubirirwa eby’omwoyo bye nnalina. Kyokka nnatandika okuwulira nga waliwo ekimbulako; ekintu ekikulu ennyo n’okusinga omulimu gwe nnalina. Bwe kityo, nnaddamu okussa ebirowoozo byange ku kuweereza Yakuwa.” Okuva olwo, Reylene abadde akuumira mu birowoozo bye ekisuubizo kya Yakuwa ekisangibwa mu Matayo 6:33, 34. Agamba nti: “Ndi mukakafu nti Yakuwa ajja kundabirira!” Oboolyawo, waliwo n’ab’oluganda oba bannyinaffe abalala b’omanyi mu kibiina kyo abataddewo ekyokulabirako ekirungi ng’ekyo. Ffenna twagala okukoppa ab’oluganda ne bannyinaffe abo abakoppa Kristo.—1 Kol. 11:1; 2 Bas. 3:7.
BA ‘N’ENDOWOOZA YA KRISTO’
15, 16. (a) Okusobola okuba n’endowooza ng’eya Kristo, kiki kye tusaanidde okukola? (b) Tuyinza tutya okumanya “endowooza ya Kristo”?
15 Tuyinza tutya okukoppa Kristo? Mu 1 Abakkolinso 2:16 Bayibuli eyogera ku kuba ‘n’endowooza ya Kristo.’ Ate Abaruumi 15:5 watukubiriza “okuba n’endowooza Kristo Yesu gye yalina.” N’olwekyo, okusobola okukoppa Kristo, tulina okutegeera obulungi endowooza ye n’engeri ze, era ne tutambulira mu bigere bye. Ekintu Yesu ky’asinga okutwala ng’ekikulu ye nkolagana ye ne Katonda. N’olwekyo, bwe tukoppa Kristo, tuba tukoppa Yakuwa. Ekyo kiraga ensonga lwaki kikulu nnyo okuba n’endowooza ng’eya Kristo.
16 Tuyinza tutya okumanya endowooza ya Kristo? Abayigirizwa ba Yesu baalaba ebyamagero bye yakola, baawulira ebyo bye yayigirizanga, baalaba engeri gye yakolaganangamu n’abantu ab’enjawulo, era baalaba n’engeri gye yakoleranga ku misingi gya Katonda. Baagamba nti: “Tuli bajulirwa b’ebintu byonna bye yakola.” (Bik. 10:39) Kyokka leero tetusobola kulaba Yesu. Naye Yakuwa yawandiisa ebitabo by’Enjiri ebisobola okutuyamba okutegeera obulungi Yesu. Bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku ebyo ebiri mu Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana, kituyamba okumanya endowooza ya Kristo. Ekyo kituyamba ‘okutambulira mu bigere bye’ ne tusobola ‘okuba n’endowooza ng’eyiye.’—1 Peet. 2:21; 4:1.
17. Okuba n’endowooza ng’eya Kristo kituganyula kitya?
17 Okuba n’endowooza ya Kristo kituganyula kitya? Ng’emmere erimu ekiriisa bw’ewa omubiri gwaffe amaanyi, n’okuba n’endowooza ya Kristo kitunyweza mu by’omwoyo. Ekyo kituyamba okumanya Yesu kye yandikoze ng’ali mu mbeera gye tuba tulimu. Era ekyo kituyamba okusalawo mu ngeri eneetusobozesa okusigala n’omuntu ow’omunda omuyonjo era eneetusobozesa okusanyusa Katonda. Emiganyulo ng’egyo gisaanidde okutukubiriza ‘okwambala Mukama waffe Yesu Kristo.’—Bar. 13:14.
18. Kiki ky’oyize mu kitundu kino?
18 Mu kitundu kino tulabye kye kitegeeza okuba omuntu ow’eby’omwoyo. Era tulabye nti waliwo bye tusobola okuyigira ku bantu ab’eby’omwoyo. Ate era tulabye engeri okuba n’endowooza ya Kristo gye gituyamba okuba abantu ab’eby’omwoyo. Kyokka waliwo ebintu ebirala ebikwata ku kuba omuntu ow’eby’omwoyo bye tulina okumanya. Ng’ekyokulabirako, tuyinza tutya okumanya wa we tutuuse mu by’omwoyo? Biki ebirala ebisobola okutuyamba okukula mu by’omwoyo? Era okuba abantu ab’eby’omwoyo kinaakwata kitya ku ngeri gye tweyisaamu buli lunaku? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.